Amawulire
Museveni akyusizza abawandiisi b’enkalakkalira
Bya Ritah Kemigisa Ebitongole byobwanakyewa babanja omukulembeze we’gwnga anyonyole ku nkyukakyuka zeyakoze mu bakozi ba gavumenti okuli abawnadiisi abenkalakkalira. Omukulembeze we’gwanga yakoze enkyukakyuka mu bakungu 7. Abawumuziddwa kuliko Kintu Guwatudde abadde omuwandiisi owenkalakalira mu wofiisi ya Ssabaminista we’gwanga, ngono akyalina emisango mu kooti egyekuusa ku […]
Museveni akkiriza aba Gulu University okukola eddagala lya Covilyce
Bya Tobbias Owiny Omukulembeze weggwanga Museveni akkiriza ettendekero lya Gulu University okugenda mu maaso nga bakola eddagala lya Covilyce-1, okuva mu miti gyawano erigambibwa okuba nti liwonya ekirwadde kya covid-19 mu ssaawa 72. Kino kidiridde ensisinkano bannasayansi 4 okuva mu Gulu University gye babaddemu nomukulembeze […]
URA balemereddwa okukungaanya omusolo gwebalubirira
Bya Ritah Kemigisa Ekitongole ekiwooza kyomusolo Uganda Revenue Authority baalemereddwa okutuuka ku kirubirirrwa kyabwe, ekyabaweebwa gavumenti mu mwaka gwebyensimbi 2020/2021. Omulundi ogwokubiri, balamerereddwa okukitukako, ku mulundi guno n’obwesedde 2 n’obuwumbi 300. Bwabadde ayogera ne bannamawulire kamisona wekitongole ekiwooza kyomusolo John Musinguzi akaksizza nga bwebakunganyizza obwesedde […]
Omukazi atunze abaana ku bukadde 2 n’ekitundu
Bya Juliet Nalwooga Poliisi mu distulikiti ye Mukono eriko omukazi nakampaate gwekutte, nga kigambibwa nti yatunze abaana be 2 obukadde 2 nekitundu okubasadaaka. Okusinziira ku mwogezi wekitongole kyaba mbega, Criminal Investigation Directorate Charles Twine baazudde omulambo gwomwana omuwere, owemyezi 9 mu kabuyonjo ngomutwe gwasaliddwako ku […]
Sipiika alagidde kuby’eddubu eryasse omukazi
Amyuka omukubiriza wa palamenti Anita Among alagidde minisita webyobulambuzi, okugenda mu disistulikiti ye Amuru mu kitundu kya Kilak South bajje ensolo, okuli eddubu nenjovu mu bantu. Ebisolo bino kitegezeddwa nti bitandise okutta abantu nokusanyawo emmere yaabwe, era bangi kati basula ku maggwa. Kino kyadiridde omubaka […]
PLE Afuluma lunnaku lwankya
Bya Damalie Mukhaye Ekitongole kyebigezo mu gwanga, Uganda national examination board bakakasizza nti ebigezo bya PLE bigenda kufuluma olunnaku lwenkya. Wabula kikanyiziddwako nti abakulu bamasomero tebajja kuweebwa mpapula mu buliwo, kubanga kinaaba kyabulabe era kyandivaako okusasana kwa ssenyiga omukambwe. Minisita webyenjigiriza nemizannyo Janet Kataha yajja […]
Lukwago ne Kasozi kwekuli anaasikira Ssebugwawo
Bya Damali Mukhaye Abavuganya gavumenti, mu kibiina kya FDC baliko abantu 2 bebasonzeeko kwebagenda okulonda anadda mu bigere byamyuka pulezidenti wekibiina, ekifo ekyalimu Owek. Joyce Nabbosa Ssebugwawo. Kino kyadirira Owek. Ssebugwawo okuva mu kibiina ngawereddwa obwa minisita mu gavumenti ya NRM. Kati abatunuliiddwa kuliko loodi […]
Abatuuze be’Seeta bemulugunya ku basanyawo olutobazi
Bya Ivan Ssenabulya Abatuuze be Seeta mu munisipaali ye Mukono basula babutabutana, oluvanyuma lwo’muggaga atanategerekeka okutandika okusanyawo olutobazzi. Abatuuze bagamba nti olutobazi lwokka lwebalina mu kitundu, baatandise okuluyiwamu ettaka nga kikolebwa mu budde obwekiro. Basabye ekitongole ekivunanyizibwa ku buttoned bwensi okuvaayo bataase olutobazi luno. Kati […]
Poliisi e Mukono eyodde abatambula mu budde bwa kafyu
Bya Ivan Ssenabulya Poliisi e Lugazi ekutte abantu 71 abasangiddwa mu mabaala nga banywa, ekintu ekikontana nebiragiro byomukulembeze we’gwanga. Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Ssezibwa, Hellen Butoto agambye nti ekikwekweto kino kyatwaliddwa mu mabaala nemuzi loogi, wabula basanze abantu bajudde. Ku baakwatiddwa, mubaddemu nabakazi. […]
Omwana owo’mwaka ogumu afiridde mu kinnya
Bya Barbra Nalweyiso Entiisa ebutikide abatuuze ku kyalo Kiyinda B, mu Division ya Busimbi mu munisipaali ye Mityana, omwana ow’omwaka ogumu bwagude mu kinnya ekya fuuti 30 mu maka gabazaddebe nafiraawo. Omugenzi ye Hasan Ssesanga nga bazadde be ye Fatuma Naakibuli ne Sekate John nga […]