Bya Ritah Kemigisa
Ekitongole ekiwooza kyomusolo mu gwanga, Uganda Revenue Authority benyumiriza mu musolo gwebakungaanya ogweyongedde.
Bagamba nti wabaddewo okweyongera okuva ku buwumbi 180 nga bwegwali mu 1991 kankano okudda ku bwesedde 19 mu mwaka gwebyensimbi 2020/21.
Buno bwebubaka obuvudde mu kitongole kino, nga bajaguza emyaka 30 okuva URA etondebwawo.
Akulira ekitongole kino, kamisona General John Musinguzi, agambye nti…
Bya Prossy Kisakye,
Ekibiina kya Democratic Party kiwadde ekitongole ekidukanya ekibuga kampala ekya Kampala Capital City Authority amagezi okuyiiya butya bwebasobola okulwanyisamu omugoteko mu kibuga nga tebagobye bavuzi ba bodaboda.
Kino kidiridde entekateeka ye kitongole kino okulaga nga bwebagenda okugoba bodaboda ne taxi mu kibuga bazisikize baasi za Tondeka ezisobola okutwala abantu abangi ne kigendererwa ekyokukendeza ku…
Bya Abubaker Kirunda,
Omuwandiisi wa Kkooti enkulu, Fred Waninda ayongezaayo ensala yómusango ogwawawabirwa Kyabazinga wa Busoga, William Gabula Nadiope ogwokutwala Nnamulondo mu bukyamu.
Waninda olunaku lweggulo yabadde alangiridde nga olunaku lwaleero bwebagenda okuwa ensalawo yómusango guno wabula enjuyi zombie mu musango guno bwezirabiseeko mu kkooti ate ategezeza nga bweyawubisiddwa fayilo ezamusindikibwa omulamuzi eyaguli mitambo Jeanne Lwakakoko.
Ono kati…
Bya Prossy Kisakye,
Ekibiina omwegatira bannamateeka ki network of Public Interest Lawyers kiddukidde mu bakakiiko akavunanyizibwa ku bwenkanya aka Equal Opportunities commission nga kyagala bakake gavt okulongoosa ebyenjigiriza ebiri obubi mu bitundu ebyobugwanjuba námambuka geggwanga.
Bannamateeka bano bagamba nti okusinziira ku kunonyereza kwabwe ebitundu bino byombi abayizi bakola bubi nyo mu bigezo ebyakamalirizo ebyokyomusanvu.
Wabula kino bakitadde ku…
Bya Ruth Anderah
Kooti enkulu ekakasizza okulondebwa kwomubaka Mohammed Nsereko ngomubaka wamasekati ga Kampala.
Kooti egobye omusango gwa munna NUP Fred Nyanzi Ssentamu gweyawaaba ngawakanya okulondebwa kwa Nserko.
Omulamuzi Margret Apinyi agambye nti eyawaaba yalemererwa okuwa Nsereko ku mpaaba ye oba teyamusavinga bulungi nga bwekitekeddwa okubeera mu mateeka.
Akakiiko kebyokulonda kekasabye omulamuzi agobe omusango guno, kubanga tewaliiwo bukakafu nti Nyanzi…
Bya Gertrude Mutyaba
Omulamuzi wa kooti esooka e Masaka Arthur Ziraba ayongeddeyo okuwuliriza okweyimirirwa kw'abantu 3 abagambibwa nti baawa poliisi amawulire amakyamu.
Oludda omuwaabi nga lukulembeddwamu Opia Caroline lutegeezezza kooti nti abavunaanwa, okuli Muwonge Vincent, Francis Kayemba ne Peter Ocheng nga 28 omwezi ogwomunaana, baawa omusirikale wa poliisi Paul Nkore, aduumira poliisi mu ttundu ttundu lya Masaka…
Bya Gertrude Mutyaba
Omulamuzi wa kooti enkulu e Masaka Victoria Nakintu Katamba ataddewo olunnaku olwanga 20 omwezi guno, okuwuliriza okusaba okwatereddwayo a Puliida b'omubaka wa Kawempe North Muhammad Ssegirinya n'owa Makindye West Allan Ssewanyana okweyimirirwa.
Bano baakwatibwa ku bigambibwa nti beenyigira mu kutta abantu 3 e Masaka ku kyalo Ssenya ne Ssetaala mu gombolola ya Kimaanya-Kabonera mu…
Bya Abubaker Kirunda
Kooti enkulu e Jinja olwaleero egenda kulamula omusango oguwakanya okutuzibwa kwa Kyabazinga wa Busoga William Nadiope Gabula.
Omusango guno gwawaabwa omulangira we Bulamogi, Edward Columbus Wambuzi mu mwaka gwa 2014, ngagamba nti Nadiope ssi ye mulangira wengoma omutuufu.
Mu mpaaba ye Wambuzi agamba nti Nadiope yalondebwa mu bukyamu.
Omusango guno gugenda kulamulwa olwaleero, wabula oluvanyuma lwa…
Bya Damali Mukhaye,
Minisita avunanyizibwa kubyénjigiriza, Janet Museveni, anyonyodde lwaki gavt ekandaliriza abayizi awaka.
Mu bbaluwa gyawandiise ono agambye nti kino kikolebwa kulaba nti abaana na bazadde bakuumibwa nga balamu bungi okuva eri ekirwadde ekyazinda eggwanga ekya covid-19
Janet anyonyodde nti singa abayizi basiiga abazadde ekirwadde engeri gyekiri abasinga bava waka, abaana bano bakusigala nga bamulekwa nga bwegwali…
Bya Ivan Ssenabulya
Poliisi mu disitulikiti ye Sironko ebakanye nokunonyereza ku nfa yomukadde owemyaka 82, omulambo gwe gusangiddwa nga gutengejjera ku mugga.
Omugenzi ye Agness Nandede, ngabadde mutuuze ku kyalo Bumahanga, abadde yabula wabula omulambo gwe guzuliddwa ku kyalo Bumahaga mu gombolola ye Bukiiyi.
Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Elgon Rogers Taitika akaksizza okufa kwomukadde ono.
Agambye nti…