Amawulire
Ssabalabirizi wé Kenya Makarios alondebwa okulabirira e Kanisa ya basodookisi mu Uganda
Bya Prossy Kisakye, Ssabalabirizi wé Kenya Andreas Makarios Tilydrides , alondebwa okuba omulabirizi we kanisa ya basodookisi mu Uganda oluvanyuma lwokufa kwa Metropolitan Yonna Lwanga. Ssabalabirizi Lwanga yasiza okwenkomerero olunaku lweggulo mu kibuga Athens mu ggwanga lya Buyonaani oluvanyuma lwokutawanyizibwa ekirwadde kya Kokolo okumala ebbanga. […]
Poliisi egamba Ssegirinya ne Ssewanyana bebatta abantu e Masaka
Bya Juliet Nalwooga, Obutemu bwebijjambiya obuli mu bitundu byobwagagavu bwe Masaka poliisi ebutadde ku babaka ba palamenti bannakibiina kya National Unity Platform babiri. Bwabadde ayogerako ne bannamawulire ku kitebe kya poliisi e Naguru omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga, agambye okunonyereza kwabwe ku butemu […]
Ekanisa ya Basodookisi ekungubagidde omukulembeze wabwe
Bya Prossy Kisakye, Ekanisa ya basodokisi mu Uganda eyogedde ku mugenzi abadde ssabasumba we kanisa eno metropolitan Yonna Lwanga, ngomuweereza abadde omukozi enyo ate nga abadde nomukwano mungi eri buli muntu nga bakusigala bamusubwa. Ssabasumba Lwanga yasiza okwenkomerero olunaku lweggulo mu kibuga Athens mu ggwanga […]
Executive ya SC Villa bangyongedde ekisanja
Bya Ritah Kemigisa Abaddukanya tiimu ya SC Villa oba Trustees, bongedde ekisanja eri, olukiiko olwa Executive okujira nga bakulembera emyezi 3. Mu kiwandiiko ekivudde ewssentebbe wolukiiko olwabammemba ba Villa bano bagenda kukulembera nga bwebatekateeka tiimu olwa liigi egenda okutandika nga 15 October. Bino webijidde nga […]
Abe Jinja babasuuliidde ebibaluwa
Bya Abubaker Kirunda Abatuuze ku kyalo Kavubuka mu Jinja North, emitima gyibewanise oluvanyuma lwokubasulira ebibaluwa nga bibalaliika, ngwe bwebagenda okubalumba okubatematema. Abatuuze nga bakulembeddwamu Laton Okecho bagambye nti mu bibaluwa muno, babategezezza nga bwebagenda okutta abantu 10. Okusinziira ku bibaruwa bino, bagala okutta abantu 5 […]
Ssegirinya ne Ssewanyana beyanjudde ku poliisi e Masaka
Bya Gertrude Mutyaba Ababaka ba palamenti, Allan Ssewanyana ne Ssegirinya, ekitongole kya poliisi ekinonyereza ku buzzi bw’emisango e Masaka batandise okubabuuza kajojji-jjoji w’ebibuuzo. Bano baayitiddwa okubaako byebanukula, ku bigambibwanti balina kyebamanyi ku butemu bwebijambiya obuzze mu bitundu bye Masaka. Ababaka bano batuusiddwa ku poliisi e […]
Besigye ne Bobi bakungubagidde Yona Lwanga
Bya Ritah Kemigisa BanaYuganda bongedde okukungubagira, abadde akulembera ebanezikiriza yaba-Orthodox mu Uganda, Metropolitan Yonah Lwanga. Metropolitan Lwanga yasizza ogwenkomerereo akauwngeezi akayise, era abamwulire gokufa kwe gaakakasiddwa abekanisa ye ku kitebbe. Kti eyali akulembera ekibiina kya FDC era eyavuganyako ku bukulembeze bwegwanga Dr Kiiza Besigye, amogeddeko […]
Lukwago alagidde nanyini kizimbe ekyagudde akwatibwe
Bya Ritah Kemigisa Lord Mayor wa Kampala Erias Lukwago alagidde nanyini kizimbe ekyagudde, mu Kisenyi Haruna Kiggundu, akwatibwe neba yinginiya bonna ababadde baikolako. Ekizimbe kino, kibadde kikyazimbibwa wabula kyagudde mu nkuba eyabade etonnya olunnaku lweggulo, abantu 6 bebafudde atenga abalala 2 batasiddwa. Kati Lukwago atuseeko […]
Omulamuzi aboye essimu zababaka ba NUP
Bya Barbra Nalweyiso Wabadewo akajagalalo mu kooti enkulu e Mubende ababaka mu palament 3 webajidwako amasimu gwabwe omulamuzi Emmanuel Baguma oluvanyuma lw’okubakwata lubonna nga bakwata e bifaananyi mu Court ekintu kyeyagaana edda era bwatyo nabalagira okuwaayo amassimu gabwe. Omulamuzi abategeeza nga bwabasasidde obutabatwala mu kkomera […]
Ab’ebijambiya batuuse e Nansana
Bya Juliet Nalwooga Famile esimattuse abebijambiya, bwebakubye enduulu abasekeddekezi nebabinyika mu nsuwa. Bino bibadde mu munispaali ye Nansana mu disitulikiti ye Wakiso, ngabebyokwerinda basobodde okutukira mu budde okuddukirira enduulu. Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala nemirirwano Luke Owoyesisgyire agabye nti baafunye amwulire agakwata ku bulumbaganyi […]