Amawulire
Museveni ayagala bwegassi bwa East Africa nga tanawummula
Bya Benjamin Jumbe Omukulembeze w’egwanga Yoweri K. Museveni asabye abakulembeze ba East Africa okutekamu obwangu, okussa mu nkola omukago gwamawanga gobuvanjuba, ebeere ensibuko yobwegassi eri Africa. Kino agambye nti ayagala kiberewo nga tanawummula, okugenda okulunda ente ze. Omukulembeze we’gwanga okwogera bino abadde ayanukula, omumyuka womukulembeze […]
Ensimbi zómuggalo ekitundu ekisooka zifuluma lwakuna
Bya Damali Mukhaye Ekitundu ekisooka ekyensimbi gavt zeyasuubiza okudukirira bannauganda mu bibuga abakozesebwa ne mbeera eyomuggalo zitandika kyakufuluma ku lwokuna lwa ssabiiti eno nga 8th July. Bino byogeddwa minisita avunanyizbwa ku kikula kya bantu, Betty Amongi bwabadde ayogerako ne bannamawulire ku media center mu Kampala. […]
Bannakyewa abali mu lutalo lwa mukenenya balaze okutya
Bya Ivan Ssenabulya Ebitongole byobwanakyewa ebibudabuda abalwadde ba mukenenya n’abaana abataliiko mwasirizi, mu disitulikiti ye Mukono balaze okutya kungeri ekirwadde kya mukenenya gyekiragajaliddwa. Bano bagamba nti endwadde endala nga mukenenya tezikyafibwako, ngessira abasinga balitadde ku bulwadde bwa ssenyiga omukambwe, wabula bagamba nti nedwadde endala weziri […]
Abasawo kati bagabana masiki nábalwadde babwe
Bya Moses Ndaye, Obutaba na bikozesebwa bimala mu malwaliro mu kujanjaba ablina ekirwadde kya covid-19 kivirideko abasawo okugabana masiki na balwadde babwe. Okusinzira ku muwanika wékibiina omwegatira abannansi nábazaalisa ki Uganda Nurses and Midwifes Union Annet Birungi mu kiseera kino tebalina kyakukola wabula kukkiriza bagabane […]
Abafa ekirwadde kya Kokolo beyongedde mu muggalo gwa Covid
Bya Prossy Kisakye, Akulira ekibiina omwegatira bakawonawo békirwadde kya kokolo mu ggwanga ki Uganda Women’s Cancer Support Organization (UWCSO) Gertrude Nakigudde yenyamidde olw’engeri ekirwadde kya ssenyiga omukambwe gyekigotanyizamu ezijanjaba balwadde ba kokolo okwetoloola eggwanga lyonna. Ono agamba nti ekirwadde kya covid kivirideko okunafuya ebyobuulamu songa […]
Poliisi ejeeyo omulambo gwomuntu mu kirombe e Kasese
Bya Juliet Nalwooga Poliisi mu disitulikiti ye Kasese basobodde okujjayo omulambo gwomuvubuka owemyaka 21, eyabutukirwa ettaka mu kirombe kya zzaabu ku lunnaku Lwokutaano. Enjega eno yagwa ku kyalo Kanghobe 11 mu gombolola ye Kisinga e Kasese. Akulira ebyokunonyereza mu kitundu kya Rwenzori East Nelson Tumusiime […]
Museveni akoze ebisubizo byabwesede 75 byatanatukirizza
Bya Prosy Kisakye Obukulembeze bwakakiiko ka palamenti, akalondoola ebisubizo bya gavumenti aka Government Quality Assurance bagala palamenti eyimirize omukulembeze we’gwanga Yoweri K. Museveni obutaddamu kukola bisubizo. Ssentebbe wakakiiko kano, omubaka wa munisiapaali ye Mukono Betty Nambooze Bakireke nomumyuka we Joseph Gonzaga Ssewungu, bagambye nti waliwo […]
Poliisi etubidde nabaana 3 abaabula
Bya Ivan Ssenabulya Poliisi ye Mukono etubidde n’abaana abawala 3, abaabula okuva mu bitundu ebyenjawulo. Abamu ku baana bano baalondeddwa abazira kisa ku makubo, nga gyebabasanga nga basobeddwa. Sharuwa Sitenda owemyaka 16 agamba nti muwala wa Kulasi Kakooza ne Sharifah Namagga era agamba yava Lyatonde. […]
Eyasangiddwa ngavuba nga talina lukusa waakuwa engasi yamitwalo 50
Bya Ruth Anderah Omuvubi awereddwa ekibonerezo kyakusasula engasi ya kooti ya mitwalo 50, bwanaaba alemereddwa waakusibwe mu kkomera emyezi 10. Ono yasangibwa ng’avuba nga talina layisnsi. Omuvunaanwa ye Mpiima Charles, asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi we’daala erisooka ku Buganda Road Marion Mangeni amusomedde omusango era nagukiriza. […]
Abatuuze bé Namungoona bavudde mu mbeera lwa nsimbi zómuggalo
Bya Damali Mukhaye, Abatuuze bé Namungoona Zone 1, ekisangibwa mu gombolola yé Rubaga bavudde mu mbeera ne bookya empapula ezibadde zibaweeredwa town nga kwekuli abantu abagenda okufuna obuyambi bwensimbi ezomuggalo okuva mu gavt Minisitule eye kikula kya bantu yalagira ba town clerks okwanja empapula okuli […]