Bya Shamim Nateebwa.
Edwaliro erikola ku bulwadde bw’emitima elya Uganda heart institute litegeezeza nga omuwendo gw'abaana abazalibwa n'obulwadde buno bwegugenze gulinya buli kaddde.
Ebiwandiiko ebiriwo biraga nga abaana abawerera dala 15,000 bwebazalibwa n'obulwadde buno buli mwaka.
Dr.John Omangino akulira edwaliro lino agamba abaana 7,000 kubano bazalibwa nga beetaga obuyambi obwamangu.
Kati ono ayagala abazadde batandike okusomesebwa nga bukyali kukivirako…
Bya Shamim Nateebwa.
Abakuggu muby'obulamu balabudde abantu abeeyunira okukozesa kabuyonjo ez'okutuulako, nga bagamba nti zino zandiba ez’obulabe ggyebali
Twogedeko ne Dr. Ambrose Nuwagaba okuva e Mulago n’agamba nti Omuntu akozeseza kabuyonjo ey'okusitamako ayanguyirwa okufulumya obubi okusinga oyo atuddeko obutuuzi , kale nga kino kikendeeza emikisa egyokufuna kookolo wekyend, amayinja mu lubuto n’ebirala.
Mu ngeri yeemu Dr Ambroze…
Bya samuel ssebuliba.
Office ya ssabaminista wa uganda etegeezeza nga amakungula g’omulundi guno bwegagenda okubeera amanafunafu, nga kino kivudde ku busaanyi obwalumba uganda.
Kizuuse nga obusaanyi buno bukosezza nyo ebirime nga kasooli n’omuwemba , kale nga ebeeyi ya kasooli n’ebirara byonna ebiva mubuwunga by’akuseerebwa.
Alipoota yeemu eraga nti obusaanyi buno butuuse n’emubitundu nga Kayunga ne Mukono, songa sabiiti…
Bya Ndaye Moses
Gavumenti eremereddwa okumatiza abasawo badde ku mirimu okuva mu kediimo kebalimu.
Ssbaminista we gwanga Dr. Ruhakana Rugunda assisinkanye abasawo ku ddwaliro ekkulu e Mulago wabula, byonna byabaddenga abagamba nga bibagwa nkoto.
Ssabainista asabye abasawo bano baddeyo ku mirimu, nabasubiza nti babakolera entegeka basisinkane omukulembeze we gwanga nga 17th omwezi guno, wabula byona abaddenga siwa ensaano…
Bya Damalie Mukhaye.
Mu district ye kasese mu kitundu kye Bwera agavaayo galaga nga ekirwadde kya kolera bwekirumbye ekitundu kino, era nga wetwogerera abantu 3 bebakafa, songa 36 bali mukufuna bujanjabi.
Twogedeko ne Dr yusuf Basega, nga ono yaakulira ebtobulamu e Kasese n’agamba nti ababiri abaasose okufa baafude amangu dala nga baakatusibwa mu dwaliro, songa omulala yafiiride…
File Photo: Abantu mu dwaliro
Abatuuze be Ntanzi mu gomboloola ye Ntenjeru district ye Mukono
balajanidde gavumenti okuvaayo ebadukirire ku mbeera yebyo’bulamu embi mu kitundu.
Bano bagamba balina endwadde ezenjawulo wabula eddwaliro lya gavumenti mu kitundu erya Kojja HC.IV tebabawa bujanjabi bwebetaaga.
Bano okubadde nabakadde basangiddwa nga basinda bagamba abasawo ba bboggo, tebabawa ddagala wabula babalagira bagende ebweru we…
Ekirwadde kya Cholera kizzemu okubalukawo mu disitulikiti ye Sironko nga tewanayita namyezi 2 nga kyekiggye kigoye abeeno.
File Photo: Omulwadde wa kolera
Kati abantu 3 bebakaweebwa ebitanda mu malwaliro agenjawulo.
Ku ntandikwa y’omwaka guno cholera yazingako ebitundu bye Mbale ne Sironko nga era yatta abantu 10 n’abalala nebaweebwa ebitanda.
Omubaka wa pulezidenti e Sironko Moses Wamoto Kigayi agamba abalwadde…
File photo: Omusawo nga koola kumulwadde
Minisitule y’ebyobulamu eweereddwa amagezi okuteeka amaanyi ku basawo abagaana okukolera gyebabasindika yadde mu byalo.
Kino kigendereddwamu kukendeeza ku bbula ly’abasawo.
Amagezi gano gaweereddwa ssentebe w’akakiiko akakola ku by’obulamu n’ategeeza nga abasawo bwebajja okusoboloa okugabanyizibwa kyenkanyi nemubitundu ebizibu okutuukamu.
Mu mwaka gwa 2014-2015 akakiiko kawandiisa abasawo 800 ku mutendera gwa disitulikiti wabula n’okutuusa kati…
File Photo : Abalwadde mu dwaliro
Abakugu mu bulwadde bwa mukenenya bakizudde nti eddagala eriweweeza ku bulwadde bwa Mukenenya linafuya omuntu n’aba ng’akwatibwa mangu endwadde.
Omukugu mu kunonyereza ku ndwadde ezibuna amangu, Dr. Damali Nakanjako agamba nti bekenenyezza abantu abatandika ku ddagala mu mwaka gwa 2008 wegwatuukidde mu mwaka gwa 2015 ng’emibiri gyaabwe ginafuye.
Dr.Nakanjako asabye abantu bulijjo…
File Photo:Abantu nga bamwa waralagi
Abasogozi b’omwenge batandise kawefube w’okubangula abantu ku kabi akali mu kunywa ennyo omwenge mu malwaliro.
Omukulu mu kkampuni ya Nile Breweries Onapito Ecomoroit agamba nti kampeyini eno bagisoosezza mu bakyala abali embuto okulaba nti tebanywa mwenge kubanga gwa bulabe eri omwana.
Kawefube eno bagenda ku mutuusa mu malwaliro gonna amanene mu ggwanga.
Atwala eddwaliro…