Amawulire
Sipiika afulumiza ebiragiro mu kutangira Ebola ku Palamenti
Bya Rita Kemigisa, Sipiika wa palamenti Anita Among afulumizza ebiragiro ebikakali ku Ebola eri abakiise ba palamenti n’abagenyi. Mu kwogerako eri ababaka akawungeezi kaleero oluvannyuma lw’omwezi mulamba ng’a bali mu luwummula, Among agambye nti ebiragiro bino bikwatagana n’ebiragiro okuva mu minisitule y’ebyobulamu okuziyiza okusaasaana kw’obulwadde […]
Sipiika Anita avumiridde obulumbaganyi ku poliisi yé Busiika
Bya Prossy Kisakye, Omukubiriza wa palamenti Anita Among avumiridde obulumbaganyi obwakolebwa ku poliisi ye Busiika mu disitulikiti eye Luwero. Ono era atadde kunninga minisitule eye byensimbi okutangaza palamenti oba ddala ensimbi eziyisibwa palamenti okugenda eri ekitongole kya polisi zituukayo ne zikola emirimu. Mu bulumbaganyi obwakolebwa […]
Bannakyewa basabye Gavt ku byémmere
Bya Benjamin Jumbe, Banakyewa abalwanilira ensonga z’emmere baagala Gavumenti effube okutuusa ku bannansi amawulire agakwata ku bibalo by’abantu abali obubi mu by’emmere kiyambeko buli omu okumanya wa wayinza okutandikira mu lutalo olw’okulaba ng’eggwanga libeera n’emmere emala. Okusinziira ku Agnes Kirabo akulira ekitongole ki Food Rights […]
Kkooti eragidde Dr. Kiiza Besigye addizibwe emotokaye
Bya Ruth Anderah, Kkooti ya buganda road eragidde emotoka ya Dr Kiiza Besigye eyamujjibwako mu biseera mweyekalakasiza olw’emiwendo gy’ebitundu egyaali gyeyongedde mu ggwanga emuddizibwe. Bino byonna byaliwo mu mweezi gw’omukaaga, bweyasikibwa netwaibwa ku Poliisi ya CPS mu Kampala. Wabula Kkooti eyagala motoka eno ekwasibwe Obed […]
Ebbeeyi yámafuta esuubirwa okwongera okulinnya
Bya Tom Angurin, Ebbeeyi y’amafuta eyolekedde okulinnya mu ggwanga oluvannyuma lw’ekibiina ekigatta amawanga agafulumya amafuta ebweru w’eggwanga ekya OPEC okulangirira nti okutandika nga November 1st kigenda kukendeeza ku bipipa by’amafuta obukadde bubiri ku katale k’ensi yonna. Kino kijjidde mu kiseera nga banka enkulu ezisinga okwetoloola […]
Poliisi eyodde abamenyi b’amateeka 160 e Wakiso
Bya Nalwooga Juliet, Abateeberezebwa okuba abakulembeze b’ebibinja by’abamenyi b’amateeka abasoba mu 160 bakwatiddwa mu kikwekweto ekikulembeddwamu ekitongole ekikessi ekya Joint intelligence ekikoleddwa mu bitundu okuli Nakuwadde, kireka Bulenga – kyalo Kikaya ne ku kyalo Gogonya Nakabugo parish mu disitulikiti y’e Wakiso olwaleero. Luke Owoyesigyire amyuka […]
Ababadde balina okukola ebigezo bya PLE baddukidde mu bufumbo
Bya Abubaker Kirunda, Ab’obuyinza mu Disitulikiti y’e Bugiri batandise omuyiggo ku bayizi békibiina ekyomusanvu 2 ababuzze kussomero nebeewasa. Ng’ebigezo bya Pulayimale ebya 2022 bibulako nnaku bunnaku, ebitandika nga November 8 ne 9, ab’obuyinza banoonya abayizi 2 abaawandiisibwa ku ssomero lya Buluguyi Primary School e Muwayo […]
Embeera ye Ebola e Kassanda ekyeralikiriza
Bya Barbara Nalweyiso ne Juliet Nalwoga, Minisita w’ebyobulamu Dr. Jane Ruth Aceng alaze nti kiyinza okutwala wiiki endala bbiri oba ssatu okutebenkeza Kassanda kuba y’esinze okukosebwa ekirwadde kya Ebola. Bwabadde asisinkanye abakulembeze mu disitulikiti eno akawungeezi ka leero, Dr, Aceng agambye nti mu ssaawa 24 […]
Ababaka bawakanyiza ekyókuteeka omuggalo ku Kampala
Bya Prossy Kisakye, Abamu ku babaka ba palamenti bawakanya ekiteeso kya pulezidenti w’ekibiina ekigatta badokita mu ggwanga ekya Uganda Medical Association eky’okuteeka Kampala ku muggalo ng’ekigendererwa eky’okutangira ekirwadde kya Ebola okusaasaana. Ku ntandikwa ya wiiki eno, bwe yabadde alabiseeko ku pulogulaamu ya KFM eya Hot […]
KCCA eweereddwa emmotoka 22 ziyambeko mu kulwanyisa Ebola
Bya Ben Jumbe, Ekibiina ky’ebyobulamu mu nsi yonna kiwaddeyo emotoka 22 okuyambako mu kulwanyisa ekirwadde kya Ebola, okuyita mu kulondoola abantu abagambibwa okuba noobulwadde, n’okumanyisa abantu ku bulabe bwe kirwadde kino mu bitundu bya Greater Kampala. Emotoka zino zegasseko ezekitongole kya KCCA 18 nga mu […]