Amawulire
Poliisi e Kamuli ewenja abazigu ababbye obukadde 30
Bya Abubaker Kirunda, Polisi mu disitulikiti ye Kamuli ebakanye nomuyiggo ku bazigu, abanyaguludde obukadde 30 ku mudumu gwemmundu. Omwogezi wa poliisi mu Busoga North, Michael Kasadha agambye nti abazigu bano baliko omusubuzi owerinnya gwebateeze mu mmotoka nebamubbako ssente zino. Obubbi buno bwabadde mu munisipaali ye […]
Gavt evudeyo ku Mataba géKasese
Bya Benjamin Jumbe, Gavumenti etegezezza nga bwerina entekateeka okunoga eddagala eryenkomeredde, eri ebibamba byamataba ebiva ku mugga Nyamwamba bul lwegubooga. Eno wlaiwo nemigga emirala, egizze givaako amataba agafiriddemu abantu abawerako. Emigga emiralala kuliko Dunguluha ne Mubuku, nga wetwogerera abantu okuva mu maka 20 babundabunda songa […]
KCCA yetaaga obuwumbi 81 okumalawo akalipagano kébidduka mu kibuga
Bya Prossy Kisakye, Ekitongole ekidukanya ekibuga Kampala ekya Kampala Capital City Authority (KCCA) kyetaaga obuwumbi bwensimbi za Uganda 81okuvujirira enteekateeka yaayo eyokulwanyisa akalipagano ke biduuka mu kibuga emanyiddwa nga traffic flow control master plan. Bino byogeddwa Robert Kyukyu, avunanyizibwa ku byentekateeka mu kitongole kino bwabadde […]
Ababaka abamu bawagidde ekya Gavt okusenza ababundabunda okuva mu Afghanstan
Bya Benjamin Jumbe ne Prossy Kisakye Omubaka wa Bugiri county mu lukiiko lweggwanga olukulu, Asuman Basalirwa awagidde ekiteeso kya gavt okubudamya bannansi beggwanga lya Afhgan refugees mu ggwanga lino. Kino kidiridde minisitule evunanyizibwa kunsonga zamawanga amalala okutegeeza nga gavt bwegenda okubudamya abanonyi bobudamo abawera 2000 […]
Aba Uganda Road Fund bafulumiza obuwumbi 73.1 zidabirize enguudo
Bya Prossy Kisakye, Ekitongole kya Uganda Road Fund kifulumiza obuwumbi bwensimbi za Uganda 73.1 okudabiriza enguudo mu kitundu ekisooka mu mwaka gwe byensimbi 2021/22. Ku zino Obuwumbi bwensimbi 47 zakugenda mu kitongole kya Uganda National Roads Authority, obuwumbi 3.92 zigende mu kitongole kya Kampala Capital […]
Kkooti egobye omusango ogwawawabirwa omubaka David Sserukenya
Bya Ruth Anderah ne Ivan Ssenabulya Kkooti enkulu egobye omusango gwe byokulonda ogwawabwa eyaliko omubaka wa Makindye Sabagabo Emmanuel Sempala Kigozi nga awakanya okulondebwa kwa David Sserukenya mu kulonda okwaliwo mu gatonya gw’omwaka guno. Sempala agamba nti omubaka Sserukenya talina mpapula za buyigirize okuba mu […]
Aba DP batiisatiisiza okutwala Gavt mu kkooti
Bya Prossy Kisakye, Ekibiina ekiri ku ludda oluvuganya gavumenti ekya Democratic Party kitiisatiisiza okutwala gavt mu mbuga za mateeka olwokutyoboola eddembe lyobuntu mu muggalo gwe nnaku 42 ogwakagwa. Mu kwogerako ne bannamawulire mu Kampala, omwogezi wa DP Okoler Opio, agambye nti bateekawo ekifo abantu abatulugunyizibwa […]
Omukuumi akubye omuntu essasi erimugye mu budde
Bya Magembe Ssabiiti, Omuntu omu, abadde ateberezebwa okubeera omubbi akubiddwa amasasi agamutidewo ku kyalo Biwanga mu munisipaali ye Mubende. Omukuumi wa kampuni y’obwananyini, ategerekese nga ye Baluku Nelson kigambibwa nti yakubye omusajja ono atanaba kutegerekeka bimukwatako. Omwogezi wa Poliisi mu kitundu kya Wamala Rachael Kawala akakasizza […]
Eyasobya ku mwana atanetuuka asibiddwa emyaka 16
Bya Ruth Anderah, Kooti esalidde omusajja, eyasobya ku mwana atanetuuka ekibonerezo kyakukola busibe emyaka 16. Kanini Wilson abalamuzi ba Kkooti ejulirwamu 3 emukenderezza ku kibonerezo ekyamuweebwa oluvanyuma lwekwekeneenya obujulizi obwaletebwa. Oludda oluwaabi lugamba zaali ennaku ‘zomwezi 16 June mu mwaka gwa 2016 kkooti enkulu e […]
Omusango gwa Nantaba gwóngezedwayo
Bya Ivan Ssenabulya, Kkooti enkulu e Mukono eraze ennaku zomwezi nga 23rd omwezi guno ngólunaku olwokutandika okuwulirirako omusango gwe byókulonda oguvunanibwa omubaka omukyala owé Kayunga Aidah Nantaba. Omusango guli mu maaso gómulamuzi Olive Kazaarwe Mukwaya. Eyaliko minisita owe bya technologia Aida Nantaba yakubwa mu mbuga […]