Ebyobulamu
Bannakyewa sibasanyufu n’okwokya edagala okugenda okukolebwa.
Bya Shamim Nateebwa. Ebitongole by’obwanakyeewa ebirondoola embalira ye gwanga wansi wa civil Society Budget Advocacy Group bategeezeza nga bwebadiwalirizibwa okutwala okwemulugunya kwabwe mu parliment nga bawakanya eky’okuleka edagala nerikadiyira mu materekero ga gavument kyoka nga abelyetaga bangi. Bano okuvaayo kidiridde minisitule ekola ku by’obulamu okutegeeza […]
Abaana abafumbirwa nga bakyali bato bakendedde.
Bya Ssebuliba samuel. Ekitongole kyensi yonna ekikola ku byabaana ekya UNICEF kitegeezeza nga abaana abafumbirwa nga bakyali bato bwebazze bakendeera munsi yonna nga ne uganda mw’ogitwalidde Bano bagamba nti abaana abasoba mu bukadde 25 bebatangiddwa okufuna embuto, ko n’okufumbirwa mu myaka ekumi egyakayita . […]
Palamenti etegese sabiiti namba ey’ebyobulamu.
Bya samuel Ssebuliba. Tutegeezeddwa nga paraliment bwegenda okutegeka Parliamentary health week, nga eno etandika nga 20th – 23rd February 2018. Sabiiti eno egenda kugulibwawo n’okutambula ku lw’okubiri lwa sabiiti egya era nga speaker wa parliament ya uganda yaagenda okusimbula okutambula kuno. Sabiiti eno egenderedwamu kulaba […]
Ekirwade ky’entumbi kitabukidde abatuuze be Buvuma.
Bya sadat Mbogo. Abatuuze mu bizinga by’e Buvuma beeraliikirivu bya nsusso olw’eddagala ly’ekirwadde ky’entumbi okubula mu bitundu bino kati ebbanga lya myezi ebiri . Bano bawanjagidde government n’ebitongole eby’obwannakyewa okubadduukirira ng’ekizimba tekinnasamba ddagala. Omubaka wa president e Buvuma, Lillian Nakaweesi asuubizza nga bwali mukukwatagana nebekikwatako […]
Abatuuze be Kyegeegwa baagala kusuumusa Ddwaliro lyabwe .
Bya Magembe sabiiti. Abakulembeze mu district ye Kyegegwa baagala ministry y’ebyobulamu okwanguyako okusumusa edwaliro lyabwe okutuuka ku daala ely’edwaliro. Ssentebe wa district ye Kyegegwa Kisoke John agamba nti omujjuzo gw’abalwadde mu Kyegegwa Health Center 1V guli waggulu nyo ate nga tebawebwa ddagala limala ekivirako […]
Ebbula ly’edagala lya ARV lirumbye Lyantonde.
Bya Getrude Mutyaba Tutegeezedwa nga e bbula ly’eddagala eriweweeza ku kawuka akaleeta mukenenya bwerituuse e Lyantonde, era nga mukaseera kano lifuuse lyakugabana. Akulira eby’obulamu e Lyantonde Dr Okoth Obbo agambye nti singa gavument teevaayo newagira ensawo ya AIDS Trust Fund, abantu bangi bolekedde okufa. Dr […]
Abateberezebwa okutta Kaweesi bakomawo mu kooti.
Bya Ruth Anderah. Bwetugendako mu kooti, abasajja 6 abateberezebwa okwetaba mukutta eyali ayogerera police ye gwanga Andrew Felix Kaweesi lw’ebagenda okuzibwa mu kooti basomerwe emisango egy’obujju. Bano leero bali mu maaso g’omulamuzi w’e daala erisooka e Nakawa Noah Sajjabi okumanya police weetuse mu kunonyereza ku […]
Edagala lya ARVs liwedeyo e Mpigi.
Bya Sadat Mbogo Kikakasiddwa nga eddagala eriweeweeza ku kawuka akaleeta mukenenya bwerikeeye mu district ey’e Mpigi nga kati abalwadde bamala ssabbiiti emu oba bbiri nga tebafunye ddagala lino okuva mu malwaliro ga gavumenti. Dorothy Nassolo nga ono ayogerera ekitongole ekitakabanira okuyambako abantu b’akawuka ka […]
Ekyuma kya kookolo kitongozeddwa.
Bya Shamim Nateebwa. Ekyuma ekikalirira kookolo kimaze okutongozebwa wano e Mulago, nga kino kirudde ebanga nga kirindiriirwa. Bwabadde eyogerera mu kotongoza ekyuma kino,ssabaminister wa uganda Dr Ruhakana Rugunda agambye nti kino kigenda kukendeeza ku nsimbi ezibadde zigendera mu banayuganda abatwalibwa e bunayira okujanjabibwa. Ono agambye […]
Abaana abazalibwa n’obulwadde bw’emitima beeyongedde.
Bya Shamim Nateebwa. Edwaliro erikola ku bulwadde bw’emitima elya Uganda heart institute litegeezeza nga omuwendo gw’abaana abazalibwa n’obulwadde buno bwegugenze gulinya buli kaddde. Ebiwandiiko ebiriwo biraga nga abaana abawerera dala 15,000 bwebazalibwa n’obulwadde buno buli mwaka. Dr.John Omangino akulira edwaliro lino agamba abaana 7,000 kubano […]