Ebyobulamu
Omusjja gukendedde mu kampala
Abantu abalina omusujja mu kibuga kampala bazze bakendeera okugerageranya nga bwegwaali emyaka etaano emabega Atwala ebyobulamu mu e Nakawa Dr.Christopher Oundo agamba nti abalwadde beebafuna mu malwaliro gaabwe bakendedde okuva ku bitundu 40 ku kikumi okudda ku 25 ku kikumi Dr. Oundo kino akitadde ku […]
Omusujja gukendedde mu bannayuganda
Omuwendo gwabannayuganda abakwatibwa omusujja gw’ensiri gukenderedde cddala. Okusinziira ku kunonyereza okwakoleddwa wakati w’omwaka oguwedde ne guno abakwatibwa omusujja gw’ensiri wano mu Uganda bakendedde okuva ku bitundu 42% mu 2009 okudda ku bitundu 9 byokka. Okunonyereza kuno era kulaze nti yadde nga omusujja gw’ensiri gwegukyasinze okutta […]
Abasawo abanafu bakugobwa
Abasawo abanafu tebajja kuba na bifo Mulago ng’eddwaliro lino limaze okulongoosebwa Bino byogeddwa omuwandiisi w’enkalakkalira mu minisitule y’ebyobulamu Dr Asuman Lukwago Dr Lukwago agambye nti eddwaliro lino bagaala kuliteeka ku mutindo gw’ensi yonna kyokka nga kino kijja kutuukikako ng’abasawo tebasooba. Bino yabyogedde aggalawo omusomo gw’emyezi […]
Mulwanyise endwadde ezitangirwa
Minisitule y’ebyobulamu esabiddwa okwongera ensimbi mu kulwanyisa endwadde ebisobola okutangirwa. Omubaka we Buikwe mu bukiikaddyo Dr. Lulume Bayiga ategeezezza nga bwebazudde nti endwadde ng’omusujja gw’ensiri ne Typhoid bwebisobola okutangirwa ssinga wabaawo amakubo amatuufu ag’okuzirwanyisa. Bayiga era agamba nti kiba kirungi ebitundu nebirambulwa era abantu nebasomesebwa […]
Ebigendererwa ebiggya bijja
Abakulembeze b’amawanga okwetoloola ensi yonna bakusisinkana mu mwezi gw’omwenda omwaka guno okutongoza ebigenderera ebijja okudda mu kifo ky’eby’ekyaasa. Ebigenderera ebiggya byakutuumibwa Sustainable Development Goals era nga byakuba 17. Kati abalwanirira ebyobulamu bagaala ensonga z’ebyobulamu naddala ez’ebyokuzaala by’abakyala n’abaana bissibweeko omulaka. Akulira ekibiina kya White Ribon […]
E Mbale eddwaliro likaabya
Embeera eri mu waadi etuukirwaamu abayi mu ddwaliro lye Mbale yenyamiza ng’abalwadde bagabana ebitanda ate abalala beebaka wansi Tukyaddeko mu ddwaliro lino ng’ekitanda kimu kiriko abaana bana bonna nga bali mu ccupa. Jessica Ochom, omu ku bakola mu ddwaliro lino atutegeezezza nti nabo tebalina kyakukola […]
Ekyuuma ekirongoosa amazzi kizze
Kampala Capital city authority efunye kkampuni egenda okutunda amazzi g’okunywa amalongoose Atwala eby’amazzi mu KCCA Joel Mwesigye, agamba nti kkampuni emanyiddwa nga Water Purification Systems Ltd y’ewereddwa omulimu guno Ng’ayogerera ku mukolo gw’okutongoza amazzi gano, Mwesigye agambye nti kino bakikoze okulwanyisa obulwadde bwa Typhoid obwefunyiridde […]
Abaana bakyafiira mu sanya- alipoota
Abaana abali mu 439 beebafa buli mwaka mu distulikiti ye Nebbi. Bino bifulumiziddwa ekiwayi ekikola ku byobulamu mu disitulikiti nga kikulemberwa Dr Charles Kissa Dr Kissa agambye nti abaana abasinga bafiira mu sanya nga n’abamu baba tebannatuuka Kisa agamba nti era abakyala abasinga okuffirwa abaana […]
Omukwano gukosa omutima
Abafumbo abawukana n’abagalwa baabwe bali mu bulabe bw’okulwaala omutima Bino bizuuliddwa abanonyereza okuva mu America. Okunonyereza okuzudde bino kukoleddwa ku bantu abasoba mu mutwalo omulamba n’ekitundu Kyokka kyeyolese nti abantu bano bwebaddamu okufumbirwa batereera Ekibiina kati ekikola ku by’obutima mu bungereza kigamba nti kyetaaga okwongera […]
Abasawo e Butabika tebamala
Akulira eddwaliro ly’abalwadde b’emitwe erye Butabika Dr David Basangwa alaajanidde gavumenti etendekewo abasawo b’emitwe abalala olw’abantu abeyongera okutabuka emitwe sso nga abasawo batono ddala.. Eddwaliro lino lirina abasawo 10 bokka nga ate 4 bali ku misomo sso nga abalwadde basoba mu 700. Basangwa y’abyogedde aweebwa […]