Rita Kemigisa,
Abasuubuzi 30 bagombedwamu obwala lwakujemera kiragiro kya mukulembeze weggwanga.
Bano basangibwa nga bagudde amadduka gabwe mu bitundu bya Nasser ne Nkurumah mu Kampala songa pulezidenti tanagyawo muggalo.
Okusinzira kwamyuka omwogezi wa poliisi mu bitundu bya kampala ne miriraano Luke Owoyesigyire, bakwatibwa mu kikwekweto oluvanyuma lwokufuna amawulire nti abantu bangi abeyuna ekibuga ensangi zino.
Bya Ndhaye Moses
Ekitongole kivunanyizibwa ku basiga nsimbi mu gwanga, Uganda Investment Authority olwaleero bawadde Prof Patrick Ogwang layisinsi, akulira kampuni ya Jena Herbals Ltd okugenda mu maaso n’emirimu gyokukola eddagala lya COVIDEX erikozesebwa mu bujanjabi bwa ssenyiga omukambwe.
Layisinsi emukwasiddwa, minisita wabasiga nsimbi Evelyn Anite nga bamuwadde olukusa azimbe ekkolero lya Jena Herbals Ltd.
Minisita Anite, ategezezza…
Bya Daily Monitor
Gavumenti esabiddwa okwongeramu amaanyi, okunyweza ebyokwerinda mu byemitimbagano.
Kino kidiridde alipoota eyafulumye ku mutendera gwensi yonna, oluvanyuma lwokunonyereza okwakolebwa aba Organized Crime and Corruption eyalaze nti Rwanda ebaddenga eketta abakungu aba waggulu mu gavumenti ya Uganda.
Alipoota eno yafulumye ku lunnaku lwa Bbalaza, era kyategezeddwa nti Rwanda ebaddenga erumika amsimu gabakungu bano.
Bano kuliko abadde Ssabaminisita…
Bya Prosy Kisakye
Empologoma ya Buganda, Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II, asabye abasiraamu okukuza Eid Adhuha obulungi era basabire engwanga nensi awamu, Omutonzi ajitaase ku kirwadde kya ssenyiga omukambwe.
Eid yomulundi guno ejidde nate mu kiseera ekyobulwadde bwa ssnyiga omukambwe, omuli omuggalo nebiragiro ebyenjawulo.
Omutanda abajjukizza okujjumbira okwegema, okusobola okukuuma emibiri gyabwe okuva eri COVID-19.
Mu birala agambye…
Bya Ivan Ssenabulya
Abasiraamu basabiddwa okusigala nga bakola enonno y’okusadaaka, okumala ennaku 4, ezitandise olwaleero.
Olwaleero Eid al-Adha, olunnaku oluggulawo okusadaaka ebisolo ebirungi era ebiramu, okujjukira ekikolwa kya Ibraham ekyobwetowaze bweyalaga obumalirivu eri Katonda okusadaaka mutabani we Ishmail.
Olunnaku luno lwerwekkumi 10 ku mwezi gwa Dhu al-Hijjah, asiraamu mwebakolera Hijjah ku kalenfa yobusiraamu, era ebikujjuko bimala ennaku 4
Bwabadde…
Bya Rita Kemigisa
Ab'obuyinza mu maka g'omukulembeze w'eggwnaga bavudeyo ne bategeeza nga eddagala effu eryakubwa abantu nga 800 okubagema ekirwadde kya covid-19 bweritaliimu kirungo kya butwa.
Bwabadde ayogerako ne bannamawulire director mu maka ga pulezidenti avunanyizibwa ku kulondoola ebyobulamu Dr Warren Naamara agambye nti okusinzira ku byavudde mu kwekebejja okwakolebwa ekitongole kye byeddagala ki National Drug Authority,…
Bya Prossy Kisakye
Omubaka wa Kira Municipaali mu lukiiko lweggwanga olukulu, Ibrahim Ssemuju Nganda atadde gavumenti kunninga eveeyo ewe embalirira kunsimbi zonna ezigiweereddwa mu kulwanyisa ekirwadde kya ssenyiga omukambwe bweba palamenti nga yakukakasa ensimbi endala zebagala.
Ono okwogera bino nga gavumenti yakateekayo okusaba okugya mu palamenti nga yetaaga akasse kamu nobuwumbi 300 okwongera amaanyi mu ntekateeka eyokulwanyisa…
Bya Prossy Kisakye
Omubaka wa Nakawa East mu palamenti Ronald Balimwezo asabye gavumenti okulaba ngegemesa bannauganda bonna eggyewo omuggalo bannauganda bade mu bulamu bwabwe obwabulijjo.
Okwogera bino abadde atuusa obuyambi eri abantu abakosebwa embeera eyomuggalo mu kitundu kyakikira omubadde abagoba ba bodaboda, abataxi, abakadde, nábakulembeze bemizikiti
Ono agambye nti yadde nga abakulembeze bakakasa amaanya gaabo baalina okufuna obuyambi…
Bya Ivan Ssenabulya ne Ritah Kemigisa
Ekitongole ekivunanyizibwa ku kutegekera egwanga National Planning Authority bagamba nti babusabuusa omuyaga ogwokusattu ogwekirwaddde kya ssenyiga omukambwe, mu kiseera kino nge n’emiwendo gyabalwadde abappya gyongedde okukeneera.
Mu ntekateka yaabwe eya buli wiiki nga banyonyola ku mbeera yobulwadde mu gwanga, bagambye nti mu kubala okwawamu abalwadde bakendedde nabantu 454 mu mwezi gumo…
Bya Ritah Kemigisa
Minisitule yebyobulamu ekakasizza okuwa omusubuzi Hamis Kiggundu eddagala erigema ssenyiga omukambwe mungeri yokuwagira entekateeka z’okubunyisa okugema mu gwanga.
Mu kiwandiiko minisitule kyefulumizza, omwogezi waayo Emmanuel Aineybona wabula yegaanye ebibadde byogerwa nti Ham bamuguzizza eddagala nagamba nti eddagala lya gavumenti lyonna lya bwerere.
Okusinziira ku Ainebyona, omusubuzi Kiggundu kyeyakoze yakunze banne bagemebwe atenga tekyekuusa wadde ku…