Waliwo ekibinja ky’abavubuka ba NRM ekirumbye poliisi ye Kiira e Kamwokya nga kyagaala eyali ssabaminisita Amama Mbabazi ayimbulwe
Abavubuka bano abeeyita abatalina mirimu babadde era bagaala kulaba ku Mbabazi nebagaanibwa
Mu kavuvungano akabaddewo abavubuka 11 bakwatiddwa nga ku bano babiri bawala.
Yye nno Mbabazi negyebuli kati akyagaanye okukola sitatimenti ku poliisi gyeyatwaliddwa okuva ku makya
Okusinziira ku munnamateeka we…
Poliisi mu kibuga Kerala mu ggwanga lya Buyindi poliisi eriko abazadde bekutte lwakutunda muwalawe ow’emyaka 13 eri abasajja okumukozesa mu nsonga z’omukwano.
Omuwala ono ategezezza nga bazadde be bwebabadde bafuna ssente okuva eri agasajja gakagwensonyi negamuddako okumukabasanya.
Agasajja gano gabadde gasasula rupees 3000 okwetasiza ku kawala kano nebakamalirako ejjakirizi.
Abantu abali eyo mu 40 poliisi etegezezza nga bw’egenda…
Omuyimbi wa golden Band Catherine Kusaasira kyaddaaki ayimbuddwa.
Kusaasira yeeyimiriddwa ku kakalu ka kkooti ka mitwalo 50 ezabuliwo ate abamweyimiridde ababiri buli omu asaliddwa obukadde 50 ezitali zabuliwo.
Abamweyimiridde kubaddeko akulira ekibiina ekigatta abayimbi nebannakatemba Andrew Benon Kibuuka ssaako ne ssentebe wa LC esooka Entebbe amanyiddwa nga Figo.
Ye Maneja wa wa Golden Bank Musa Kavuma bangi gwebamanyi…
Ab’e kitongole kya KCCA abakola ku by’obulamu bagadde ekifo by’eby'emmere mu supamaketi ya Shoprite.
Ekifo kino kigaddwa oluvanyuma lw’abalondoola ebyobulamu mu KCCA okusanga ng'ekifo kino kijama nga tewasaana kuva kyakulya kiriibwa bantu.
Omwogezi wa KCCA Peter Kauju agamba bazze balabula abatwala ekifo kino okutereeza obuyonjo ku nsonga eno awatali kukyuusamu.
Kauju agamba bano bakubaggala okutuusa nga batuukirizza obukwakulizo…
Ab’omukago gw’ebibiina ebivuganya gavumenti ogwa Democratic Alliance bavumiridde okukwatibwa kwa Mbabazi ne Besigye.
Mu kiwandiiko kyebafulumizza olwaleero, balumiriza gavumenti ya NRM okukozesa poliisi okutuukiriza ebigendererwa byayo.
Ekiwandiiko kino kisomeddwa ssenkaggale w’ekibiina kya JEEMA Asuman Basalirwa ategezezza nga poliisi bw'esanye okwewalira ddala okumenya amateeka .
Basaalirwa agamba baakugenda mu maaso n’okubanja enongosereza mu mateeka g’ebyokulonda.
Abalala ababaddewo kubaddeko eyali omumyuka…
Akakiiko k’ebyempuliziganya aka Uganda communications commission kavuddeyo nekalabula emikutu gy’amawulire gyonna ku kufulumya amawulire mu ngeri y’ekikugu okwewala okuwabya abantu naddala mu biseera bino nga tusemberera okulonda kwa 2016.
Mu kiwandiiko ekifulumye, akulira akakiiko kano Godfrey Mutabaazi ategezezza nga buli mukutu bwegusanye okufulumya amawulire agatukiridde awatali kyekubirira yenna.
Okulabula kuno kujidde mu kiseera nga wakayita nnaku nga…
Poliisi ekyayiriddwa ku makubo agagenda e Mbale.
Oluguudo lw’e Mbale-Tirinyi okutuuka e Iganga poliisi etaddewo emisanvu 3 ku lutindo lw'okumugga Mpologoma, e Budaka ne Naboa.
Mungeri yeemu poliisi eriko abantu 6 b'ekutte ababadde batambulira mu mmotoka ya Toyota highlander UAT 916G nga babadde n’ebifananayi bya Mbabazi munda.
Ate agava mu bitundu bye Bungokho galaga nga omukwanaganya wa Mbabazi…
Mu kibuga y’e Mbale amaduuka agasinga gakyali maggale nga abagakolamu abasinga baasazewo besigalire ewaka nga batya nti akavuyo kandibalukawo essaawa yonna.
Abamu batudde wabweru w’amaduuka gaabwe beerasiza luboozi.
Tukitegeddeko nti n’abatunzi b’ebirime baganye okutwalayo ebirime byabwe nga batya okufiirizibwa.
Ate ku siteegi za bodaboda, Taxi ne baasi emirimu gisanyaladde ng'abasaabaze obabalira ku ngalo.
Bwekituuse ku masomero abayizi abamu tebatawanye…
Negyebuli kati, bannamateeka b’eyali ssabaminisita w’eggwanga Amama Mbabazi bakyalwana okulaba nti ava ku poliisi Kiira gyeyaggaliddwa
Bino bikakasiddwa munnamateeka we Fred Muwema agamba nti omuntu we tebannaba kumuta.
Kyokka Muwala we Nina Mbabazi yeeyasoose okutegeeza eggwanga lya kitaawe bweyabadde ateereddwa ku kakalu ka poliisi.
Mbabazi yakwatiddwa amakya galeero wali e Njeru bweyabadde agenda e Mbale mu lukiiko lw’okwebuuza…
File Besigye nga alwanagana ne police
Eyali ssenkaggale w’ekibiina kya FDC Dr. Kiiza Besigye naye akwatiddwa.
Besigye akwatiddwa nga yakava mu makage e Kasangati okukuba kampeyini ye esooka ku ky’okukwatira ekibiina kye bendera mu kulonda kwa pulezidenti okwa 2016.
Omuwandiisi w’okukubiriza banakibiina Ingrid Turinawe akakasizza okukwatibwa kwa Besigye.
Besigye abadde asuubirwa okutongoza kampeyini ze ez’okukwatira ekibiina kya FDC bendera…