Ebyobulamu
Eddwaliro lye Jinja teririna musaayi
Eddwaliro lye Jinja, kati wiiki bbiri nga teririna musaayi Kino kibikkuddwa omubaka we Jjinja mu buvanjuba Paul Mwiru . Bw’abadde ayogerako eri palamenti, Mwiru agambye nti abalwadde bangi abeetaga omusaayi basindikibwa mu malwaliro ga bwannanyini. Ayagala wabeewo okunyonyola okuva mu minisitule y’ebyobulamu ku lwaki guno […]
Omwalo gususse obujama
Abavubi n’abakulembeze ku mwalo gwe Diimo benyamivu olw’omwalo gwabwe okuggalwa olw’obukyafu. Omwezi oguwedde abatwala eby’obuvubi mu disitulikiti ye Masaka baggala omwalo guno oluvanyuma lw’okukizuula nti obukyafu bwali bususse nga buyinza n’okuvaako endwadde. Omwalo guno kuwangalirako abantu abasoba mu 600 wabula nga kaabuyonjo 3 zokka ekyennaku […]
Baweereddwa ebikozesebwa
Abatuuze mu disitulikiti ye Lira bakubiddwa enkata y’ebikozesebwa mu malwaliro ebibalirwamu obukadde 20 okuva eri ekibiina kya Planned Parenthood Federation. Bino kuliko ebitanda by’abalwadde,gilavu, empisao n’ebirala. Ebintu bino byayisiddwa mu kibiina kya Reproductive Health Uganda nga kino kigendereddwamu okwongera okutumbula empereza y’emirimu. Akulira ekibina kino […]
Endwadde ezitasigiibwa zeyongedde
Minisitule y’ebyobulamu eraze obwenyamivu olw’endwadde ezitasiigibwa ezeeyongera buli lukya Atwala ekiwayi ekirwanyisa endwadde z’ekika kino mu minisitule y’ebyobulamu Gerald Mutungi agambye nti mu kunonyereza kwebaakoze baakizudde omuntu omu ku bana abakulu omu abeera ne puleesa kyokka nga kubuli bantu abakuliridde kkumi basatu babeera ne sukaali. […]
Kokoolo omupya azuuliddwa mu basajja
Bannasayansi bazudde ebika ebipya bitaano ebya kokoolo akwata abasajja. Bano bekebezze abasajja 250 okuzuula bino era ebika byonna kibadde kiraga nti bisikire busikizi. Abasawo bagamba nti kati kijja kubayamba okumanya ebika bya kokoolo gwebalwanyisa n’eddagala ettuufu ery’okukozesa Wabula bannasayansi bano okuva mu Bungereza bagamba nti […]
Banakyewa bajanjabye abe`Mukono
Ekibiina ky’obwanakyewa ekikolera mu disitulikiti y’e Mukono ekya Nama Wellness Community,kibakanye ne kawefube w’okutuuka mu byalo okujanjaba abaayo endwadde ezitali zimu naddala mu baana n;abakyala. Endwadde zino kuliko omusujja gw’ensiri ssaako ne kookolo wa nabaana mu bakyala. Akulira ekibiina kino Mathew French agamba abantu […]
Sekandi atongozezza emisinde gya kokoolo
Amyuka omukulembeze w’eggwanga Edward Kiwanuka Ssekandi atongozezza emisinde gy’okulwanyisa kokoolo egy’omwaka 2015 . Ensimbi ezinaava mu misinde gino zakuzimba etterekero ly’omusaayi mu ddwaliro e Mengo okumalawo obuzibu bw’ebbula ly’omusaayi. Ssentebe w’akakiiko akateekateeka emisinde gino Fred Masadde agambye nti emisinde gino gyakubeera ku kisaawe e Kololo […]
Abalwadde bakozesa bubi ebitanda
Obutamanya nkozesa yabyuma ku ddwaliro e Mulago kikosezza nyo abaliddukanya. Ayogerera eddwaliro lye Mulago Enock Kusaasira agamba ebintu omuli ebitanda ,Taapu z’amazzi,obugaali bw’abalwadde n’ebirala byonooneddwa abalwadde abatamanyi kubikozesa nga kati eddwaliro lyetaaga buwumbi okubirongoosa. Bw’abadde akuliddemu omulimu gw’okusomesa abasawo engeri gyebayinza okuyambako abalwadde okwatamu ebintu […]
Eddwaliro ku kizinga kizze
Mu kawefube ow’okutumbula ebyobulamu mu bizinga, ab’ekanisa ya Uganda nga bali wamu n’abagabi b’obuyambi baliko eddwaliro lyebazimbye e Myende ku bizinga bye Koome mu disitulikiti ye Mukono. Ssabalabirizi Stanely Ntagali ayanjulidde abakulembeze ba disitulikiti ye Mukono eddwaliro lya Myende Community Hospital nabasaba obuwagizi bwonna nobuyambi […]
Okukendeeza abakyala abafiira mu sanya- enteekateeka ezze
Muk’omukulembeze w’eggwanga Janat Museveni atongozezza kawefube w’okukendeeza omuwendo gw’abakyala n’abaana abafiira mu nsanya mu bitundu bye Karamoja Enteekateeka eno ewagiddwa aba gavumenti ya Korea era nga yakussibwa mu nkola ab’ekibiina ky’amawanga amagatte abakola ku nsonga z’abaana ekya UNICEF Museveni agambye nti obuzibu bw’abakyala abafa nga […]