Amawulire
Omuwala owémyaka 20 e Nansana yetugidde munju
Bya Prossy Kisakye, Abatuuze Ku kyalo Lulagala mu division ye Gombe mu Nansana municipality bagudde kukikangabwa bwebagudde kumwana owobuwala nga yetugidde munyumba mwabadde asula. Omuwala ategerekese nga Nayiga Maria nga wamyaka 20 ngabadde akola bulimu obutono tono obumubezaawo. Okusinziira ku mukyaala Naggitta Marry agambye nti […]
Abavunanibwa okwagala okutta Gen Katumba bagala kweyimirirwa
Bya Ruth Anderah, Kkooti enkulu mu Kampala etaddewo olunaku lwa Bbalaza nga 12 July okuwulirza okusaba kw’abananamteeka ba bavunanibwa mu musango gwobutemu obwali bukoleddwa ku minisita webyentambula Gen Katumba Wamala nga bagala abantu baabwe bayimbulwe, okutuusa kkooti lwenaddamu okutuula. Abavunaanwa kuliko Nyanzi Yusuf agambibwa nti […]
E Pallisa balemereddwa okujanjaba aba covid-19 abali ewaka
Bya Prossy Kisakye Abatwala ebyóbulamu mu disitulikiti eýe Pallisa balemeredddwa okutuusa obujanjabi ku balwadde ba covid-19 abali ewaka era kati basazeewo okuteekawo ekifo webanabajanjabira ekyawamu. Bino byogeddwa akulira eddwaliro ekkulu erya Pallisa Hospital, Dr.David okoth , nagamba nti bazze basanga okusomozebwa mu kutuusa obujanjabi eri […]
Owa Mobile Money attiddwa mu bukambwe e Masaka
Bya Malikh Fahad Poliisi e Masaka batandise okunonyereza kungeri abantu abatanaba kutegerekeka gyebaseemu omukozi ku mobile money, oluvanyuma omulambo gwe nebagusuula kumabbali gekkubo. Omugenzi ye Joan Nabakibi, ngabadde akolera mu kibuga e Masaka ku Victoria road. Okusinziira ku Hanifah Nanyanzi, maama w’omugenzi muwala we yabula […]
Poliisi ekutte ssentebbe eyasse muganda we
Bya Musasi Waffe Poliisi e Mbale ebakanye nomuyiggo ku ssentebbe we’kyalo Namangono mu gombolola ye Busano agambibwa okutta muganda we. Silver Wabuyi nabalala 5 kigambibwa nti balumbye Bernard Mukari bweyabadde ava ku lumbe mu budde bwekiro nebamukuba nebamutta. Atwala poliisi ye Busano, David Kibosi akaksizza […]
Museveni akaungubagidde Aggrey Awori
Omukulembeze we’gwanga Yoweri K. Museveni akungubagidde eyali minisita webyamwulire nebyuma bi kalimagezi Aggrey Awori eyafudde ekirwadde kya ssenyiga omukambwe. Museveni agambye nti Awori yalina talanta ate munnabyamizannyo nakinku, wabula era eyayingira ebyobukulembeze neyegatta neku NRM. Agambye nti yabegattako waddenga mu kusooka baalina enjawukana mu ndowooza […]
Omukwasi wa goolo ya KCCA Lukwago yetonze
Bya Lukeman Mutesasira Omwakwasi wa goal ya KCCA FC Charles Lukwago yetondedde abawagiza ne bakama be oluvanyuma lw’okola ekisobyo ekyali kitetagisa ekyabavirako okuva mu mpaka za Uganda cup. KCCA FC bweyali ekyazizza Express FC e Lugogo, Lukwago wakati mu mupiira yakuba omuteebi wa express Charles […]
Ba naansi bemulugunya kubebyokwerinda abakuba abasawo
Bya Ndhaye Moses Uganda Nurses and Midwives Union balaze okutya kungeri abasawo baabwe gyebayisbwamu obubi abebyokwerinda nga bava ku mirimu, mu budde bwa kafwi. Bano bagamba nti bangi ku banaabwe mu disitulikiti ye Kabale ne Busia bazze bakubibwa ngebyokuttale. Pulezidenti wekibiina kino Justus Cherop asabye […]
Amalwaliro g’obwannanyini bewozezaako ku bisale bya COVID-19
Bya Ivan Ssenabulya Abamalwaliro ag’obwannyini bawabudde gavumenti nti ereete, abasawo ababadde mu kutendekebwa okwongera ku muwendo gwabasawo mu malwaliro, wakati mu kulwanyisa COVID-19. Okusaba kuno kukoleddwa Grace Kiwanuka, eyakaulembeddemu banne okweyanjula eri akakiiko ka palamenti akatekebwawo okulwanyisa ssenyiga omukambwe. Kiwanuka yategezezza ababab ababadde bakubirizibwa omubaka […]
Palamenti egenda kuddamu okutuula
Bya Damalie Mukhaye Palamenti egenda kuddamu okutuula wiiki ejja ku lunnaku Lwokubiri. Palamenti yali yaggalawo omwezi oguwedde, okusobola okuyira kifo kyonna oluvanyuma lwokuzuula abamu ku babaka nga balwadde ba ssenyiga omukambwe. Kati okusinziira ku kiwandiiko ekyavudde ewa kaani wa palamenti Jane Kibirige baakuddamu okutuula ngennaku […]