Bya Damali Mukhaye
Ekitundu ekisooka ekyensimbi gavt zeyasuubiza okudukirira bannauganda mu bibuga abakozesebwa ne mbeera eyomuggalo zitandika kyakufuluma ku lwokuna lwa ssabiiti eno nga 8th July.
Bino byogeddwa minisita avunanyizbwa ku kikula kya bantu, Betty Amongi bwabadde ayogerako ne bannamawulire ku media center mu Kampala.
Amongi, agamba nti abantu abalina okufuna kunsimbi zino emitwalo 2 mu 1,480 beebayingizidwa…
Bya Ivan Ssenabulya
Ebitongole byobwanakyewa ebibudabuda abalwadde ba mukenenya n’abaana abataliiko mwasirizi, mu disitulikiti ye Mukono balaze okutya kungeri ekirwadde kya mukenenya gyekiragajaliddwa.
Bano bagamba nti endwadde endala nga mukenenya tezikyafibwako, ngessira abasinga balitadde ku bulwadde bwa ssenyiga omukambwe, wabula bagamba nti nedwadde endala weziri era zitta.
Namusoke Angella, nga yakulira ekitongole kya Compassion Uganda era anenyeza wofiisi…
Bya Moses Ndaye,
Obutaba na bikozesebwa bimala mu malwaliro mu kujanjaba ablina ekirwadde kya covid-19 kivirideko abasawo okugabana masiki na balwadde babwe.
Okusinzira ku muwanika wékibiina omwegatira abannansi nábazaalisa ki Uganda Nurses and Midwifes Union Annet Birungi mu kiseera kino tebalina kyakukola wabula kukkiriza bagabane masiki zino
Birungi agamba nti bakakibwa okwegulira masiki basobole okugatta ku za gavt…
Bya Prossy Kisakye,
Akulira ekibiina omwegatira bakawonawo békirwadde kya kokolo mu ggwanga ki Uganda Women's Cancer Support Organization (UWCSO) Gertrude Nakigudde yenyamidde olw’engeri ekirwadde kya ssenyiga omukambwe gyekigotanyizamu ezijanjaba balwadde ba kokolo okwetoloola eggwanga lyonna.
Ono agamba nti ekirwadde kya covid kivirideko okunafuya ebyobuulamu songa n’amalwaliro agasinga gajula dda balwadde ba covid bokka ekiviridde abalwadde ba kokolo…
Bya Juliet Nalwooga
Poliisi mu disitulikiti ye Kasese basobodde okujjayo omulambo gwomuvubuka owemyaka 21, eyabutukirwa ettaka mu kirombe kya zzaabu ku lunnaku Lwokutaano.
Enjega eno yagwa ku kyalo Kanghobe 11 mu gombolola ye Kisinga e Kasese.
Akulira ebyokunonyereza mu kitundu kya Rwenzori East Nelson Tumusiime agambye nti bantu 6 awamu bebabutikirwa ettaka, wabula 5 nebasimattuka.
Omugenzi ye Joel Mbusa…
Bya Prosy Kisakye
Obukulembeze bwakakiiko ka palamenti, akalondoola ebisubizo bya gavumenti aka Government Quality Assurance bagala palamenti eyimirize omukulembeze we’gwanga Yoweri K. Museveni obutaddamu kukola bisubizo.
Ssentebbe wakakiiko kano, omubaka wa munisiapaali ye Mukono Betty Nambooze Bakireke nomumyuka we Joseph Gonzaga Ssewungu, bagambye nti waliwo obwetaavu palamenti okukoma ku mukulembeze we’gwanga kubanga asusizza okweyama natataukiriza.
Kitegezeddwa nti omukulembeze…
Bya Ivan Ssenabulya
Poliisi ye Mukono etubidde n’abaana abawala 3, abaabula okuva mu bitundu ebyenjawulo.
Abamu ku baana bano baalondeddwa abazira kisa ku makubo, nga gyebabasanga nga basobeddwa.
Sharuwa Sitenda owemyaka 16 agamba nti muwala wa Kulasi Kakooza ne Sharifah Namagga era agamba yava Lyatonde.
Mercy Namboozo owemyaka 14 muwala wa David Odero atenga maama ye Nafumpa abe Kapchorwa.
Yye…
Bya Ruth Anderah
Omuvubi awereddwa ekibonerezo kyakusasula engasi ya kooti ya mitwalo 50, bwanaaba alemereddwa waakusibwe mu kkomera emyezi 10.
Ono yasangibwa ng'avuba nga talina layisnsi.
Omuvunaanwa ye Mpiima Charles, asimbiddwa mu maaso g'omulamuzi we’daala erisooka ku Buganda Road Marion Mangeni amusomedde omusango era nagukiriza.
Omulamuzi amulagidde asasule era agambye nti ono tayonoonye budde bwa kkooti, atenga alaze obwetowaze…
Bya Damali Mukhaye,
Abatuuze bé Namungoona Zone 1, ekisangibwa mu gombolola yé Rubaga bavudde mu mbeera ne bookya empapula ezibadde zibaweeredwa town nga kwekuli abantu abagenda okufuna obuyambi bwensimbi ezomuggalo okuva mu gavt
Minisitule eye kikula kya bantu yalagira ba town clerks okwanja empapula okuli abatekedwa okufuna obuyambi buno kisobozese okubaawo obwerufu.
Wabula abatuuze bwebekenenyeza empapula nga amaanya…
Bya Damali Mukhaye
Abalwanirizi béddembe lyóbuntu basabye omuteesiteesi omukulu mu minisitule eye byóbulamu Dr Diana Atwiine alekulire ku bigambibwa nti yakwata bubi ensimbi ezaweebwayo mu kulwanyisa ekirwadde kya COVID.
Mu kwogerako ne bannamawulire mu kampala, abalwanirizi be ddembe wansi wekibiina ki Human Rights Defenders Union Uganda nga bakulembedwamu Nana Mwafula, bategezeza nti newankubadde abagabi bobuyambi okuva ebweru…