Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Ebyobulamu

Abakawona Ebola bagaanidwa okwetabA mu by’okwegatta.

Bya Shamim Nateebwa. Ministry ekola ku nsonga z’ebyobulamu erabudde abantu abaakasimatuka ekirwadde kye Ebola naddala abasajja okugira nga besonyiwa ebyokwegatta, kubanga bandyongera amanyi g'akawuka kano okusasaana. Bwabadde ayogerera  mu musomo gw'abanamawulire ku bikwatagana ne Ebola , akwanaganya eby'okulwanyisa Ebola mu ministry eno Dr Mariam Nanyunja  agambye nti akawuka kano kasobola okwekweka mu nkwaso z’omusajja, okumala akabanga kale…

Read More

Gavumenti ekyalemedde ku ky’okutunda omusaayi.

Bya Ben Jumbe. Omuwandiisi wa ministry ekola ku by’obulamu Dr Diana Atwine  nate azeemu okuwagira ekiteso eky’okutunda omusaaayi eri amalwaliro ag’obwananyini. Ono okuvaayo kidiriidde abantu bangi okuwakanya ekyaasalidwawo nga bagamba nti ekyandikoleddwa kw’ekulemesa amalwaliro ag’obwananyini okutunda omusaayi, sosi kugubaguza kubanga ne ministry efuna gwa bwerere okuva mu bantu. Dr Diana agamba nti basazeewo okukola kino kubanga n’amalwaliro g’obwananyini…

Read More

KACITA eyagala abatembeyi bave ku nguudo.

Bya Ben Jumbe. Ekibiina ekitaba abasubuzi ekya KACITA kisabye KCCA  okwanguwa okuteeka munkola ebikwekweto eby'okujja abatembeeyi ku nguudo mu kaseera kano akenaku enkulu. Bino bigidde mukadde nga minisita wa Kampala Betty Kamya  yakategeeza nga bwebaweze omutembeeyi yenna ku nguudo. Twogedeko nakulira KACITA Everest Kayondo naagamba nti abatembeeyi bano babamazeeko emirembe, kubanga babbako abasubuzi, kyoka nga tebawa musolo nga…

Read More

Obwakabaka bwa Buganda buzeemu okugema Hepatitis B

Bya Shamim Nateebwa Abantu ba Beene nate bakomyeewo okwekebeza nókwegemesa ekirwadde kekibumba ekya Hepatitis B, wali mu bimuli bya Bulange. Okugema kuno kuwomeddwamu omutwe ekitongole kya Kabaka Foundation, nga Allan Edigar Kalyowa omukwanaganya wémirimu mu kitongole kino agambye nti batuukiriza obweyamo bwebakola eri Ssabasajja okulongoosa ebyobulamu mu bantu . Abamu ku bazze okugemwa bagambye nti balina okutya ku…

Read More

Ab’embuto basabiddwa okwekebezanga endwadde zo’mukamwa

Bya Benjamin Jumbe Ba maama abembuto bajjukizddwa, bulijjo okugendanga okwekebeza endwadde ezomukamwa. Okuwabula kuno kukoleddwa Dr. Muhammad Mbabali omusomesa okuva ku ttendekero e Makerere, ngategezeza nga kino bwekiyamba endwadde zimu obutakwata mwana atanazalibwa. Agamba nti endwadde zimu zabulabe, nnyo eri abaaana nga ziyinza nokubavirako okufa, oba nembuto okuvaamu. Ono agamba nti banan-Uganda 90% balina obukyafu mu nkamwa, nga kiva…

Read More

Abatuuze e Jinja balajana lwa ddwaliro erivaamu ekivundu

Bya Abubaker Kirunda Abatuuze mu Town Council ye Buwenge mu district ye Jinja batabukidde abakulembeze baabwe, olwekivundu kyemirambo kyebagamba nti kifubutuka mu ddwaliro lya Buwenge Health 4. Abatuuze eno balumiriza nti mu ddwaliro mulimu emirambo 6, ejivunda nga gyejivaamu ekivundu. Akulira eddwaliro lino Dr Steven Baligeya agambye nti kino kivudde ku bbaati lye ddwaliro, eririmu ekituli, nga mwemufulumira…

Read More

Okukola dduyiro kikulu nnyo

Bya Ivan Ssenabulya Commissioner avunznyizibwa ku ndwadde zitasigibwa butereevu okuva ku muntu okudda ku muntu omyulala, mu ministry yebyobulamu Dr Gerald Mutungi alaze obukulu bwabantu okukolanga dduyiro, okwewal ezimu ku ndwadde zino. Bino abyogeredde ku ssomero lya British School of Kampala oluvanyuma lwemisinde gyebabaddemu, okusonda ensimbi okuddukirira amalwaliro mu kitundu kye Muyenga, mu njegoyego za Kampala. Kati omukulu…

Read More

Abaafudde e Kabalole teyabadde Ebola

Sampo ezajiddwa ku bantu 2 abaateberezeddwa okubeera nekirwadde kya Ebola abaafudde mu district ye Kabarole ebivudde mu kwkebejja biraze nti ssi bwaladde. Kino kikaksiddwa Atwal byobulamu mu district ye Kabarole Dr Richard Mugahi. Ategezezza nti, sampo zino ezibadde zaatwalibwa ku kebejjezo Entebbe erya Uganda virus research institute tezazuliddwa kauwka ka Ebola. Abantu bano baazikidwa ku Bbalaza nga tebakirizibwa…

Read More

Abavubuka abalwadde tebagala ddagala

Bya Tom Angurin Okunonyereza okwakoleddwa aba Baylor Uganda kulaze nti bangi ku bavubuka mu gwanga, abalwadde ba mukenenya tebagala kukozesa ddagala eriweweeza ku kawuka ka mukenenya  olwokubaboola okubatusibwako. Ebyavudde mu kunonyererza biraze nti abasing babolebwa mu masomero, ekibawaliriza nokuva ku ddagala. Sabrina Kataka nga musawo mukugu nekitongole kya Baylor Uganda agamba nti nabalwadde, batera okubeera nokuvuganya ne banaabwe…

Read More

Edwaliro ely’e Masaka teririna CT scan.

Bya Moses Muwulya. E Masaka obujanjabi bwongedde okukaluba ,nga kino kidiridde obutaba na kyuma ekya CT scan ekyeyambisibwa nokukeberaabafunye obuvune ku mitwe. Okusinzira ku adukanya edwaliro lino Edward Kabuye, kuno okusomozebwa kwamanyi eri edwaliro erifuna ennyo abalwade abasimatuse obubenje. Yye omulwanirizi we dembe ly'abalwade mu kitundu kino Swaib Makumbu agamba nti kino kitadde abalwade bangi mu matiga,nadala abo…

Read More