Amawulire
Alina amawulire ku Sheikh Ubaida bakuweebwa ekirabo kya bukadde 20
Bya Juliet Nalwooga Ebitongole ebyobyokwerinda birinyisiza ensimbi zebeyamye okuwa omuntu yenna alina amawulire ku mayitire ga Sheikh Ubaida Badir Din Bukenya eyetaagibwa poliisi ku bigambibwa nti ye mutwe omukulu mu batemu abali Bagala okutta Gen.Katumba Wamala. Omuntu alina amawulire kuwa sheikh Ubaida gyali poliisi yakumuwa […]
Bamufuna mpola emitwalo 15 bandiremwa okufuna ensimbi zómuggalo
Bya Damali Mukhaye Gavumenti egaanye amaanya ga bantu 150000 ababadde bayingiziddwa mu ntekateeka ezokufuna ensimbi zomuggalo. Mu kwogerako ne bannamawulire ku Media Center, mu kampala minisita owekikula kya bantu, Betty Amongi agambye nti ku bantu emitwalo 37 mu 7201 abaawandiisibwa okufuna ensimbi zómuggalo, abantu abasoba […]
DP esabye DPP agyémisango ku bagambibwa okwagala okutta Katumba
Bya Prossy Kisakye Ekibiina kye byobufuzi ekya Democratic Party kyagala abavunanwa ku misango gyokwagala okutta Gen Katumba Wamala bagibweko emisango kuba batulugunyizibwa nga bali mu budukulu Mu kwogerako ne bannamawulire ku kitebe kye kibiina mu Kampala, omuwi wa magezi ku nsonga ze byamateeka mu kibiina […]
Bannakyewa baddukidde mu Kkooti ku bye dagala lya Covidex
Bya Ruth Anderah, Ekibiina kyobwannakyewa ki Advocate for the People (AFP) kiwandikidde kkooti enkulu nga kyagala eyise ekiragiro ekiragira ekitongole ekivunanyizbwa ku bye ddagala mu ggwanga ki National Drug Authority kigyeko olukusa lwebaawa Prof. Patrick Ogwanga olwokukola nokutunda eddagala lya Covidex mu ggwanga lino. Okuyita […]
Ennyonyi ya Uganda Airlines eweddemu amafuta
Bya Ritah Kemigisa Kampuni ye’gwanga eyennyonyi, Uganda Airlines betondedde abasabae ku kisaawe kya Julius Nyerere International Airport e Dar es Salaam mu gwanga lya Tanzania olw’okubalwisa. Ennyonyi eno kitegezeddwa nti eweddemu amafuta, kwekulwawo okubaddewo, nga kino kyabaddewo akawungeezi akayise. Kati ekiwandiiko ekivudde mu kampuni ye’gwanga, […]
Abantu obukadde 660 bebalumwa enjala munsi yonna
Bya Benjamin Jumbe Embeera ku bungi bwemmere munsi yonna, eraze nti ekirubirirwa oba Sustainable Development Goal namba 2 mwebalambika okumalwo enjala ng’omwaka gwa 2030 tegunatuuka, kiyinza obutasoboka. Embeera eriwo eraga nti abantu obukadde 660 bebali obubi, mu njala era besusa nkuta zamimwa. Bino byajidde mu […]
BannaYuganda basabiddwa okweyambisa emitimbagano
Bya Ivan Ssenabulya BannaYuganda basabiddwa okweyambisa zzi looni ne ssente zebaali baatereka, okutereeza obulamu bwabwe wakati mu ssenyiga ono omukambwe. Omulanga guno gwakubiddwa, mu musomo ogubadde gukwata byensimbi ogwategekeddwa Airtel Uganda nga guvugidde ku mubala; Transforming Lives Through Digital Microfinance: Savings and Loans. Abakugu mu […]
Abalunzi e Lyantonde bekubidde enduulu ewa RDC
Bya Gertrude Mutyaba Abalunzi b’ebisolo mu disitulikiti ye Lyantonde baagumbye ku wofiisi y’omubaka wa gavumenti Catherine Kamwine nga babanja nti babaongere obukuumi ku bisolo. Abalunzi bano nga bakulembeddwamu Coleb Mwebaze bagambye nti ekibawalirizza okwekubira enduulu, kidirirdde obubbi bwebisolo okweyongera. Kati bagamba nti ssinga ab’ebyokwerinda tebakolawo […]
Abe Mityana babayimirizza okuziimba ku ttaka lya Buganda
Bya Barbra Nalweyiso Ekitongole ekiddukanya ettaka lyobwakabaka bwa Buganda, Buganda Land Board balagidde abobuyinza ku munisipaali ye Mityana okuyimiriza omulimu gwokuzimba ekitebbe kyabwe, ku ttaka lya Buganda. Bagambye nti tebagoberedde mitendera, egyetagisa okutuula ku ttaka lyobwakabaka. Bagala bano basooke bazze obugya liizi yaabwe ku ttaka […]
Ebigezo bya PLE byakufuluma ku Lwokutaano
Bya Damalie Mukhaye Minisita webyenjigiriza n’emizannyo, Janet Museveni agenda kufulumya ebyava mu bigezo bya PLE ebya 2020 ku lunnaku Lwokutaano wiiki eno. Minisitule nekitongole kyebigezo mu gwanga, Uganda National Examination Board baali batekeddswa okufuluma ebigezo bino omwezi oguwedde, wabula tebasobola oluvanyuma lwomuggalo gwa ssenyiga omukambwe […]