Amawulire
Afumbidde bakasitoma Omusota asimatuse okuttibwa
Bya Abubaker Kirunda, Omusajja mu disitulikiti yé kamuli awonedde okugajambulwa abatuuze oluvanyuma lwokukitegeera nti abadde abaliisa emisota mu restaurant ye mu kifo kye byenyanja. Minka Kyabike nga mutuuze ku kyalo Kasaka mugombolola ye Bulopa e Kamuli akkiriza nti yafumbidde ba kasitomabe omusota ng’ekyenyanja oluvanyuma lwokulemererwa okufuna […]
Ababaka bawunikiridde ku bikwata ku ddwaliro lya Gavt e Mbale
Bya Ivan Ssenabulya, Ababaka ba palamenti abatuula ku kakiiko akatekebwawo okwekenenya engeri gavumenti gyekutemu ensonga zókulwanyisa ekirwadde kya covid-19, kibabuuseeko bwebazudde nti eddwaliro lya gavt erya Mbale Regional Referral Hospital lirina ambulance 4 zokka mu kifo kyomunana ezabaweebwa minisitule eye byobulamu. Bino bizuuliddwa mu kulambula […]
Abataxi balajana tebanafuna kunsimbi zómuggalo
Bya Prossy Kisakye, Ab’akulembeze b’abagoba ba Taxi ne ba Conductor wansi w’ekibiina ekibagatta ki Uganda Transport Development Agency (UTRADA), balaze obutali bumativu n’enteekateeka y’okugabira abankuseere ensimbi zibayambeko okuyita mu muggalo. Olunaku lweggulo abantu abasoba mu mitwalo 14 mu 3642 bebabadde bamaze okwefunira ensimbi zino emitwalo e 10 Wabula […]
Omuwala yeetuze lwa Kitaawe kumulemesa mulenzi
Bya Mbogo Sadat, Poliisi y’e Kayabwe Town Council mu district y’e Mpigi etandise okunonyereza ku muwala ow’emyaka 16 eyeewadde obutwa n’afa. Kigambibwa nti Shamsa Nalwadda yeeyeewadde obutwa oluvanyuma lwa kitaawe Ssentebe wa LC2 e Kayabwe Isiah Kimbugwe Musese, okumunenyaako okutijja n’omuvubuka avuga boda ng’abadde takyakola […]
Poliisi ekutte 2 ku byokubba nambapuleeti
Bya Juliet Nalwooga Poliisi ye Lubowa, ku nkingizi za Kampala baliko abantu 2 bebakutte mu bubbi bwa namba puleti ye’mmotoka. Bano kigambibwa nti bebabadde batigomya abantu mu bitundu bye Lubowa, Zzana, Bunamwaya, Katale, Bukwenda, Seguku ne Nalumunye. Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala nemirwano Luke Owoyesigyure […]
Munnansi wa South Sudan abuuse ku kizimbe neyetta
Bya Juliet Nalwooga Poliisi ye Nansana batandise okunonyereza ku nfa yomusajja owemyaka 20 munansi wa South Sudan agambibwa nti yesse. Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala nemirirwano Luke Owoyesigyire agambye nti bino bibadde ku Alera apartments, gyabadde abeera. Omugenzi ye Kueth Nyameisha ngabadde abeera ne […]
Abalwadde ba COVID-19 badduse mu ddwaliro e Mityana
Bya Barbra Nalweyiso Abalwadde ba COVID-19 babiri badduse mu ddwaliro ekkulu e Mityana gyebabadde bajanjabirwa. Kino kibikuddwa omwogezi we’ddwaliro lino Edward Muganga, wabula tayogedde mannya gaabwe nebirala ebibakwatako. Agambye nti omu abadde ava mu bitundu bye Wabigalo mu divizoni ye Tamu atenga omulala abadde yava […]
Omubaka Kefa Kiwanuka ye ssentebbe w’akakiiko k’ebyensimbi
Bya Ivan Ssenabulya ne Prosy Kisakye Omubaka wa Kiboga East mu palamenti Kefa Kiwanika, alondeddwa nga ssentebbe wakakiiko ka palamenti akebyensimbi, era akavunayizbwa ku kutegekera egwanga. Ono alanagiriddwa nampala wa gavumenti Thomas Tyebwa ngaganeda kumyukibwa Jane Avur Pacuto, omubaka omukyala owa disitulikiti ye Pakwach. Abalala […]
Ssemadduuka wa Forest Mall ne Shoprite Lugogo zigaddwa
Bya Ritah Kemigisa Amyuka omubaka wa gavumenti e Kampala, atwala ekitundu kye Nakawa Herbert Anderson Burora alagide zzi ssemadduuka, Forest Mall ne Shoprite e Lugogo, ziggalwe. Mu bbaluwa gyeyawandiise olunnaku lweggulo nga 13 July eri abaddukanya bizineensi zino, Burora agambye nti okutandika nolwaleero nga 14 […]
Kabuleta ayambalidde Museveni kubyo’muggalo
Bya David S. Mukooza dsmukooza@ug.nationmedia.com Eyavuganya ku bukulembeze bwe’gwanga mu kalulu akawedde aka 2021, Joseph Kabuleeta ayambalidde omukulembeze we’gwanga Yoweri K. Museveni olw’okuteeka bannaYuganda mu muggalo ogutakoma. Kinajjukirwa nti mu kwogera kwomukulembeze we’gwanga okwasembayo nga 18 June, Museveni yayanukula Kabuleeta eyatageeza ngabakozesa bwebatalina buyinza kukaka […]