Amawulire
Abaana 2 bafiridde mu muliro e Namisindwa
Bya Ivan Ssenabulya Entiisa ebutikidde abatuuze ku kyalo Bumuleki mu gombolola ye Bubutu mu disitulikiti ye Namisindwa, abaana babiri bwebasirikidde mu muliro ogukutte ennyumba. Enjega eno ebaddewo mu kiro ekikesezza olwaleero, ngabagenzi ye Wadulu Brighton abadde aweza emyaka 6 ne Mukite Blessing owemyaka 3 nga […]
Uganda tekozesezza misingi egyalekebwawo abafuzi bamatwale
Bya Ritah Kemigisa Uganda eremereddwa okuzimba ebitongole ngetandikira ku misngi egyazimbibwa, abafuzi bamatwale ababawa obwettwaze emyaka 59 emabega. Bino byogeddwa, omusomesa we Makerere Mwambustya Ndebesa nga Uganda egenda okukuza emyaka 59 egyobwetwaze. Okusinziira Mwambustya, abazungu baali bazimba emisingi ensi kwetambulira, era bangi bajitambuliddeko nebagenda mu […]
Abaana mu Africa bagenda kugemebwa omusujja gwensiri
Bya Ritah Kemigisa Abaana bonna ku lukalu lwa Africa bagenda kugemebwa ekirwadde kyomusujja gwensiri, mu kawefube owebyafaayo okulwanyisa ekirwadde kino. Obulwaddde bwa Malaria kikyali kizbu kyamaanyi, era butta abaana bangi abawera. Kati abakugu baasobodde okuvumbula eddagala erigema, lyebatuumye RTS, S Vaccines, nga lyakakaksibwa emyaka 6 […]
Uganda enenyezebwa olw’obutayolesa mmotoka ya Kiira
Bya Prosy Kisakye Minisita wa sayansi ne tekinologiya Dr Monica Musenero obutayolesa mmotoka ya Kira ekolebwa mu Uganda, mu mwoleso gwa Dubai Expo akitadde ku bbula lyansimbi. Musenero yabadde mu kakiiko ka palamenti aka tekinologiya, eno omubaka wa Terego West Joel Leku namuteeka ku nninga […]
Abasawo ababanja ensako y’okugema COVID-19 balagiddwa okusigala ku mirimu
Bya Ritah Kemigisa Uganda Nurses and Midwives Union, ekibiina ekigatta abasawo balagidde ba memba baabwe okusigala ku mirimu nga bakola, okutuusa lwebanafuna okuddibwamu okutongole okuva mu gavumenti ku nsako yaabwe gyebabanja eyokugema ssenyiga omukambwe. Pulezidenti wekibiina kino Justus Cherop agambye nti wiiki eno, baabadde batekeddwa […]
Omulamuzi omukulu Flavian Zeija yajja okuwulira okusaba kwa Ssegirinya okwokweyimirirwa
Bya Gertrude Mutyaba Ensonga z’ababaka ba Palamenti okuli Allan Ssewanyana owa Makindye West ne Muhammed Ssegirinya owa Kawempe North ez’okusaba okweyimirirwa zikyalimu kigoye wezinge. Puliida wabavunaanwa ategezeddwa ngensonga bwezolekedde ewomulamuzi omukulu Dr Flavian Zeija yajja okuzisalawo. Bano nga bayita mu ba puliida baabwe aba Lukwago […]
abákakiiko bafulumiza ennambika mu kudamu okulonda basentebe
Bya Benjamin Jumbe, Akakiiko ke byokulonda kafulumiza ebinagobererwa mu kudamu okulonda ba sentebe be bitundu nabantu abekinzo. Mu kiwandiiko kyafulumiza akawungeezi ka leero ssentebe wa kakiiko ke byokulonda Simon Byabakama agambye nti entekateeka yakusooka nakwetegereza nkalala za balonzi nga 22-26th October ate okusunsula abesimbyewo kutandika […]
Liigi y’egwanga eggulawo nga 15 Okitobba
Bya Ndhaye Moses Ebbugumu litandise, nga liigi yegwanga eya Star times Uganda Premier League 2021/22 egenda okutandika nga 15 Okitobba 2021. Kinajjukirwa nti sizoni ewedde tayaggwa, nga nemipiira egyasembayo gysambibw atemuli bawagizi, wabula ku mulundi guno mu bisaawe, mwakuberamu abawagizi abagere. Bwabade ayogera ne bannamawulire […]
Omubaka w’eKiboga awadde abasomesa emmotoka
Bya Ivan Ssenabulya Abasomesa mu disitulikiti ye Kiboga babakubyeko enkata ya mmotooka kapyata ekika kya Drone ebayambeko okugonza ebyentambula. Emmotoka eno, ebawereddwa omubaka omukyala owa disitulikiti ye Kiboga Kaaya Christine Nakimwero ngagambye nti yazudde okusomozebwa okungi abasomesa kwebayitamu. Agambye nti era yaakubayambako okujjamu ssente, okweterekera […]
Poliisi ekutte taata eyasobya ku muwala we namutikka nolubuto
Bya Juliet Nalwooga Poliisi mu disitulikiti ye Wakiso bakwataganye nabakulembeze be Bujuuko, ku kyalo Ntinda mu gombolola ye Mende nebanunula omuwala owemyaka 15 ne mwanyina, taata waabwe babadde yagglira mu nnyumba ngabasibe. Bano kigambibwa nti kitaabwe Abdul Shakur Twebaze, owemaka 67 yabadde yabagalira nga tabakiriza […]