Ebyobulamu

Abaali basomera e Makerere bazze mu bulamu

Ali Mivule

May 28th, 2015

No comments

Abaali basomeddeko ku ttendekero ekkulu e Makerere batunuulidde eddwaliro lya kkookolo nga pulojekiti kati gyebaagala okusondera ensimbi. Omu ku bakulira abaasomerako ku ttendekero lino Deus Kamunyu Muhwezi, agamba oluvanyuma lw’okusonda nebazimba ekisenge okwetolola ettendekero lino, kati baagala kuyamba ku kuddabirizibwa  kw’eddwliro lya kkookolo okutaasa bannayuganda. […]

Etteeka kukufuuwa sigala liriwa

Ali Mivule

May 27th, 2015

No comments

Ekibiina ky’ebyobulamu mu nsi yonna ekya World Health Organization kyagaala palamenti eyise etteeka erikoma ku bantu okufuweeta sigala Etteeka lino lisuubirwa okuyamba okutaasa obulamu bw’abamunywa n’abatamunywa Omukungu mu kibiina kino Benjamin Sensasi agamba nti sigala ono yoomu ku bisinga okuvaako endwadde ezitasiigibwa Bino bizze nga […]

Ambulensi yakusasulira

Ali Mivule

May 19th, 2015

No comments

Abalwadde baakukwata mu nsawo zaabwe okusasulira emmotoka etambuza abalwadde mu disitulikiti ye Nebbi.   Bano kati baakusasulira amafuta singa wabaawo alina okutwalibwa mu ddwaliro.   Akulira eddwaliro lye Nebbi  Dr. Charles Kissa bino abitegezezza awaayo ambulance eno eri abakulira eddwaliro lye Nebbi.   Omu ku […]

Bafunye solar

Ali Mivule

May 18th, 2015

No comments

Abatuuze mu gombolola ye Nabbaale district ye Mukono abakozesa e Ddwaliro lya gavumenti, Nabalanga Health Centre 2 badukiriddwa ebibiina byobwanakyewa mu kulongoosa embeera ye ddwaliro ebadde embi ennyo. Children Safe Uganda ne Ssuubi Community Project nga bakulembeddwamu Kiwalabye Habert bawaddeyo Solar zibayambe okugoba enzikiza mu […]

Okukola dduyiro eri abakadde kibawangaaza

Ali Mivule

May 15th, 2015

No comments

Okukola dduyiro eri abantu abakaddiye kibawangaaza  era nga bweguli n’eri abo aberekereza sigala. Okunonyereza okuzudde bino kukoleddwa ku basajja abakadde abawerera ddala 5,700 mu ggwanga lya Norway nga kyeyolese ntia bakadde abakola dduyiro bawangaalayo emyaka emirala etaano. Mu kunonyereza kuno abasawo mwebayise okukubiriza abantu bulijjo […]

Abayiga obusawo abamu basasuddwa- bagaanye okusazaamu akeediimo

Ali Mivule

May 14th, 2015

No comments

Nga wayise ennaku ttaano ng’abayiga obusawo bassizza wansi ebikola, minisitule y’ebyobulamu egonze n’ebasasulako omwezi gumu Abakulira abasawo bano mu bitundu bye Soroti, Jinja, Mbale ne Naguru bagamba nti basasuddwaako omwezi gwa January kyokka nga tebagenda kudda ku mirimu okutuuka nga bongeddwa ensimbi. Omu ku basawo […]

Omulwadde afudde lwakumulagajjalira

Ali Mivule

May 7th, 2015

No comments

Abatuuze be Mukono abenjawulo bavuddeyo nga bemulugunya ku ddwaliro lya gavumenti mu kitundu erya Mukono Health Center IV olwobulagajjavu  mu basawo ekiviriddeko abantu abawera okufirangayo. Bagamba abasawo  batono naye babogokka ngabamu bemulugunya neku bukugu bwabwe ekisubirwa nti abamu baba bayiga ate nebemorera ku bulamu bwabantu. […]

Abasajja abakuliridde tebagaala kukomolwa- alipoota

Ali Mivule

May 7th, 2015

No comments

Abasajja bangi abali waggulu w’emyaka 35 tebajjumbira okukomolwa nga bweguli ku bavubuka abali wakati w’emyaka 10 ne 19. Minisitule y’ebyobulamu egamba nti bakizudde nti abasajja bano kubanga babeera bafumbo bakyala baabwe babagaana okukomolwa nga batya nti bajja kwenda ssinga bakomolwa Atwala enteeka teeka y’okukomola abasajja […]

Lokodo awakanya okukozesa kondomu

Ali Mivule

May 4th, 2015

No comments

Minisita akola ku mpis an’obuntu bulamu Fr. Simon Lokodo takkiririza mu nkola ya kukozesa bupiira bugalimpitawa ng’agamba nti buno bwongera bwenzi. Ebigambo bya minisita bikontana n’enteekateeka ya gavumenti etumbula okukozesa obupiira. Ono abadde ayogerako eri ababaka abatuula ku kakiiko ka palamenti akakola ku bya mukenenya […]

Teri Ambulensi masaka

Ali Mivule

May 4th, 2015

No comments

Abakulira eby’obulamu m disitulikiti ye Masaka beralikirivu olw’ebitundu ebiwerako mu disitulikiti eno obutaba na motoka zitambuza balwadde ezimanyiddwa nga zi ambulensi. Kino kibikuddwa akulira eby’obulamu mu disitulikiti eno Dr. Stuart Musisi mu kuwaayo ambulance ku ddwaliro lya Bulamu mu tawuni ye Masaka.   Dr Musisi […]