Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Amawulire

Eyatta bba n’abaana asibiddwa mayisa

File Photo: Kooti Enkulu eya Uganda Omukyala eyatta bba n’abaana bweyateekera enju mwebali omuliro asibiddwa mayisa. Edith Kayaga yafuna amafuta ga genereeta n’aggalira bba n’abaana mu nyumba olwo n’abakumako omuliro Ono yatta bba Ismail Kawooya n’abaana be okuli Shakira Nakubulwa ne Saidah Namale. Omulamuzi aguli mu mitambo Masalu Musene agambye nti okusingisa omukyala ono omusango yesigamye ku bujulizi obwabaweebwa…

Read More

Lukwago alemedde ku nsonga

File Photo: Lukwago nga yogeerako eri abantu Loodimeeya wa Kampala Erias Lukwago agamba nti eby’akakiiko akalondesa okuyimiriza okuwandiisa abagaala obwa loodimeeya tebigenda kumulobera kugenda mu maaso na nteekateeka ze. Lukwago agamba nti yadde yajjayo foomu ng’abamu kw’abo abagenda okwesimbawo, tannafuna kutegeezebwa  mu butongole ku bigenda mu maaso. Lukwago agamba nti mwetegefu okugenda okuwandiisibwa ku bbalaza yesogge olwokaano lw’obwa…

Read More

Akalulu- poliisi enonyereza ku mabirizi

File Photo: Joseph Mabirizi nga jeeyo foomu Poliisi etandise okunonyereza ku bigambibwa nti omu ku besimbyeewo ku bukulembeze bw’eggwanga yawambiddwa ekiro kyajjo. Kiddiridde omukulu ono Joseph Mabirizi okusazaamu kampeyini ze ng’agamba nti yawambiddwa abantu abatannaba kutegerekeka Omwogezi wa poliisi Fred Enanga agamba nti ebigambo bino tebasobola kubitwala nga byalusaago. Wabula Enanga agamba nti ssinga bakizuula nti ono yabadde alimba,…

Read More

Omulimu ku kayanja ka Kabaka gutongozeddwa

File Photo:Abantu nga bavugiira amato ku nyanja ya kabaka Katikkiro wa Buganda Owek Charles Peter Mayiga  atongozezza omulimu gw’okukulakulanya akayanja ka Kabaka e Mengo Akayanja kano kagenda kufuulibwa kya bulambuzi mu Buganda okujjamu ensimbi ezitambuza emirimu gy’obwa kabaka. Ku Kayanja kuno kugenda kuzimbibwaako woteeri , ekifo ekirirwaamu nga kiri ku mazzi, awasimbwa emmotoka, ekifo ky’obulambuzi kko n’okuketolooza olukomera. Katikkiro…

Read More

Amerika etabukidde abatujju

File Photo: Aba Alshababu Gavumenti ya Amerika etadde obukadde bwa doola 27 ku mitwe gy’abatujju ba Al Shabab 6. Abayigibwa obubi enyo kuliko  Mahad Karate era amanyiddwa nga Abdirahman Mohamed Warsame, agambibwa okubeera emabega w’obulumbaganyi bwa yunivasite ye Garissa e Kenya omwafiira abantu 148. Ye  Abu Ubaidah aliko obukadde 6 nga kati y’akulembera abatujju bano oluvanyuma lw’eyali omukulembeze…

Read More

Emisolo tegikyawera- Gavumenti

File Photo: Matia kasaija nga genda okusoma embalirila ye gwanga Ekitongole ekikunganya omusolo kiremereddwa okukunganya omusolo gwekibadde kisuubira mu mwaka gw’ebyensimbi 2015-2016 . Ekitongole kino kyali kisuubira okukunganya obusiriivu nga 3 mu kiseera kino okuvujirira embalirira y’eggwanga eya 2015/2016. Minisita w’ebyensimbi  Matia Kasaija agamba betaaga nga obukadde 300 okuziba eddibu lino. Omusolo okugaana okuwera akitadde ku basuubuzi abebalama omusolo…

Read More

Musumba yesimbye mu Kadaga

File Photo:Musumba ngaali ne Museveni Ssentebe wa disitulikiti ye Kamuli Proscovia Salam Musumba akkirizza nga bw’agenda okuvuganya sipiika wa palamenti Rebecca Kadaga ku kifo ky’omubaka omukyala. Musumba olunaku olw’eggulo y’agyeyo empapula z’okwesimba ku Kadaga bangi kyebabadde tebasubira. Musumba agamba kino akikoze oluvanyuma lw’abawagizi ba Kadaga okumukugira okutuuka mu bifo ebimu nga anonya akalulu nebamukolako n’efujjo kwekugyayo empapula. Agambye nti…

Read More

Ebizimbe byakuggalwa

File Photo: Nigirimana nga yogeera Minisitule y’ekikula ky’abantu etandise okuggala amakolero gonna ne ofiisi ezitalina bizikiza muliro, emiryango egiyitibwamu ng’omuliro gukutte wamu n’abatalina balema webayita. Omuwandiisi w’enkalakalira mu minisitule eno Pius Bigirimana agamba bazze balabula bananyini bifo bino naye nga balinga abafuuyira endiga emirere kwekusalawo okuva mu by’okutiisa babaggale. Bigirimaana agamba ng’a ogyeko eky’okuggala amakolero gano abakulira ebifo…

Read More

Prof Bukenya bamuli bubi

Ng’akalulu kajja keyongeramu ebbugumu, mu Busiro y’obukiikakkono, aba NRM beegasse okufumuula ali mu kifo kino prof Gilbert Bukenya Bano abakulembeddwamu Patrick Nakabaale bagamba nti Bukenya yatandikawo ekibiina ekikye ekya pressure for National unity kale nga tasobola kwetaba mu kamyufu k’ekibiina kyeyavaamu Ono agambye nti mukakafu nti ekibiina kyakigoberera amateeka okulaba nti bannakigwanyizi tebalya bitali byaabwe Akamyufu ke Wakiso…

Read More

Abasoba mu 100 bakoseddwa amataba

File Photo: Abayizi nga bayita mu mazzi Abantu abasoba mu 1500 beebakakosebwa amataba agavudde ku nkuba ekyafudembe mu bitundu ebyenjawulo. Kino kibikuddwa minisita omubeezi akola ku bigwa tebiraze Musa Ecweru bw’abadde ayogerako ne bannamawulire olwaleero. Echweru agamba disitulikiti okuli Amuri, Kanunugu, Kampala, Ntoroko, ne  Bududa zeezisinze okukosebwa. Ono alabudde abo bonna abali mu bitundu by’ensozi ettaka gyeritera okubumbulukuka okubyamuka…

Read More

90.4DembeFM LIVE
Live radio Omuziki Nebikuzimba Click to play