Amawulire
Ekitongole ky’obujanjabi obwamangu kiweebwa ssente ntono
Bya Ritah Kemigisa Ekitongole ekikola ku bujanjabi obwaangu, ekya Emergency Medical Services (EMS) wansi wa minisitule yebyobulamu bakubye omulanga ku nsonga uyensimbi ezibekubya empi, bagamba nti tezikyabasobozesa kukola mirimu. Okusinziira ku kamisona wobujanjabi obwamangu Dr John Baptist Nambohe, baweebwa obuwumbi 6 nobukadde 800, nga ssente […]
Bannansi ba South Sudan bongedde okuyingira Uganda mu bubba
Bya Musasi Waffe Wofiisi ya Ssabaminisita wegwanga, balaze okutya ku muwendo gwabansi ba South Sudan abyongedde okuyingira egwanga nga bayita mu buwunjuwunju, ku nsalo mungeri emenya amateeka. Mu mwaka gwa 2020, omukulembeze wegwanga Yoweri K. Museveni yalagira ensalo ziggalwe, entekateeka eyalubirirra okutagfira okusasaana kwa ssenyiga […]
Akabenje ke Nakasongola katuze abantu 3
Bya Juliet Nalwooga Poliisi etandise okunonyereza ku kabenje, akafirirddemua abantu 3 mu disitulikiti ye Nakasongola. Akabenje kano, kaagudde mu kitundu kye Kyankonwa ku luguudo olva e Kampala okudda mu disitulikiti ye Gulu nga waliwo nabantu abalal abalumiziddwa. Okusinziira ku Isah Semwogerere, omwogezi wa poliisi mu […]
Abatuuze e Bukwo bagala CAO agobwe
Bya Musasi Waffe Waliwo abatuuze mu disitulikiti ye Bukwo mu kitundu kye Sebei abasabye minisitule ya gavumenti ezebitundu okukyusa kulira emirimu gya gavumenti oba Chief Administrative Officer owe Bukwo, Balabas Swaib. Abatuuze okuva ku kyalo Amanang nga bakulembeddwamu Joshua Chelimo balumiriza CAO enguzi, bagamba nti […]
Ente 1000 ezaali zabbibwa zinunuddwa
Bya Juliet Nalwooga Ente 1000 zezinunuddwa okuva mu mikono gyababbi, okuviira ddala mu August womwaka guno 2021 mu disitulikiti ye Napak mu gombolola ye Lotome. Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Mt Moroto nga ye Mike Longole agambye nti ente zino zibadde zisangibwa mu muluka […]
Okugema enkwa n’eddagala lya NARO kugenda kutandika
Bya Tom Angurin Gavumenti okuyita mu kitongole kya National Agricultural Research Organization–NARO etegezezza nga bwegenda okutandika okugema okwenkwa okwawamu, nga bakozesa eddagala eryavumbuddwa banasayansi ba wano. Eddagala lino ligenda kutandika okukozesebwa mu Decemba ku nkomerero yomwaka guno, wabulanga lyakutekebwa ku katale mu June womwaka ogujja. […]
Kassanda: Omusirikale attiddwa ku kkomero lyaba-China
Bya Juliet Nalwooga Poliisi mu kitundu kya Wamala eriko emmundu 2 zenunudde, oluvanyuma lwobubbi obwabadde ku kkolero lya Zian Duomi mu disitulikiti ye Kassanda. Mu bubbi buno mufiriddemu omusirikale wa poliisi ku daala lya constable atenga abalala balumiziddwa. Omwogezi wa poliisi mu gwanga Fred Enanga […]
Eyasobya ku mwana asibiddwa emyaka 26
Bya Ruth Anderah, Kkooti ejjulirwamu ekendezeza ekibonerezo ku muvubuka eyasingisibwa omusango gwokujula ebitanajja bweyakwata omwana owemyaka 2. Eric Kwagala omulamuzi wa kkooti e masaka yasooka kumusalira myaka 43 agimale mu kkomera wabula ekibonerezo kino kikendezedwa okudda ku myaka 26 oluvanyuma lwokujjulira ensala yomulamuzi nti yamulamuza […]
Omubaka Iddi Isabirye agobeddwa mu palamenti
Bya Abubaker Kirunda, Omubaka wa Bunya south mu palamenti, Iddi Isabirye agibbwa mu palamenti okusinzira ku nsala yomulamuzi Suzan Abenyo atuula e Jinja. Isabirye yatwalibwa mu kkooti munne bwebeeli kumbiranye mu kalulu Robert Ntende nga amulumiriza okubba akalulu nokutiisatiisa abalonzibe. Omulamuzi Abenyo agambye nti obujjulizi […]
Omubaka Katuntu ne Muwuma bawangudde emisango gyébyókulonda
Bya Abubaker Kirunda, Omubaka wa Bugweri county mu palamenti Abdu Katuntu awangudde omusango gwe byekulonda ogubadde guwakanya obuwanguzibwe mu kulonda okuwedde. Julius Galinsonga,munnamateeka wómu kampala, yeyatwala Katuntu mu kkooti. Omulamuzi wa kkooti enkulu e Jinja, Suzan Aenyo munsalaye agambye nti Galinsonga aremereddwa okuleeta obujjulizi obulaga […]