Ebyobulamu
Mugemese abaana
Ssentebe we gombolola ye Kiyuni e Mubende Paul Sserumaga Bazzadde alabudde abazadde abeesulideyo ogwanagamba mu kugemesa abaana ekiviirako abamu ku baana bano okufuna obulemu nga bakyali bano. Sserumaga ategezeezza ng’abamu ku bazadde bwebatafaayo kugemesa baana baabwe omuli endwadde nga Polio, olukusense,n’endwadde endala ez’obulabe ezirumbagana abaana […]
Ebyobulamu byakunywezebwa kuva wansi
Minisitule y’ebyobulamu etandise kawefube w’okulongoosa ebyobulamu ku mutendera gw’amaka Minisita akola ku byobulamu Dr.Elioda Tumwesigye agamba nti bakizudde nti amaka mangi geegasinga okweleetera endwadde ezibaluma ezituuka n’okutta abamu. Tumwesigye agambye nti bagaala kulaba nti buli maka gatuukiriza ebyetaagisa mu byobulamu nga bayita mu kunyweeza ebikozesebwa […]
Abantu basusse okwagala akaboozi- Lokodo
Minisita w’empisa n’obuntu bulamu Fr Simon Lukodo agamba nti obulwadde bwa siriimu okwongera okubuna kivudde ku bantu okwagala nnyo okwegadanga nga wakiri obalesa emmere. Bweyabadde ku mikolo gy’okujjukira abazze bafa obulwadde buno mu kibuga e Gulu, minisita Lukodo yagambye nti ennaku zino ensonga za kaboozi […]
Poliyo akendedde mu Pakistan
Obulwadde bwa poliyo mu ggwanga lya Pakistan bukendeddde n’ebitundu 70 ku kikumi wakati mu kusika omuguwa ku kawefube w’okugema abaana agenda mu maaso. Abantu abasinga abaana okukkiriza okubagema, bassibwaako ryaanyi lya Maggye kyokka nga waliwo ekituukiddwako nga mu mwaka guno, abantu 25 bokka beebakakwatibwa ekirwadde […]
aba sigala batanziddwa
Kkooti mu ggwanga lya Canada eriko kkampuni za sigala ssatu z’etanzizza obuwumbi bwa doola 12 lwabutalabula bamunywa nti wabulabe Abawaaba baali bantu ba bulijjo abategeeza nga bwebatalabako biwandiiko bibalabula nti sigala waabwe yali wa bulabe olwo nabo nebamunywa kyeere Mu batanziddwa kwekuli kkampuni ya Imperial […]
omukka mu lubuto mugayaalo- basawo
Emmere gyetulya ya njawulo naye wali olidde emmere n’owulira omukka omungi mu lubuto Omukka guno gumalako emirembe ate gusumagiza Omusawo mu ddwaliro ekkulu e Mulago Dr. Charles Kasozi agamba nti kino kisinga kubeera ku mmere erimu engano ng’emigaati, soda, n’okugaaya orbit Kino okukyewala, omuntu alina […]
Etterekero ly’eddagala lya kokoolo
Minisitule y’ebyobulamu efunye kkampuni egenda okuzimba ekifo omunaterekebwa eddagala erigema kokoolo wa nabaana Yadde gavumenti yali eyagala eddagala lino litandike okugabwa mu gw’okuna, tekyasoboka kubanga tewali waterekebwa ddagala. Kati minisita w’obujjanjabi obusookerwaako Sarah Opendi agamba nti okuzimba etterekero lino kwakuggwa mu mwezi gw’ekkumi . Kokoolo […]
China eweze sigala
Okufuuweta sigala mu bifo by’olukale mu kibuga kya China ekikulu ekya Beijing kuwereddwa. Eggwanga lya China lirina abanywi ba sigala abasoba mu bukadde 300 nga era abasoba mu kakadde akalamaba bafa endwadde eziva ku kufuweta sigala buli mwaka. Amateeka gabaddewo ku kunywa sigala wabula nga […]
Lunaku lwa bakyala abali mu nsonga
Uganda olunaku lwaleero yegasse ku nsi yonna okukuza olunaku lw’abakyala abali mu nsonga. Olunaku luno lwassibwawo ekibiina ky’amawanga amagatte okutunuulira ebizibu abakyala byebayitamu nga bali mu nsonga omuli okuboolebwa kko n’ekizibu ky’okugula ebisabika ziyita paadi Mu Uganda abaana abawala bangi tebasoma buli lwebaba mu nsonga […]
Nabagereka agemye abaana
Abantu abasoba mu 500 beebafunye obujjanjabi mu nkambi y’ebyobulamu ekubidde mu ssaza lye Kako mu disitulikiti ye Masaka. Enkambi eno etegekeddwa ekibiina kya maama Nabagereka ekya Nabagereka Development Foundation ng’abaana bagemeddwa, okujjanjaba endwadde ezitali zimu n’okubakebera Akulira ekibiina kino Solome Nakaweesi Kimbugweagambye nti ekigendererwa mu […]