Amawulire

Bafunye ekyuuma ky’omutima

Bafunye ekyuuma ky’omutima

Ali Mivule

June 30th, 2015

No comments

Abalwadde abakozesa eddwaliro lya Rugarama mu kibuga kye Kabale bafunye ekyuma ky’emitima Ekyuma kino ekibalirirwaamu obukadde 150 kiwereddwaawo eggwanga lya Bungereza nga liyita mu kibiina ky’obwa nnakyeewa ekya Alongside Africa. Akulembeddemu okugaba ekyuma kino Lawrence Titterton y’akwasizza atwala eddwaliro Dr Gilbert Mateka ekyuma kino n’ategeeza […]

Abafuuyira ensiri babanja

Abafuuyira ensiri babanja

Ali Mivule

June 30th, 2015

No comments

Abantu abasoba mu 369 abayamba mu kufuuyira eddagala ly’omusujja gw’ensiri mu disitulikiti ye Budaka tebasasulwanga Abakozi bano abaweebwa emirimu minisitule y’ebyobulamu batandika okufuuyira ssaabbiiti ssatu emabega mu gombolola 13 kyokka nga tebasasulwangako Akulira enteekateeka y’okufuuyira ebifo mu disitulikiti eno Robert Ochola agambye nti bafubye okuwaayaamu […]

Abakyala batunda mama kit

Abakyala batunda mama kit

Ali Mivule

June 29th, 2015

No comments

Mu disitulikiti ye Lira , abakyala b’embuto bagenda okufuna ebikozesebwa mu kuzaala kyokka nebababitunda okufunamu ejjamba. Abakyala aboogerwako beebali mu divizoni ya leerwe ng’ebikozesebwa bino babiggya ku Ayago health centre III nebabitunda mu malwaliro ge miriraano ku shs omutwalo gumu n’ekitundu. Abakyala bano nno olumala […]

Mwekebeze nga muli mbuto- basawo

Mwekebeze nga muli mbuto- basawo

Ali Mivule

June 29th, 2015

No comments

Abakyala bakubiriziddwa okweyuna amalwaliro nga bamaze okuzaala okukeberebwa.   Akulira ekitongole ky’abazaalisa mu ddwaliro ekkulu e Mulago Dr. Josephat Byamugisha agamba kino kijja kuyamba okukendeeza ku baana abafa nga bakyali abato nebamaama abakazaala.   Agamba kino kiyamba abakyala okufuna amagezi ku ngeri gyebasobola okwetegekeramu oluzaala […]

Abakyala bafiira ku mazzi

Abakyala bafiira ku mazzi

Ali Mivule

June 26th, 2015

No comments

    Abakyala ku bizinga bye Koome benyamidde olw’omuwendo gw’abakyala abafiira ku mazzi nga baddusibwa mu malwaliro okuzaala Kansala w’abakyala ku bizinga bino Olivia Nabasirye agambye nti olw’embeera y’amalwaliro agatalimu bikola ku bizinga, bangi baddusibwa mu malwaliro g’oku lukalu ate nga gali wala ddala. Ekizinga […]

Kkolera mu Adjumani

Kkolera mu Adjumani

Ali Mivule

June 24th, 2015

No comments

  Waliwo omuntu atwaliddwa mu ddwaliro erya Nyumanzi health center 11 mu disitulikiti ye Adjumani ng’alina obubonero bw’obulwadde obwefananyirizaako obwa kkolera Ono ategerekese Dau Arok munnansi wa South Sudan ng’abadde mu nkambi ye Nyumanzi  oluvanyuma lw’embeera ye okwongera okwonooneka mu ddwaliro gyeyatwaliddwa Atwala ebyobulamu mu […]

Obujiini obutippa abakyala bwabulabe

Ali Mivule

June 23rd, 2015

No comments

Abasawo bakizudde nti obujiini butippa abakyala  busiba ebinywa, n’emisuwa nebuvaako omuntu okusanyalalira ddala. Mu ggwanga lya Bungereza, waliwo omukyala amaze okukituukako ng’ono akapale kamusaliddwaako busalwa olw’ebinywa ebibadde byesibye Omukyala ono okukituukako abadde amaze akabanga ng’asitamye okulongoosa enju ye mu ggwanga lya Australia. Omukyala ono agambye […]

Omwana ataafuna ddagala agenze mu kkooti

Omwana ataafuna ddagala agenze mu kkooti

Ali Mivule

June 23rd, 2015

No comments

  Waliwo omuwala ow’emyaka 8 akubye eddwaliro lya Entebbe mu kkooti lwakulemererwa kumuwa ddagala lijanjaba obulwadde obuva kukulumwa embwa Manuela Azoyo nga ayita mu kibiina ekirafubanira abantu okufuna eby’obulamu obweyagaza ekya center for Health Human Rights and Development agamba nti teyaweebwa bujanjabi ng’alumiddwa embwa kubanga […]

Eby’obulamu birumira

Ali Mivule

June 22nd, 2015

No comments

Ebyobulamu bikyalumira nga waliwo ebitundu ebirina omuzaalisa omu yekka Ekimu ku bino lye gombolola ye Kaliita esangibwa mu disitulikiti ye Amudat mu Karamoja ng’eno , waliwo omukyala omu azaalisa ku ddwaliro lya Karita health centre III. Eddwaliro lino likola ku bantu abawerera ddala 8,257  nga […]

E Mulago teri mazzi

Ali Mivule

June 9th, 2015

No comments

Ng’eddwaliro lye Mulago ligenda mu maaso n’okuddabirizibwa, kati ekizibu ekipya kya bbula lya mazzi. Abalwadde betyogeddeko nabo bagamba nti tebasobola na kugenda mu kabuyonjo kubanga teri mazzi. Abasinze okukosebwa baana n’abakyala era nga bagala gavumenti wamu n’abakulira eddwaliro