File Photo: Ekidyeri ekisabaza abantu e'Karangala
Emivuyo mu kitongole ky’ebyenguudo gyeyongedde okuzuuka nga kati gizingiddemu eby’ekidyeri ekyagulibwa okusabaza abantu ku Nyanja Kyoga.
Alondoola ebidyeri mu minisitule y’ebyentambula Eng. Bernard Habaka ategezezza akakiiko akatekebwawo okunonyereza ku mivuyo gino akakulemberwa omulamuzi Catherine Bamugemeire nga okugula ekidyeri kino bwekuliko akabuuza.
Eng. Habaka ategezezza nga kampuni ya Dutchment limited bweyali ewangudde tenda…
File Photo:Aba Police nga balawuna
Poliisi mu disitulikiti ye Lira eliko pasita omukyala gwekutte lwakubba ssente n’ebintu ebirala okuva eri endigaze.
kigambibwa nti y’afeze Betty Opito ow’emyaka 40 n’atwala ebintu byo munyumba byonna ne ssente nga amusuubizza emikisa n’okumubudabuda oluvanyuma lw’okufiirwa bba.
Opito y’ategezezza poliisi nga pasita ono bweyatutte pikipiki ya bba, generator, emifaliso, TV n’ebirala n’ategeeza nga…
File Photo: Ekibuuga kye Mukono
Abatwala ekibuga kye Mukono bavuddeyo nebasamabajja ebibadde byogerwa nti batunze ettaka lyonna okulimalawo.
Bibadde biyitingana mu banabyabufuzi nabantu babulijjo nti TownClerk Innocent Ahimbisibwe ne Mayor Johnson Muyanja Ssenyonga bekobaana okutunda ettaka lyakatale ne
ddwaliro lya gavumenti nti terikyawera.
Townclerk agaanye okwogera ku nsonga zino nti temuli makulu, wabula ye mayor Ssenyonga ayogeddeko
naffe nategeeza nti…
File Photo: Aba Democratic Party
Abawagizi b’ekibiina kya Democratic Party mu disitulikiti ye Ssembabule bekubidde enduulu eri abakulira ekibiina kino ku njawukana eziyuzayuzizzamu ekibiina kyabwe.
Abawagizi bano kati bagamba bibasobedde tebamanyi wakuwagira olw’ebiwayi ebyeyongera okutondebwawo okuli ekya loodi meeya wa Kampala ekya Truth For Justice, ssaako n’abo abasimbiddwawo ekibiina kya DP ekikulu.
Omuwandiisi wa DP mu bitundu bya…
File Photo: A member ba NRM
Olukiiko lw’ekibiiba kya NRM olwokuntikko lusubirwa okutuula olunaku olwaleero okuteesa ku nsonga ez’enjawulo okuli enongosereza mu ssemateeka w’eggwanga n’amateeka g’ebyokulonda ebyakayisibwa naye nga omukulembeze w’eggwanga tanabitekako Mukono.
Ssabawandiisi w’ekibiina l Justine Kasule Lumumba ategezezza nga bwebagenda okutunula mu kawayiro akawa abataliba kibiina eddembe okusala okudda mu kibiina kyonna mu mwezi 12…
File Photo:Nakalema Jamiidah ngali ne Kabaka Mutebi
Omumbejja Nakalema Jamiidah alabirira olubiri lwa Gulu mu Kyaggweokulinaana embuga ye ssaza avudde mu mbeera natabukira abakungungabalumiriza okutunda ettaka lyonna okulimalawo.
Agambye ettaka okuli embuga ye Kyaggwe lyali liwerako yiika 49 wabula litundiddwa awatabadde bweruffu.
Ono okuva mu mbeera kidiridde abe ssaza okusenda
emmere ye yonna nga bagala okuzimba amayumba mu nkola…
File Photo: Abantu abalina obulemu
Abalina obulemu ku mibiri gyabwe mu disitulikiti y’e Masaka benyamidde olw’abantu abatali balemu abesimbawo ku bifo byabwe.
Nga bakulembeddwamu akiikirira abalema ku gombolola ye Kyesiiga Bbaale Mudathiru , abalema bano bagamba abantu banji bagyeyo empapula okwesibawo ku bifo by’abalema .
Bbaale agamba abantu nga bano bwebatuuka mu bifo by’obkulembeze belowozaako bokka nebasuula muguluka…
Lumumba nga bamugwa mukafuuba
Ssabawandiisi w’ekibiina kya NRM Lumumba Kasule agiddeyo mukamawe pulezidenti Museveni empapula z’okusunsulibwa ku bwapulezidenti wali ku ofiisi z’akakiiko k’ebyokulonda
Wakwegatta ku lukalala lw’abantu abasoba mu 30 abakagyayo empapula zino okwesimbawo ku bwapulezidenti mu kalulu ka 2016.
Bano kuliko eyali ssabaminisita w’eggwanga Amama Mbabazi, eyali meeya wa Kampala Al- hajji Nasser Ntege Ssebaggala n’eyali omumyuka…
File Photo: Abantu mu Buyindi nga bali mu kooti ye kyalo
Mu ggwanga lya Buyindi abawala ab’oluganda 2 basaliddwa gwakusobezebwako olwamuganda waabwe okubulawo n’omukazi omufumbo.
Olukiiko lw’ekyalo lusazewo Meenakshi Kumari myaka 23 ne kaganda ke akato ak’emyaka 15 bakwambulwa mu lujudde olwo abasajja babasobyeko mu lujudde.
Kino kibikuddwa ekibiina ekigaba ekisonyiwo ekya Amnesty International nga era abawala bano…
File Photo: Mbabazi nga kutte foomu emukiliza okwesimba wo ku bwa pulezidenti
Omuwendo gw’abantu abakajayo empapula okwesimbawo ku bukulembeze bw’eggwanga gulinye okutuuka kku bantu 31.
Olwalero Jerry Kabuye okuva mu kibiina kya Uganda Patriotic Movement, naye agyeeyo empapula.
Wabula omwogezi w’akakiiko k’ebyokulonda Jotham Talemwa agambye nti omuwendo gw’abagyayo empapula gweyongedde okukendeera era nga n’enaku ezimu tebakyafunayo bantu.
Kinajukirwa nti…