Bya Damali Mukhaye
Gavumenti egaanye amaanya ga bantu 150000 ababadde bayingiziddwa mu ntekateeka ezokufuna ensimbi zomuggalo.
Mu kwogerako ne bannamawulire ku Media Center, mu kampala minisita owekikula kya bantu, Betty Amongi agambye nti ku bantu emitwalo 37 mu 7201 abaawandiisibwa okufuna ensimbi zómuggalo, abantu abasoba mu mitwalo 15 basaziddwamu olwensonga ezenjawulo.
Abamu bagaaniddwa olwenamba zamasimu gabwe obutagwatagana na…
Bya Prossy Kisakye
Ekibiina kye byobufuzi ekya Democratic Party kyagala abavunanwa ku misango gyokwagala okutta Gen Katumba Wamala bagibweko emisango kuba batulugunyizibwa nga bali mu budukulu
Mu kwogerako ne bannamawulire ku kitebe kye kibiina mu Kampala, omuwi wa magezi ku nsonga ze byamateeka mu kibiina kya DP David Luyimbazi Nalukoola agambye nti mu mateeka okutulugunya omusibe tekikkirizibwa.
Ono…
Bya Ruth Anderah,
Ekibiina kyobwannakyewa ki Advocate for the People (AFP) kiwandikidde kkooti enkulu nga kyagala eyise ekiragiro ekiragira ekitongole ekivunanyizbwa ku bye ddagala mu ggwanga ki National Drug Authority kigyeko olukusa lwebaawa Prof. Patrick Ogwanga olwokukola nokutunda eddagala lya Covidex mu ggwanga lino.
Okuyita mu munnamateeka waabwe, Jude Mbabali, ssabawandiisi wékibiina kino eyaliko omubaka wa Rubaga…
Bya Ritah Kemigisa
Kampuni ye’gwanga eyennyonyi, Uganda Airlines betondedde abasabae ku kisaawe kya Julius Nyerere International Airport e Dar es Salaam mu gwanga lya Tanzania olw’okubalwisa.
Ennyonyi eno kitegezeddwa nti eweddemu amafuta, kwekulwawo okubaddewo, nga kino kyabaddewo akawungeezi akayise.
Kati ekiwandiiko ekivudde mu kampuni ye’gwanga, obuzibu bagambye nti bwavudde ku babaguza amafuta, nbo okulwawo.
Bakakasizza abasabaze nti kino tekijja…
Bya Benjamin Jumbe
Embeera ku bungi bwemmere munsi yonna, eraze nti ekirubirirwa oba Sustainable Development Goal namba 2 mwebalambika okumalwo enjala ng’omwaka gwa 2030 tegunatuuka, kiyinza obutasoboka.
Embeera eriwo eraga nti abantu obukadde 660 bebali obubi, mu njala era besusa nkuta zamimwa.
Bino byajidde mu alipoota aba Food and Agriculture Organization nebitongole ebiralala okuli, International Fund for Agricultural…
Bya Ivan Ssenabulya
BannaYuganda basabiddwa okweyambisa zzi looni ne ssente zebaali baatereka, okutereeza obulamu bwabwe wakati mu ssenyiga ono omukambwe.
Omulanga guno gwakubiddwa, mu musomo ogubadde gukwata byensimbi ogwategekeddwa Airtel Uganda nga guvugidde ku mubala; Transforming Lives Through Digital Microfinance: Savings and Loans.
Abakugu mu busubuzi, balaze obwetaavu okweyambisa tekinologiya okukola emirimu okukyusa obulamu.
Joseph Lutwama, akulira ebyemirmu ku…
Bya Gertrude Mutyaba
Abalunzi b'ebisolo mu disitulikiti ye Lyantonde baagumbye ku wofiisi y'omubaka wa gavumenti Catherine Kamwine nga babanja nti babaongere obukuumi ku bisolo.
Abalunzi bano nga bakulembeddwamu Coleb Mwebaze bagambye nti ekibawalirizza okwekubira enduulu, kidirirdde obubbi bwebisolo okweyongera.
Kati bagamba nti ssinga ab'ebyokwerinda tebakolawo kya mangu, baakwekalakaasa.
Omubaka wa gavumenti e Lyantonde Catherine Kamwine agambye nti baakizudde ngabalunzi…
Bya Barbra Nalweyiso
Ekitongole ekiddukanya ettaka lyobwakabaka bwa Buganda, Buganda Land Board balagidde abobuyinza ku munisipaali ye Mityana okuyimiriza omulimu gwokuzimba ekitebbe kyabwe, ku ttaka lya Buganda.
Bagambye nti tebagoberedde mitendera, egyetagisa okutuula ku ttaka lyobwakabaka.
Bagala bano basooke bazze obugya liizi yaabwe ku ttaka lino, ssi kumala gazimba nga tebabebuzizaako.
Okusinziira ku bbaluwa eyawandikiddwa Simon Kabogoza ssenkulu wa…
Bya Damalie Mukhaye
Minisita webyenjigiriza n’emizannyo, Janet Museveni agenda kufulumya ebyava mu bigezo bya PLE ebya 2020 ku lunnaku Lwokutaano wiiki eno.
Minisitule nekitongole kyebigezo mu gwanga, Uganda National Examination Board baali batekeddswa okufuluma ebigezo bino omwezi oguwedde, wabula tebasobola oluvanyuma lwomuggalo gwa ssenyiga omukambwe ogwalangirirwa.
Omwogezi wa minisitule yebyenjigiriza nemizannyo Patrick Muida agambye nti ku lunnaku Lwokusattu…
Bya Ritah Kemigisa
Palamenti egenda kuddamu okutuula olunnaku lwaleero, oluvanyuma lwomwezi mulamba nga bawumudde.
Kinajjukirwa bwezaali ennaku zomwezi 14 June, sipiika yayimiriza palamenti.
Kalaani wa palamenti Jane Kibirige, yategezezza ababaka nga mu lutuula lwaleero bwebagenda okulaga ababaka abatekeddwa okutuula ku bukiiko obwenjawulo.
Olutuula lugenda kutandika ku ssaawa 8 ezolweggulo, ngebimu ku bisubirwa nampala wa gavumenti Thomas Tayebwa waakuleeta ekiteeso…