Amawulire
Abébijjambiya e Masaka bakatta abantu 19
Bya Gertrude Mutyaba, Abatuuze ku kyalo Bisanje-Kanyogoga mu divizoni ye Kimaanya-Kabonera olwaleero bazudde omulambo ogwokubiri. Omugenzi ye Peter Mayanja ngabadde amanyiddwa nga Yeye ngbatemu baamusse mu kiro ekikeesezza olwaleero. Mu kusooka, baazudde omulambo gwa namukadde owemyaka 70 Annet Nampijja ku kyalo Kasaali mu gombolola yeemu […]
Baminisita bakkiriza bannasayansi bongerwe Omusaala
Bya Rita Kemigisa, Olukiiko lwa baminisita luyisiza ekiteeso ekyokwongeza bannansayansi omusaala mu ggwanga lino. Okusinzira ku minisita omubeezi avunanyizibwa ku kulungamya eggwanga Chris Baryomunsi,baminisita olunaku lweggulo bakkirizza abasomesa bannasayansi, ba pulofeesa, batuta, ne balekichala bongerwe omusaala. Omukulembeze weggwanga aludde nga ayagala bano okubongeza omusaala nga […]
Gavt ekwataganye ne Buganda okutumbula enkola ye Emyooga
Bya Prossy Kisakye, Gavumenti ekwataganye nóbwakabaka bwa Buganda okutumbula enteekateeka yaayo eyébyenkulakulana emanyiddwanga nga eye “Emyooga’’ nekigendererwa ekyokugusa ekirubirirwa kyayo obulungi. Bwabadde akiise e Mbuga olwaleero, Minisita avunanyizibwa ku microfinance Haruna Kyeyune Kasolo, ategezeza nti gavt eyagala eokukozesa ettutumu lya bakulembeze mu Buganda okuyita mu […]
Emiwendo gya Covid gisuubirwa okulinnya mu ssabiiti 2 egijja mu maaso
Bya Prossy Kisakye, Bannauganda abakwatibwa ekirwadde kya covid-19 bakweyongera mu ssabiiti 2 egijja mu maaso Bino bifulumidde mu alipoota eya buli ssabiiti ekolebwa ekitongole ekivunanyizibwa ku kutekeratekera eggwanga ki National Planning Authority. Mu kiwandiiko ekifulumiziddwa senkulu wekitongole kino Dr Joseph Muvawala, ssabiiti etandika nga 22nd […]
Aba FDC balumbye Museveni kunsimbi za Parish Model
Bya Damali Mukhaye, Ekibiina kye byobufuzi ekya FDC kilumbye omukulembeze weggwanga YK Museveni olwokusaba palamenti eyise akasse kalamba akensimbi ziyambe mu kuvujirira entekateka ye eyokukulakulanya emiruka emanyiddwa nga parish development model Bweyabadde asisinkanye ababaka ba palamenti abakabondo ka NRM ku kisaawe e Kololo Museveni yasaba ababaka […]
Ababaka bé Kasese bemulugunyiza
Bya Benjamin Jumbe, Ababaka ba NRM abava mu bitundu bye kasese basabye wabeewo okwanguyiriza mu kuwulira emisango gyabo abagambibwa okuba nti benyigira mu butabanguko obwali e Kasese mu 2016 Kasese. Kinajukirwa nti mu mwezi gwa musenene omwaka gwa 2016 amaggye ga gavt galumba olubiri lwomusinga […]
Akakiiko kébyókulonda kasabye omusango gwa Nsereko gugobye
Bya Ruth Anderah, Akakiiko ke byokulonda kasabye kkooti enkulu mu kampala egobe omusango gwe byokulonda ogwawawabirwa omubaka wa kampala central Muhammed Nsereko. Munnamateeka wa kakiiko ke byokulonda,Eric Sabiiti, ategezeza omulamuzi Margaret Apinyi nti eyatwala omusango guno mu kkooti munnakibiina ki NUP Fred Nyanzi alemereddwa okuwa empabaye […]
Bannakyewa basabiddwa okwegatta
Bya Ivan Ssenabulya, Eyaliko senkagale wekibiina kye byobufuzi ekya Forum for Democratic Change Dr Kiiza Besigye asabye buli akwatibwako ensonga yokulwanirira eddembe lyobuntu okukikola awatali kutya. Ono okwogera bino abadde ayogera ku kya gavt okuyimiriza emirmu gye bibiina byobwannakyewa 54 ku byekuusa ku butagondera biragiro. […]
Abadde amyuka ssabapoliisi Maj Gen Paul Oketch afudde
Bya Benjamin Jumbe, Abadde amyuka ssabapoliisi Maj Gen Paul Oketch afudde. Amawulire gókufakwe gakakasiddwa ssabaddumizi wa poliisi mu ggwanga Martin Okoth Ochola nategeza nti ono afiiridde mu makage enkya ya leero. Maj Gen Lokech yalondebwa omukulembeze wéggwanga Yoweri Kaguta Museveni okudda mu bigere bya Mzee […]
Okusunsula aba S1 ne S5 kutandika mwezi gujja
Bya Damali Mukhaye, Minisita avunanyizibwa ku byenjigiriza né byémizannyo Janet Museveni, ategezeza nga okusunsula abayizi abagenda mu siniya esooka ne yókutaano bwekugenda okutandika wakati wómwezi ogujja nogwe 10. Bwabadde afulumya ebyava mu bigezo bya bayizi abatuula s6 omwaka oguwedde mu maka gomukulembeze weggwanga e Entebbe, […]