Ebyobulamu
Bannayuganda bazaala nnyo
Abakugu mu nsonga z’emiwendo gy’abantu balaze okutya nti nga tewabaddewo kukoma ku bakyala kuzaala, omuwendo gw’abantu gwandikubisibwaamu emirundi 2. Kino kiddiridde ababaka abamu mu palamenti okuwakanya etteeka elikwata ku miwendo gy’abantu saabiiti ewedde Akulira ekitongole ekikola ku nsonga z’emiwendo mu ggwanga Charles Biremera agamba nti […]
Tewali ddagala
Ministry y’ebyobulamu enyonyodde ekivudde ebbula ly’eddagala lya ARVs mu malwaliro ga gavumneti Minister omubeezi ow’ebyobulamu, Ellioda Tumwesigye agamba nti kino kivudde ku bantu abamira eddagala lino okweyongera Tumwesigye agamba nti balowooza ku bantu emitwalo 10 abapya okukozesa eddagala lino kyokka nga bakafuna abantu emitwaalo kkumi […]
Kokoolo osobola okumuzuula nga bukyaali
Abanonyereza bazudde enkoal enayamba abakyala okumanya nti balina kokoolo nga bukyaali Abanonyereza bano okuva mu ssomero lya National Cancer Institute mu America bagamba nti mu nkola eno omukyala asobola okumanya oba alina kokoolo w’amabeere oba owa nabaana Abakugu bano enkola eno ebaamu okukebera omusaayi ssinga […]
Abazungu bakoze okutu
Bakagezi munnyo mu ggwanga lya America basemberedde okutonda okutu kw’omuntu Bano baludde nga beekeja nga bagezaako kulaba oba bayinz aokukola okutu kw’omuntu. Okutu kwebakoze kukyuuka bulungi ng’okw’obutonde era nga bamalirizza ddala omulimu bakakafu nti bajja kuvaayo n’okutu okuyinz aokussibwa ku mutwe ssinga aba akutuseeko ag’obuzaale […]
Abakyal bafunye ebbeetu okujjamu embuto
Mu ggwanga lya Ireland etteeka erigenda okuwa abakyala ebbeetu okujjamu embuto liyise Etteeka lino ligamba nti ssinga obulamu bw’omukyala bubeera mu katyabaga, aba aasobola okujjamu olubuto. Mu ngeri yeemu era ssinga wabaawo obujulizi nti omukyala oyo tayagala lubuto olwo ng’ayinza okwetta ssinga bamukaka okulukuza era […]
Omusujja ogumenya omubiri
Mu ggwanga lya Hondrus wabaluseewo omusujja gumenya abantu omubiri nga gwakatta abnatu 16 Abantu abasoba mu mutwalo ogumu mw’enkumi ebbiri beebalina omusujja guno nga bakyagenda mu maaso n’okujjanjajibwa Omusujja guno era oluusi guvaako omuntu okuvaamu omusaayi okutuusa lw’afa. Gavumenti etegeezezza nga bw’egenda okwongera amaanyi mu […]
Sigala mubi ku bakyala abayonsa
Abakyala abafuuweeta sigareti nga ate bayonsa gano gammwe Abakugu balabudde nti abakyala bano bali mu bulabe bw’okufa n’abaana baabwe Abakugu bano babadde boogerako eri bannamawulire wano mu kampala nga beetegekera ssabiiti enamba ey’okubangula abakyala ku kuyonsa Kino kizze nga Uganda eteekateeka okwegatta ku nsi yonna […]
Ebbugumu lyakatta 10 mu China
Mu ggwanga lya China, ebbugumu eriyitiridde litandise okutta abantu Abantu 10 beebakafa ebbugumu lino elyakasemba okuba ery’obulabe mu myaka 140. Bannamawulire abakola eludda eyo okutegeeza ensi obuzibu bwebalina bayokyezza enyama eno nga tebakozesezza sigiri ng’omusana guno gugygyisizza Ebibuga mwenda byebsinze okukosebwa omuli n’ekikulu eky’eggwnaga Shanghai
Obwenzi mu basajja ssi buzaale
Abasajja abenda nga beekwasa nti tebasobola kwekomako ku luno eby’okuwoza bibaweddeko. Okunonyereza okukoleddwa kulaga nti teri Muntu atasobola kwekomako bwegutuuka ku nyonta y’omukwano Abasaw bagamba nti abantu abasinga naddala abasajja okwenda basooka kulowooza nnyo ate abamu nebagoberera ebirowoozo ebyo nga bagaala okubissa mu nkola Abakugu […]
Okunywa amazzi kurungi
Okunywa amazzi buli omu akimanyi nti kulungi eri obulamu naye obadde okimanyi nti okunywa amazzi ng’enyonta ekuluma nnyo kyongera okweseza obwongo Abanonyereza okuva mu Bungereza ne America bagamba nti omuntu bw’aba awulira enyonta n’anywa amazzi, obwongo bwe butandika okulowooza amangu ennyo okuva ku ssaawa eyo […]