Amawulire

Museveni akuutidde tiimu ekikiridde uganda mu za-OLympics

Museveni akuutidde tiimu ekikiridde uganda mu za-OLympics

Ivan Ssenabulya

July 9th, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya, Omukulembeze wegwanga asimbudde abaddusi abagenda okukikirira Uganda mu mpaka za Olympic ezigenda okuyindira mu ggwanga lya Japan Bano abakuutidde okubeera ne mpisa nga batuuseeyo. Bwabadde asimbula abaddusi bano ku kisaawe e Kololo mu Kampala, Museveni mungeri yemu abakuutidde okufaayo enyo ku bulamu […]

Bannabyabufuzi bómu Kampala batadde Gavt kunninga kunsonga zékirwadde kya Covid

Bannabyabufuzi bómu Kampala batadde Gavt kunninga kunsonga zékirwadde kya Covid

Ivan Ssenabulya

July 9th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye Ababaka ba palamenti nábakulembeze bómu kampala, balaze obwenyamivu olwa gavumenti obutafaayo kuteeka ensimbi mu mirimu gyokulwanyisa ekirwadde kya covid-19 Bano nga bakulembedwamu loodi meeya wa kampala Erias Lukwago ne minisita owekisikirize avunanyizibwa kunsonga za kampala era nga ye mubaka wa Lubaga north […]

Ow’emyaka 33 afiridde mu mpaka za walagi

Ow’emyaka 33 afiridde mu mpaka za walagi

Ivan Ssenabulya

July 9th, 2021

No comments

Bya Sadat Mbogo Poliisi y’e Buwama mu disitulikiti ‘e Mpigi etandise okunonyereza ku nfa y’omusajja agambibwa nti yafudde oluvanyuma lw’okwenyigira mu mpaka z’okunywa waragi ayitibwa Twebeereremu. Omugenzi ategeerekese nga ye Farouk Muwonge abadde aweza emyaka 33, omusuubuzi wa scrap mu Buwama A mu tawuni kanso […]

Asse kitaawe olw’okumulangira nga bweyatomerwa endiga

Asse kitaawe olw’okumulangira nga bweyatomerwa endiga

Ivan Ssenabulya

July 9th, 2021

No comments

Bya Musasai waffe Poliisi mu disitulikiti ye Nwoya ebakanye nomuyiggo ku musajja owemyaka 24, agambibwa nti yakidde kitaawe namautta olwokulangira nga bwatalina maanyi gakisajja. Ono kitaawe abaddenga amulemeddeko, afune omukazi aowene obwomu, nayenga teyeneenya. Boniface Labanya, nga mutuuze ku kyalo Pakiya mu gombolola ye Lii […]

Abalwadde ba COVID-19 abappya 559 bebazuliiddwa

Abalwadde ba COVID-19 abappya 559 bebazuliiddwa

Ivan Ssenabulya

July 9th, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya Minisitule yebyobulamu eriko abalwadde ba ssneyiga omukambwe abappya befunye 559 nabantu 29 abaafudde, ng’ebibalo bino byavudde mu kwekebejja okwakoleddwa nga 7 July 2021. Kati ebibalo ebyawamu, biraga nti Uganda erina abalwadde emitwalo 8 mu 6,140 nabakafa awamu 2,062. Ebibalo era ebivudde mu […]

Gavumenti yetaaga obuwumbi 70 okukola eddagala erigema COVID-19

Gavumenti yetaaga obuwumbi 70 okukola eddagala erigema COVID-19

Ivan Ssenabulya

July 9th, 2021

No comments

Bya Prosy Kisakye Gavumenti yetaaga obuwumbi 70 okuzimba ekkolero erinakola eddagala, erigema ssenyiga omukambwe. Kino kyabikuddwa minisita webyensimbi Matia Kasaija bweyabadde yeyanjudde eri akakiiko ka palamenti akalondoola emirimu gya gavumenti, egyokulwanyisa ssenyiga omukambwe. Ababaka ku kakiiko kano akakaubirizibwa omubaka we Bugweri, Abdul Katuntu batadde Kasaija ku […]

Ba nekolera gyange e Lyantonde bakukulumidde abakuuma ddembe

Ba nekolera gyange e Lyantonde bakukulumidde abakuuma ddembe

Ivan Ssenabulya

July 9th, 2021

No comments

Bya Gertrude Mutyaba Ba neekolera gyange mu disitilikiti ye Lyantonde bawanjagidde omukulembeze we’gwanga abayambeko ku b’ebyokwerinda abasusse okubaliisa akakanja. Bagamba nti babakuba emiggo n’okubasobyako mu budde obwa bwekiro. Abamu ku bakyala bano bagamba nti abaserikale babakwata ku mpaka kyokka nebabanyagako n’ensimbi zaabwe. Wabula omuddumizi wa […]

Abadde n’ebifananyi byabakazi abali obukunya bamukutte

Abadde n’ebifananyi byabakazi abali obukunya bamukutte

Ivan Ssenabulya

July 9th, 2021

No comments

Bya Prosy Kisakye Poliisi mu disitulikiti ye Iganga eriko omusajja gwekutte owemyaka 25, olwokutyoboola obutonde bwomukyala. Omukate ye Mwesigwa Aloysius nga mutuuze we Nkatu Proper, mu Northern division e Iganga. Ono yakkira omukayla namukuba ebifananyi nganaaba. Omwogezi wa poliisi mu Busoga East, James Mubi bekebejezza essimu […]

Poliisi ekutte agambibwa okusobya ku muwala we

Poliisi ekutte agambibwa okusobya ku muwala we

Ivan Ssenabulya

July 9th, 2021

No comments

Bya Abubaker Kirunda Omusajja owemyaka 50 akwatiddwa poliisi e Iganga ku misango gyokusobya ku muala owe owemyaka 9. Okusinziira ku musasai waffe Abubaker Kirunda, omukwate mutuuze ku kyalo Namundodi B mu gombolola ye Nakalama e Iganga. Omwogezi wa poliisi mu kitundu kino James Mubi agambye nti […]

Museveni alagidde abagamba mbu yafa bakwatibwe

Museveni alagidde abagamba mbu yafa bakwatibwe

Ivan Ssenabulya

July 8th, 2021

No comments

Bya Rita Kemigisa Omukulembeze weggwanga YK Museveni ayanukudde ababadde babungeesa engambo ku mikutu egyómutimbagano nti yafa. Mu nnaku zino amawulire ku mikutu gyomutimbagano gabadde galaga nga pulezidenti museveni bwali omulwadde enyo oba nokuba nga yafa dda Wabula bwabadde ku mukolo ogwokulayiza ba minisitabe abalala ku […]