File Photo: Omusawo nga kebeera omukyala
Muk’omukulembeze w’eggwanga Janat Museveni atongozezza kawefube w’okukendeeza omuwendo gw’abakyala n’abaana abafiira mu nsanya mu bitundu bye Karamoja
Enteekateeka eno ewagiddwa aba gavumenti ya Korea era nga yakussibwa mu nkola ab’ekibiina ky’amawanga amagatte abakola ku nsonga z’abaana ekya UNICEF
Museveni agambye nti obuzibu bw’abakyala abafa nga bazaala bungi nnyo e Karamoja era nga…
Okunonyereza okuggya okukoleddwa kulaga nti abakyala abeeyamba mu bifo by’olukale batera okuzaala abatannaba kwetuuka oba okuzaala abawewefu okusingako bannaabwe abagenda mu kabuyonjo.
Abanonyereza batunuulidde abakyala b’embuto 670 mu kibuga kya Buyindi ekya Orissa
Okunonyereza kwekumu kutuuse ne mu kibuga ekirala ekya Jharkhand nga mu kino nno kabuyonjo okugisanga obeera wa mukisa
Kigambibwa okuba nti abantu obukadde 500 mu…
File Photo: Aba AAR na bayizi nga basimba emitti
Ab’eddwaliro lya AAR olwaleero batongozezza kawefune w’okusimba emiti
Bano era basimbye emiti egisoba mu 30, nebalongoosa n’okulongoosa.
Omukulu ku ddwaliro lino Dr Vicente Bakyenga agamba nti ekigendererwa mu kino buyonjo n’asaba n’abazadde okufuba okuliisa obulungi abaana baabwe
Abatuuze mu Ggombolola ye Bukuya e Mubende balajaanidde abatwala eby'obulamu ku disitulikiti okusitukiramu baddabulule kabuyonjo ze ddwaliro lya Bukuya health centre III zebagamba nti zajula dda ng’abalwadde n’abasawo tebalina webakyamira.
Abatuuze mu ngeri yeemu bategezezza nga n’ebiku bwebyazingako edda eddwaliro ate nga n’ebitanda okujanjabirwa abalwadde temuli ekikosezza ennyo eby'obulamu mu kitundu kino.
Wabula bwetwogedeko ne Ssentebe wa…
Waliwo eddagala erizuuliddwa mu ggwanga lya Bangladesh nga ligema obulwadde bwa kkolera ate nga teriseerebwa nnyo
Eddagaala lino balikuba mu kamwa.
Likozeseddwa ku bantu emitwalo 26 era nga kyeyolese nti abantu abafuna kkolera n’ebitundu 37 ku kikumi.
Abakugu baanirizza ebizuuliddwa nga bagamba nti eddagala lino lijja kuyamba nnyo mu mawanga g’abaavu
Okusinziira ku kibiina ky’ebyobulamu mu nsi yonna, abantu…
Ebbago ly’etteeka ku kufuweeta sigala kyaddaaki lyanjiddwa mu palamenti omulundi ogw’okubiri.
Ebbago lino liwa aba minisitule y’ebyobulamu obuyinza okussa mu nkola obuwaayiro bwaalyo.
Ng’ayogerako eri palamenti, akulira akakiiko ka palamenti ak’ebyobulamu Medard Bitekyerezo awadde palamenti amagezi okulonda atwala ebyobulamu mu minisitule y’ebyobulamu okukulemberamu akakiiko akagenda okwekenneenya ebbago.
Aleese ebbago lino nga ye mubaka omukyala owe Shema Rose Nyakikogoro…
Muk’omukulembeze w’eggwanga Janet Museveni asabye minisitule ekola ku by’amasanyalaze okukola enteekateeka enagobererwa okulaba nti buli ddwaliro libaamu amasanyalaze
Janet agambye nti kino kijja kusinga kuyamba abakyala n’abaana abakosebwa buli masanyalaze lwegabula
Bino Janat Museveni abyogedde aggulawo olukiiko lw’okukubaganya ebirowoozo ku nsonga ezikwata ku bakyala n’abaana nga kuno kutegekeddwa ab’ekibiina ky’amawanga amagatte
Minisita akola ku by’amasanyalaze Irene Muloni agambye…
Waliwo abafumbo abakubye ab’eddwaliro lye Mengo mu mbuga z’amateeka nga babalanga kuvaako kufa kwa mwana waabwe
Ronald Kitaka ne Ritah Nantumbwe bagamba nti omwana waabwe yali mulamu kyokka omusawo omuyiga n’amukuba empiso eyamuddugaza omulundi gumu n’ekyaddako kufa
Bano bagamba nti bazaala omwana w’obulenzi ng’azitowa kumpi kilo ssatu n’ekitundu era ng’omukyala basala musale
Omukyala ono ng’amaze okuzaala yaweebwa ekitanda…
File Photo:Abasajja nga baseena amazzi
Abalwadde n’abajjanjabi ku ddwaliro lya Sembabule health center IV benyamidde olw’obujama obususse mu ddwaliro
Bano okukandula ku maloboozi babadde baaniriza abakulembeze b’olukiiko oludddukanya disitulikiti ababadde bagenze okulongoosa eddwaliro nga basaaye n’okulonda kasasiro ku ddwaliro lino.
Abalwadde bagamba nti embeera eno esusse nga bayinza n’okujjamu ate endwadde endala.
Bano bagamba nti tebalina mazzi ne kabuyonjo…
File Photo:Abakungu nga bateesa ku za global Fund
Minisitule y’ebyobulamu yakusisinkanamu abagabi b’obuyambi ab’ekibiina kya global fund okuteesa ku kyokuba nti eddagala eriweweza ku siriimu ligulibwa kuva mu kkolero ly’eddagala erya CIPLA quality chemicals.
Kino kibikuddwa minisita omubeezi kola gunonaguli mu minisitule eno Dr.Chris Baryomunsi bweyabadde asisinkanyemu ababaka ba palamenti abatuula ku kakiiko akalwanyisa siriimu.
Baryomunsi agamba nti…