Ebyobulamu
Amalwaliro e Mubende gasumusiddwa
Bya Magembe Sabiiti Ministry ye by’obulamu eriko amalwaliro gesumusizza okuva ku mutendera gwa health center 11 okudda ku Heath center 111 mu district ye Mubende. Ssentebe wakakiiko ke by’obulamu ku lukiiko lwa district ye Mubende Lubowa Deo akakasizza okusumusibwa kwamalwaliro gano okuli Butawata health center […]
Obujanjabi bukyetagisa
Bya Shamim Nateebwa Gavumenti esabidwa okwongera amaanyi mu kutuusa obujjanjabi eri abantu, abaina endwadde ezolukonvuba. Okusaba kuno wekujjidde nga Banna Uganda bangi abeetaga obujjanjabi naye nebatasobola kubufuna nga bali 11%. Rose Kiwanuka, Ssenkulu w’ekitongole kya Palliative care Association of Uganda ababudabuda abalwadde agamba nti ensimbi […]
Uganda ewezezza Omusaayi ogumala.
Bya Damali Mukhaye. Ekitongole ekikola ku by’okugaba ko n’okutereka omusaayi ekya Uganda blood bank kitegezeza nga amalwaliro agategeeza abalwadde nti tegalina musaayi bwegalimba, kubanga kakano omusaayi gwebalina gusobola okudukirira buli agwetaga. Bwabadde ayogerera mukugaba omusaayi wano ku Kampala international school Uganda, Joan Odyek okuva mu […]
Okukebera kabootongo kati kwabuwaze mu bakyala ab’emuntu
Bya Ben Jumbe. Government etegeezeza nga abakyala ab’embuto bonna bwebagenda okutandika okubakebera obulwadde bwa kabotongo mungeri yabuwazze nga kwogasse ne mukenenya . Bwabadde ayanjula amateeka amapya agegenda okulwanyisa akawuka ka mukenenya, akola ku by’okulwanyisa mukenenya mu ministry eno Dr. Joshua Musinguzi, agambye nti obulwadde buno […]
Banakyewa baagala sigala ayongerweko omusolo.
Bya Ndaye Moses. Ebibiina by’obwanakyeewa ebirwanyisa okukomonta segereti bisabye gavumenti nate okwongera ku musolo gw’etaka ku taaba, kino kyongere okukendeeze kubamukozesa. Bano bagamba nti government egwana egoberere ekyalagirwa ekibiina ky’amwanga amagatt nti taaba atekebweko omusolo gwa bitundu 70%. Kati twogedeko naakulira ekibiina ekya Uganda National […]
Eby’okuwera abafuuweta sigala mu bantu bikyagaanye.
Bya Damali Mukhaye. Ekitongole ekya KCCA kitegeezeza nga bwekitanateeka munkola kaweefube w’okulwabyisa abafuuweta sigala mulujudde nga bwebaali baasubiza Twogedeko n’amyuka ayogerera ekitongole kino Robert Kalumba naagamba nti enkola eno tenatandika kutekebwa munkola, wabula nga singa kino kitandika abafuweta sigala baakukajutuka. Muteeka lino singa omuntu akwatibwa […]
Ssabasajja wakuggalawo tabamiruka w’abavubuka
Bya Shamim Nateebwa. Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi 11 asiimye okulabikako eri obuganda olwaleero mukuggalawo ttabamiruka wa bavubuka agenda okuberawo leero wali ku hotel African. Ttaba miruka ono yoomu ku bikujjuko bya jjubirewo era nga agenda kutambulira ku mulamwa ogugamba nti okutekateka abavubuka saako nokubakubiriza […]
Asatu batendekeddwa mu by’obulamu by’abakyala.
ByaNsereko Balikuddembe. Abantu abasoba mu 31 bebafunye amabaluwa mu byobulamu eby’a bakyala [Reproductive Health] okuva mu tendekero elya Nsamizi Training Institute of Social development e Mpigi. Bwabadde okwasa abantu bano amabaluwa, akulira etendekere ly’ebyobulamu e makerere elya (Public Health), Dr.Rhoda Wanyenze) agambye nti wabaddewo obwetavu […]
Katikiro wa Buganda alambudde abalimi mu singo.
Bya shamim Nateebwa. Katikkiro Charles Peter Mayiga yalambudde abalimi b’emmwanyi mu gombolola ye Ssekanyonyi mu Ssaza lye Ssingo ng’omu ku kaweefube w’okunnyikiza enkola ya Emmwanyi Terimba egendereddwamu okujja abantu mu bwavu. Mu bubakabwe, Katikkiro yategezeza nti ekimutambuza mu byalo, kwekukubiriza abantu bakole basobole okulwanyisa obwavu. […]
Bannamateeka bakuwawaabira gavumenti ku by’omusolo.
Bya Damali Mukhaye. Banamateeka abegatira mu kibiina ekya Uganda law society bategeezeza nga bwebagenda okwewerekera bagenda mu kooti okuwawabira government olw’okuteeka omusolo ogumenya amateeka kubanna- uganda. Bano bagamba nti omusolo ogwa nusu 200 ku bakozesa social media ne shilling 1% ku mobile money kunyigiriza kwenyini, […]