Bya Benjamin Jumbe
Ekitongole ekiramuzi kitegezeza nga bwekimaze okufuna ensimbi ezigenda okweyambisibwa mu kuwuliriza emisango egyekuusa ku byókulonda okwaliwo mu mwezi gwa gatonya.
Mu kwogerako ne bannamawulire ku Media Centre mu Kampala, omwogezi wekitongole kino Jameson Karemani agambye nti bafunye akawumbi 1.2 okukola ku misango 155 nga kuliko egyababaka ba palamenti ne gyava mu gavt ezebitundu.
Agambye nti…
Bya Prossy Kisakye
Minisitule eyékikula kyábantu, abakozi ne nkulakulana, etegezeza nga abantu 113 kwabo 501,107 abalina okufuna kunsimbi zómuggalo bwetayingiziddwa mu bibalo byabwe.
Entekateeka eyókugabira abanaku ensimbi mu bibuga abakosebwa némbeera eyómuggalo yatongozebwa ssabaminisita Robinah Nabbanja nga buli maka gaalina okufuna emitwalo 10
Entekateeka eyókuyingiza abalina okuganyulwa mu sisitiimu ya gavt yakomekerezeddwa ku lwokutaano lwa ssabiiti ewedde wabula…
Bya Benjamin Jumbe
Ekitongole ekivunanyizibwa ku kuwandiisa banauganda ekya National Identification Registration Authority kisabye abazadde okufaayo okuwandiisa obuzaale bwabaana babwe.
Omulanga guno gugidde mu kaseera akokukuza olunaku lwa Africa olwokuwandiisa abantu olumanyiddwa nga African Civil Registration and Vital Statistics Day olukuzibwa buli nga 10th August.
Bwabadde ayogerako ne bannamawulire mu Kampala, akulira ekitongole kino Rosemary Kisembo, agambye nti…
Bya Juliet Nalwooga
Poliisi etegezezza nga Fred Kajubi Lumbuye amanyiddwa nga Chemical Ali bwatali mu mikono gyabwe, wabula bagamba nti bamuguddeko emisango 15 gyagenda okuwerennemba nagyo.
Lumbuye kigambibwa nti yakwatibwa mu gwanga lya Turkey gyabadde abeera, wiiki ewedde, wabulanga negyebuli kati amayitire ge gatankanibwa.
Bwabadde ayogera ne bannamwulire e Naguru, omwogezi wa poliisi mu gwanga Fred Enanga agambye…
Bya Prossy Kisakye
Akakiiko akalwanirira eddembe lyóbuntu mu ggwanga aka Uganda Human Rights Commission kasabye govumenti okwanguyirizako munteekateeka yaayo eyókugula eddagala erigema ekirwadde kya Ssenyiga omukambwe okusobozesa bannauganda okugemebwa mu budde bafune obukuumi okuva eri akawuka ka corona akakambwe.
Mu kwogerako ne bannamawulire ku kitebe kyákakiiko mu Kampala, kamisona akikiridde sentebe wa kakiiko kano Dr Patricia Achan…
Bya Damali Mukhaye
Akakiiko akavunanyizibwa ku byenjigiriza ebya waggulu aka National Council for Higher Education kalagidde amatendekero agasomesa ebyóbusawo okugulawo mu ssabiiti ejja.
Akulira akakiiko kano Prof Mary Okwakol agambye nti kino kyatukidwako mu nsisinkano gye babaddemu nakakiiko ka baminisita ne bakkiriziganya bukuyege amatendekero gano gatandike okusomesa abayizi abali mu mwaka gwabwe ogwa kamalirizo ate abasigadde bakugulwawo…
Bya Prossy Kisakye,
Abatuuze kukyaalo Kasangombe ekisangibwa mu town council ye Wakiso bavudde mu mbeera nebekalakaasa nga bawakanya kuky’omuggaga agambibwa okwagala okubagoba kuttaka lya kabaka lyebasasulirako busuulu.
Abatuuze balumiriza Steven Wabwiine ne Kironde Ashiraf okwagala okubagoba kuttaka nga berimbika mukwagala okwelula empeeda zettaka.
Abatuuze abasoba mu 1000 bebawangalira ku ttaka lino
Omubaka wa president atuula mu district ye Wakiso…
Bya Magembe Ssabiiti,
Bakansala ku lukiiko lwa district ey’e Mubende basabye gavumenti yesonyiwe eby’okutigatiga etteeka ly’ettaka mweyagalira okukola ennongoosereza mu ttaka lya Mmayiro, nti esoosowaze ebyo ebizze bivaako abantu okugobaganyizibwa ku ttaka.
Mu kadde kano gavumenti eri mu ntekateeka ezokuleeta nnongoosereza mu tteeka lino, nga egamba kyekigenda okumalawo emivuyo egivuddeko abantu okugobaganyizibwanga ku ttaka naddala wano mu…
Bya musasi waffe
Munnabyamizannyo Joshua Cheptegei awangulidde Uganda omuddaali ogwa zaabu mu mpaka za Olympics eziyindira mu kibuga Tokyo mu Japan.
Ono yawangudde emisinde gya basajja egya egya mita 500.
Adiriddwqa munnansi wa Canada Mohammed Ahmed afunye omudaali ogwa silver ate Paul Chelimo owa America yakutte ekyokusatu nafuna ogwa bronze.
Ye munnauganda Jacob Kiplimo akutte kyakutaano mu mpaka zino.
Cheptegei…
Bya Juliet Nalwooga,
Poliisi e Nsangi etandise okunonyereza kukiviriddeko emotoka yómuyimbi owerinnya Edirisa Musuuza aka Eddie Kenzo mwabadde atambulira okukola akabenje enkya ya leero e Maya mu disitulikiti eyé Mpigi.
Okusinzira ku mawulire getufunye abadde ne banne abalala 2 wabula katonda abawanzeko eddusu bonna basimatuse wabula ekivirideko akabenje kano tekinategerekeka
Amyuka omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Kampala…