Bya Benjamin Jumbe
Enkuba namutikwa, omujidde embuyaga erese amaka aganjawulo mu disitulikiti ye Sironko nga bafumbya miyagi.
Okusinziira ku mwogezi wekitongole ekidukirize ekya embuyaga ekunse nekuba amayumba ku ttaka ku byao ebyenjawulo mu gombolola ye Bukise ne Bukhulo nemu tawyni kanso ye Sironko.
Eno amayumba 385 gegakoseddwa awamu nabantu 1,926.
Kino kitaddewo okutya, abantu tebasigazza wakusula atenga ne kabini…
Bya Musasi Waffe
Wabaddewo okweyongera mu nkozesa ya tekinologiya, eri ekitongole ekiramuzi mu kiseera kino ekya ssenyiga omukambwe.
Wabula mu disitulikiti ye Luweero abasibe bangi, bolekedde okuvundira mu maskomera ngemisango gyabwe tejiwuliddwa lwabutabeera na yitaneeti eyomulembe esobozesa emirimu okugenda mu maaso.
Eno abasibe abasoba mu 100 abali mu kkomera e Kitalya, babadde batekeddwa okulabikira ku Zoom mu maso…
Bya Ritah Kemigisa
Omukulembeze wegwanga Yoweri K. Museveni akubye bannaYuganda abawangalira mu United Arab Emirates (UAE), enkata ya bukadde 533.
Ensimbi zino yazibawadde ngobuyambi, bweyabadde asisinkanye abakulembeze baabwe mu kibiina kya Association of Ugandans living in the United Arab Emirates (AUU).
Agambye nti zigenda kutekebwa mu SACCO yaabwe, mungeri yokubalaowozaako balame kulowooza nti tebafiriddwako oba nti gavumenti yabasulawo…
Bya Ritah Kemigisa
Ebitongole byekibiina kyamawanga amagatte bisabye amawanga, bulijjo okuteeka ssente eziwerkao mu basomesa.
Bagamba nti kino kinaaba kyankizo mu ntekateeka yokuzukusa ebyenjigiria, ebyasanyala, nga gwemulanga ogukubiddwa awamu olwaleero ngensi yonna ekuza olunnaku lwabasomesa.
Bino webijidde nga kyenkana emyaka 2 okusoma kwagotaana, olwekirwadde kya ssenyiga omukambwe.
Mu kiwandiiko ekyawamu kyebafulumizzza, okusoma okuddamu okutojjera kutekeddwa okutandikira ku mbeera ennungi…
Bya Benjamin Jumbe
Ekitongole ekirondoola emirimu gyokuzimba, National Building Review Board bakaksizza abantu babulijjo nti bebali mu mitambo gyokulungamya emirimu gyokuzimba mu gwanga.
Kino bagambye nti baakwongera okukikola, nga basinziira mu mateeka agafuga ebyokuzimba.
Bano baafulumizza alipoota yaabwe, kungeri abantu gyebagobereramu amateeka mu kuzimba.
Wabula alipoota yalaze nti abantu bazimba tebagoberera mateeka, ngebibalo biri wansi ku 25% mu bibuga…
Bya Ruth Anderah
Omulamuzi wa kooti enkulu e Mukono agobye omusango ogwokusattu, egyali gyaggulwa ku mubaka omukyala owa disitulikiti ye Kayunga Aidah Nantaba.
Omulamuzi Olive Kazarwe Mukwaya alagidde eyawaaba Harriet Nakawunde okusasula ebisale eri Nantaba byasasanyizza mu musango guno.
Nakawunde yawawabira Nantaba ngamulumiriza okumenya amateeka gebyokulonda, era abadde alumiriza nti waliwo bus 17 ezaali zikubyeko abantu, abaletebwa mu…
Bya Gertrude Mutyaba ne Prosy Kisakye
Ab’oludda oluvuganya gavumenti bagenda kutuula olwaleero, okusalwo ekiddako oluvanyuma lwakediimo kebalangirira.
Mu lukiiko luno bagenda kusalwo oba banagenda nako mu maaso oba nedda.
Wiiki ewedde, akulira oludda oluvuganya gavumenti Mathius Mpuuga, yakulemberamu babaka banne nebekandagga oufuluma palamenti oluvanyuma nebalangirira nga bwebazize entuula za palamenti.
Kino baakikola nga bawakanya ekyokuddamu okukwata babaka banaabwe owa…
Bya Benjamin Jumbe,
Omukulembeze weggwanga Museveni ategezeza nga gavt bweri mu kukola kukyokwongera okumyumyula amateeka eri abannauganda abafuluma eggwanga
Ono okwogera bino abadde ayanukula okwemulugunya kwa bannauganda abali United Arab Emirates nga bagamba nti bannauganda bangi abakukusibwa okweyingira ensi eyo.
Enkya ya leero museveni asisinkanyemu abakulembeze ba bannauganda abawangalira mu United Arab Emirates, wansi wekibiina kyabwe KI Association…
Bya Ivan Ssenabulya,
Eyaliko omulamuzi mu kkoti ensukulumu George William Kanyeihamba yegasse ku bavumirira ekya pulezidenti okwagala okugyawo beyilo eri abateberezebwa okuzza emisango gyannagomola
Omukulembeze weggwanga azeenga ayimbirira ekitongole ekiramuzi okutagaba beyilo eri abantu abali kumisango omuli egyobutemu, obutujju, basseduvuto n’abalala nga agamba nti kino kitataganya enkunganya yóbujjulizi.
Mu kwogerako nómukutu gwa mawulire ogwa NTV omulamuzi kanyeihamba agambye…
Bya Prossy Kisakye,
Abóludda oluvuganya mu palamenti bakutuula mu kavubo basalewo oba bagenda mu maaso nokusalawo kwabwe okwasooka okwobutaddamu mu sseteserezo ku byekuusa ku babaka banabwe abakwatibwa.
Ku lwokubiri lwa ssabiiti ewedde ababaka abali ku ludda oluvuganya nga bakulembedwamu omukulembeze, Mathius Mpuuga, bekandaga ne bafuluma palamenti nga bawakanya engeri banabwe okuli omubaka wa Kawempe North Muhammad Ssegirinya…