Ebyobulamu
Amasomero gonna gakukolanga duyiro ku buwaze.
Bya Shamim Nateebwa . Government etegeeze nga okukola duyiro bwekugenda okufuuka okw’obuwaze eri buli somero mu uganda , nga otwalidemu n’amasomero ag’obwananyini. Bwabadde alangirira olunaku olw’okukola duyiro wano e Entebbe minister akola ku by’obulamu Dr. Jane Ruth Acenge agambye nti mukaseera kano bakolagana ne ministry […]
Pulezidenti avumiridde abavugisa ekimama.
Bya Samuel Ssebuliba. Omukulembeze we gwanga Kaguta Museveni atabukidde abagoba b’ebiduka abagufudde omuzze okuvuga endiima, okukakana nga bakoze obubenje. Bino webigidde nga obubenje ku nguudo ez’enjawulo bweyongedde naddala olwa Gulu- Kampala nga eno bus yakagwa wano e kaluma okukakana nga esse abantu abasuka mu 20. […]
Ababundabunda baakugemebwa ekirwadde kya kolera.
Bya samuel sebuliba. Gavumenti ya uganda etegeezeza nga bwegenda okutandika okugema abantu be Hoima abakoseddwa ekirwadde kya Cholera nga bano okusiga bebabundabunda. Okugema kuno kugenda kugassa abantu abasuka mu mitwalo 36 mubifo 6 okuli Kyangwali, Kigorobya Kabwoya egombolola ye Buseruka , Town council ye kigolobya, […]
Abasawo baanukudde omukulembeze we gwanga.
Bya Ben Jumbe. Ekibiina ekitaba abasawo ekya Uganda Medical Association kyanukudde omukulembeze we gwanga ku by’okwekakalaasa, nga ono yavudeyo olunaku olw’egulo nabalengezza olw’okwekalakaasa kw’ebaalimu gy’ebuvudeko. Bweyabadde ayogerera ku lunaku lw’abakozi olw’abadde e sembabule, President yagambye nti abasawo bano baali basazeewo okuteeka government ku bunkenke okusobola […]
Kizuuse nga abantu abafa omuka omukyamu gwebasika beeyongedde.
Ssebuliba samuel Waliwo okunonyereza okukoleddwa ekitongole ekikola ku by’obulamu munsi yonna nekizuuka nga kubuli bantu 10 mu nsi yonna, abantu 9 basika ebikaka ebikyamu ebiyinza n’okukosa obulamu bwabwe. Alipoota eno ekizudde nga abantu obukadde musanvu bebafa buli mwaka okwetoloola ensi yonna nga bino biva ku […]
Abaana bakugemwa ekirwadde ky’embiro.
Bya Ndaye Moses. Ministry ekola ku by’obulamu etegeezeza nga bwerina entekateeka ez’okutegeka okugema okwekikungo eri abaana bonna abatanaweza myaka etaano okusobola okubatangira ekirwadde eky’embiro. Bano bagenda kuweebwa eddagala okusobola okubataasa obuwuka obuleeta obulwadde buno naddala mu baana abato. Twogedeko n’akulira ebyokutekateeka mu kitongole ekya […]
Abantu abasoba mu 700 bajanjabiddwa.
Bya Getrude Mutyaba. Abantu abasooba mu 700 baweereddwa obujanjabi obw’obwereere okuva mu bitongole eby’enjawulo mu lusiisira lw’ebyobulamu olubadde mu kibuga kye Lukaya ku ddwaliro lya Matovu Medical Centre. Mu ntekateeka eno endwadde ezijanjabiddwa kubadeko kookolo,mukenenya, omusujja, akafuba, lubyamira n’endala. Omusawo omukugu mu kujanjaba endwadde z’abaana Dr Margaret Ntambaazi nga yoomu […]
Govumenti tenasalawo ku ky’okuleeta abasawo okuva mu Cuba.
Bya Ndaye Moses. Ministry ekola ku by’obulamu etegeezeza nga bwetanakola kusalawo okw’onkomeredde ku kyokuleeta abasawo okuva mu Cuba bajje bakole mu uganda. Bwabadde ayogerako ne banamawulire, Dr. Diana Atwine nga ono ye muwandiisi ow’enkalakalira mu ministry eno agambye nti government mu kaseera kano ekyakubaganya ebirwozo […]
Abavubuka baakutendekebwa ku nkola ey’ekizaala gumba.
Bya Ritah Kemigisa. EKitongole ky’obwanakyeewa ekikola kunkola ey’ekizaala gumba ekya Reproductive health Uganda kitegeezeza nga bwekitandise okuyita mu bavubuka okusomesa banabwe enkola ey’ekizaala gumba. Twogedeko n’akulira ekitongole kino Jackson Chekwek n’agamba nti kino baakikoze okusobozesa abaana ab’obuwala okutandika okwemanyiiza enkola eyekizaala gumba, nga amawulire gano […]
Aba Rotary baduukridde edwaliro lye Nakasongola.
Bya Ivan Ssenabulya. Wano e Nakaseke,tutegeezeddwa nga edwaliro lye Nakayonza Health Centre 3 mu gombolola ye Lwabiyata bweritandise okudabiirizibwa Ono kaweefube yenna eteredwamu ensimbi aba Rotary Club eya Lugogo Mango Tree era nga bataddemu obukadde 46. Twogedeko ne president wa w’etabi lino Robert Nsereko n’agamba […]