Ebyobulamu
52 bafa pneumonia buli lunaku
Abaana 52 beebafa obulwadde bwa Pneumonia buli lunaku mu Uganda. Bino biri mu alipoota efulumiziddwa ekibiina ky’amawanga amagatte ekikolwa ku nsonga z’abaana ekya UNICEF Ku Pneumonia,kuddako musujja gwa nsiri, kiddukano n’endwadde endala ng’ebiwuka omuli ne siriimu Akola ku by’amawulire mu kibiina kino Jaya Murthy ategeezezza […]
Abasawo batono mu malwaliro-Nambooze
Omubaka wa Munisipaali ye Mukono Betty Nambooze alaze okutya olw’omuwendo gwabasawo abatono mu ddwaliro lya gavumenti mu kitundukye. Nambooze ategezezza nti newankubadde bateeka gavumenti ku nninga okwongera ku basawo mu gwanga, yo e Mukono baweebwa abasawo babiri bokka okuyamba ku baaliwo ekintu ekyobulabe mu kitundu […]
Okulwanyisa ekilwadde kya Sickle cell
Ebibiina byobwanakyewa bibakanye ne kawefube w’okusomesa bannayuganda bonna okwetolola eggwanga ku kirwadde kya Sickle cell. Ssabawandiisi w’ekibiina ekirwanyisa obulwadde buno okuva mu Amerika ekya Uganda American Sickle cell Rescue Fund Dr. Shalif Tusubira ategezezza nga omwana omu ku buli kkumi abazalibwa bw’aba alina akawuka ka […]
Bannayuganda balabuddwa ku malwaliro ga gavumenti
Bannayuganda bonna balabuddwa okweyuna amalwaliro ga gavumenti mu kwekebeza siriimu. Akulira okunonyereza ku kitongole ku ttendekero ly’e Makerere ekya Walter Reed Project Doctor Francis Kiweewa ategezezza nga ebyuma ebisinga mu malwaliro g’obwananyini bwebizuula akawuka kano nga ebbanga liyiseko sso nga ebya gavumenti bikazulirawo. Dr Kiweewa […]
Abakugu balabudde ku mmere
Abakugu mu by’endiisa balabudde nti okulya emmere y’empeke etaterekeddwa bulungi bwekiyinza okuvaako endwadde ya kkookolo. Okulabula kuno kukoleddwa akulira ekitongole ky’ebyemmere mu nsi yonna mu bukiika kkono bw’eggwanga Mary Stella Mavenjina ategezezza nga empeke eziterekeddwa obubi zifuna ekirungo ky’obutwa nga kyabulabe nyo eri obulamu bw’omuntu. […]
Bannayuganda abalwadde b’emitwe bandifuna ku buwerero
Bannayuganda abalwadde b’emitwe bandifuna ku buwerero oluvanyuma lw’ebbago ly’etteeka ku balwadde b’emitwe okwanjibwa mu palamenti wiiki ewedde. Minisita omubeezi ow’obujanjabi obusokerwako Dr Chris Baryomunsi agamba nga limaze okufuuza etteeka, obujanjabi bw’abalwadde bn’emitwe bwakubeera bwangu kwetuusako.
Ab’ekitongole ky’ebyobulamu mu nsi yonna bogede ku eboola
Ab’ekitongole ky’ebyobulamu mu nsi yonna bategezezza nga bwebafunye eky’okuyiga oluvanyuma lw’ekirwadde kya Ebola okulumba amawanga agamu naddala mu Africa. Ebola yalumba Africa mu mwezi ogwokusatu omwaka oguwedde n’atirimbula abantu abasoba mu mutwalo okusinga mu ggwanga lya Guinea, Sierra Leone ne Liberia. Bingi ebikoleddwa okulwanyisa ekirwadde […]
Ensimbi obukadde 2 zaabuzibwaawo
Akakiiko ka palamenti akanonyereza ku nsimbi z’omuwi w’omusolo kakunyizza abakulu okuva mu minisitule y’ebyobulamu ku nsimbi eziweza obuwumbi 2 ezaawebwa abasawo ng’ensako. Okusinziira ku alipoota okuva eri ssababazi w’ebitabo bya gavumenti, ensimbi zino zaweebwa abasawo kyokka nezitassibwa mu mbalirira yaabwe Ng’alabiseeko mu kakiiko kano, omuwandiisi […]
Teri kuwa baana nyanto- Mexico
Gavumenti y’eggwanga lya Mexico eweze amata g’abaana abawere agatundibwa mu malwaliro okusobola okutumbula enkola y’abamaama okuyonsa abaana baabwe. Kati okufuna amata gano agaba gatabuddwamu ebirungo by’abaana omusawo alina kusooka kukakasa nti ddala tolina mabeere okugagula mu maduuka. Abakyala mu ggwanga lino batono abaagala […]
Bafunye ebyuuma by’amannyo
Eddwaliro lye Masaka lifunye ebyuma ebiyamba mu kujjanjaba amannyo okuva mu yunivasite ye Lahore esangibwa mu Pakistan SSenkulu w’ettendekero lino Prof. Awais Raoof agambye nti bakyalako mu ddwaliro lino emyezi esatu emabega nebalaba nti teryalina byuuma bituufu. Eyakulembeddemu enteekateeka y’okuleeta ebyuma bino Dr Muhamad Mpeza […]