Ebyobulamu

Okuyamba Nankabirwa- ensimbi ziweze

Ali Mivule

April 11th, 2015

No comments

Abantu abatali bamu bakyagenda mu maaso n’okweyiwa ku serena mu kawefube w’okusonda ensimbi z’okujjanjaba munnamawulire Rosemary Nankabirwa Nankabirwa alina kokoolo era ng’embeera ye teyeyagaza ku ddwaliro lya kokoolo gy’ali Mu kawefube ono, abakozi ba NTV begattiddwaako bannamawulire abalala n’abantu ba bulijjo okwooza emmotoka nga gwebooleza […]

Abasumattuka kokoolo bagenze mu palamenti

Ali Mivule

April 9th, 2015

No comments

Waliwo ekibinja ky’abantu abaalwalako kokoolo abaddukidde mu palamenti nga basaba nti gavumenti etereeze eddwaliro erikola  ku balwadde ba kokoolo. Nga bayita mu kibiina kya Uganda women’s cancer Organisation, bano bagambye nti yadde wabaddewo okuseetuka, ddwaliro lino teririimu byuma bimala kuyamba balwadde. Akulembeddemu abantu bano omukyala […]

Ensonga z’abasawo okukuba ekyeyo zituuse mu palamenti

Ali Mivule

April 8th, 2015

No comments

Sipiika wa palamenti Omukyala Rebecca Kadaga alaze okwenyamira olwa gavumenti okulemererwa okunyonyola lwaki yesibiridde okuwereeza abasawo ebweru w’eggwanga okukuba ekyeyo Kadaga agamba nti bawandiikira dda minisitule ekola ku nsonga z’omunda mu ggwanga okubanyonyola ekigenda mu maaso kyokka nga kati guyise ne mu mwezi nga tebalabikako […]

E Bukomansimbi 10 bakwatiddwa lwa tooyi

Ali Mivule

April 8th, 2015

No comments

Abatwala ebyobulamu mu disitulikiti ye Bukomansimbi bakutte abantu 10 lwabutaba na kabuyonjo Bano bayooleddwa mu kikwekweto ekikoleddwa ku byaalo bisatu mu disitulikiti ye Butenga Ebyaalo ebituukiddwaako kwekuli ekye Kabigi, Meru ne Mbaale. Atwala eby’obulamu mu gombolola ye Butenga Cyprus Kipaku  agamba nti abantu bangi ku […]

Tewali waterekebwa ddagala lya Kokoolo

Ali Mivule

April 8th, 2015

No comments

Minisitule y’ebyobulamu etegeezezz nga bw’etalina w’etereka ddagala ligema kokoolo wa nabaana Kokoolo wa nabaana y’asinga okukosa abakyala mu Uganda nga buli mwaka abakyala 2,464 bafa ate abali mu 3500 nebamufuna Minisita akola ku byobujjanjabi ebisookerwaako Sarah Opendi agamba nti bakyakola ku ky’okuzimba ekifo w’okutereka eddagala […]

Envunza zirumbye ebe Nakapiripirit

Ali Mivule

April 8th, 2015

No comments

Abantu abasoba mu 800 mu disitulikiti ye  Nakapiripirit batambula babebera oluvanyuma lw’envunza okulumba ekitundu.   Ebitundu ebisinze okukosebwa kuliko  Namalu, Loregae, Kakomogole ne Nakapiripirit town council nga eno abasinga bayimba mabebere mpa ku nvunza. Oku ku bannakyewa mu by’obulamu ku kyalo  Kakomogole nga ono ye […]

Siriimu ali mu Uganda avuluuja

Ali Mivule

March 30th, 2015

No comments

Kizuliddwa nga Uganda bwekyakulembedde ku ssemazinga wa Africa mu bantu abapya abakwatibwa siriimu buli lunaku. Akulira akakiiko akalwanyisa siriimu mu ggwanga aka Uganda AIDS commission Dr. Christine Ondoa ategezezza nti mu Africa abantu kimu kyakubiri abakwatibwa siriimu bava mu Uganda. Kino akitadde ku bantu kubeera […]

Rubaga ekubiddwa mu mbuga z’amateeka

Ali Mivule

March 30th, 2015

No comments

Waliwo omukyala akubye eddwaliro lye Rubaga mu mbuga z’amateeka ng’ayagala kusasulwa obukadde 50 okusobola okulongoosebwa Halima Hami agamba nti mu mwezi gw’okubiri mu mwaka 2014 yatandika okunywa eddagala era nga nnya  omwezi gw’omusanvu n’azaala omwana w’obulenzi Omukyala ono agamba nti wabula mu kuzaala yayulika ate […]

Ebya Global Fund bizzeemu

Ali Mivule

March 30th, 2015

No comments

Ensonga za Global Fund zizzeemu nga kati kitegerekese nti yadde Uganda yaweebwa ssente okugula emmere y’abalwadde b’akafuba, tebafunako yadde egiiko y’emmere eno. Emmere eyabalirirwa emitwalo gya ddoola 30 yaweebwa wansi w’enkola y’okuyamba abalina akafuba n’ebigenge. Abalwadde abawerera ddala 200 baali balina okuweebwa emmere n’ebisale by’entambula […]

Okugema abasawo Hepatitis

Ali Mivule

March 27th, 2015

No comments

Minisitule y’ebyobulamu etongozezza kawefube w’okugema abasawo bonna mu kawefube w’okulwanyisa ekirwadde kya Hepatitis mu Uganda. Minisita akola ku byobulamu Dr Elioda Tumwesigye agamba nti kino kigendereddwaamu kutangira kirwadde kino kuva ku balwadde kukwata basawo ate abalina okubakolako Tumwesigye agamba nti bannayuganfa abali mu bukadde 16 […]