Okunywa amazzi buli omu akimanyi nti kulungi eri obulamu naye obadde okimanyi nti okunywa amazzi ng’enyonta ekuluma nnyo kyongera okweseza obwongo
Abanonyereza okuva mu Bungereza ne America bagamba nti omuntu bw’aba awulira enyonta n’anywa amazzi, obwongo bwe butandika okulowooza amangu ennyo okuva ku ssaawa eyo
Bano kuzuula bino betegerezza abantu 34 nga balina emyaka 29
Abakoleddwaako kunonyereza balagddwa…
Obadde okimanyi nti okunywa ku kakaawa kiyamba okukendeeza obulabe bw’omuntu okwetta.
Abanonyereza okuva mu ssomero lya Havard okuzuula bino bagezesezza ku bantu emitwalo mwenda.
Ku bano emitwaalo ena babadde bakyala
Abantu bano babadde banywa kakaawa okumala emyaka ena,.
Kaawa ono babadde bamunyweera mu chai, mu chocolate n’eby’okunywa ebilala
Kyazuuliddwa nti bano era kaawa babadde basing kumuggya mu chai.
Abakugu bakizudde nti…
Abaana abato betaaga okubeera nga babuukabuuka okukuuma emitima gyaabwe nga gikuba bulungi
Abasawo bulijjo bagamba nti abaana abali wansi w’emyaka 10 balina okuzannya mu wakiri essaawa emu buli lunaku naye kati ate kizuuliddwa nti tekimala.
Abakugu kati bagamba nti omwana ali wansi w’emyaka 10 alina okubuukabuukamu okumala esaawa kumpi bbiri ate nga ku zino eddakiika abiri alina…
Obulwadde bw’omutima butta abakyala okusinga ku basajja
Kino kiva ku misuwa gyaabwe egy’oku mutima egitambuza omusaayi okuzibikira.
Abanonyereza okuva mu ggwanga lya America bagamba nti obulwadde bw’emisuwa gy’omutima okuzibikira bwetaaga kujjanjaba mu ngeri za njawulo mu bakyala okwawukanako nga bwegubeera ku basajja
Kigambibwa okuba nti abakyala obukadde munaana n’ekitundu beebafa obulwadde bw’omutima buli mwaka.
Kino kitegeeza nti obulwadde bw’omutima…
Obwakabaka bwa Buganda butandisewo eddwaliro e Bwaise
Abavubuka abayisiraamu okuva mu Buganda nga bali wamu ne gavumenti y’eggwanga lya Brunei beebakulembeddemu omulimu guno oguwemmense akawumbi kamu mu obukadde 200
Eddwaliro lino lisangibwa mu zone ya Bwaise 1 mu division ye Kawempe
Eddwaliro lino erimanyiddwa nga Bulwadda ligenda kujjanjaba endwadde ezitali zimu omuli amannyo, endwadde z’abakyala, okubazaalisa era nga…
Embeera y’amalwaliro ennyika emitima yandivaawo mu kaseera akatali ke wala
Ministry y’ebyobulamu etegeezezza nga bw’egenda okuddabiriza amalwaliro gonna agali mu mbeera embi
Yakutandika n’amalwaliro 13 okwetoloola eggwanga
Mu malwaliro agagenda okuddabirizibwa mwemuli erye Iganga, Kawolo, Mityana, Nakaseke , Entebbe grade B n’amalala
Omwogezi wa ministry eno Rukia Nakamatte agamba nti nga bamaze okuddabiriza amalwaliro gano, bakussaamu ebikola omuli n’eddagala.
Kino…
Abakugu mu nsonga z’emitwe bagamba nti waliwo ekiyinza okukolebwa okukendeeza omuwendo gw’abantu abejja mu bulamu bw’ensi eno.
Abantu bano beetaga okufibwaako ennyo era ng’omuntu okutegeera nti ayinza okutta abasawo bagamba nti kyangu okutegeera omuntu agenda okwetta.
Ekisooka abasawo bagamba nti abantu b’ekkika kino batera okweyawula ku banaabwe era ng’omuntu ssinga alaba ng’omulala amweyawuddeko alina okuwoyawooya okutuusa lw’amubuulira…
Abantu abatafaayo nebagejjulukuka basaanye okuwulira ku bino
Mu ggwanga lya Newzealnd, omusajja eyagejjulukuka agaaniddwa okuyingira mu ggwnaga lya New Zealand.
Abakola ku bantu abayingira n’okufuluma eggwanga lino bagamba nti omusajja ono obulamu bwe buli mu bulabe nga okumukkiriza kuba kukkiriza kizibu
Omusajja ono alina kilo 130 ng’alagiddwa bw’aba abayagala okuyingira u New Zealand asale kutuuka ku kilo 100
Eggwnaga…
Abasawo bakizudde nti omusajja asobola okuwangaala ne kokoolo w’obusajja okutuuka ku myaaka 10 .
Kokoolo ono kyeyolese nti ajja anafuwa okwawukanako nebwegwaali emyaka ena mabega
Kookolo ono mu mwaka gye 70 yali mukambwe nnyo era nga ku bantu 100 bakwata, 67 bafa mu bwangu.
Abasawo bagamba kati bagenda kuyiiyamu ngeri yakwongera kunafuyamau kookolo ono okuwa abantu abamulina akadde…
Abanonyereza basemberedde okuzuula ekkubo ely’okuyitamu okumanya omuntu ng’agenda okuwutta.
Abasawo mu kadde kano tebalina ngeri gyebayinza kumanyaamu ng’omuntu asemberera okuwutta era ng’abasinga bakola scan naye ng’obuzibu nti kizibu okumanya ng’ekirwadde kino kikyaali.
Mu nkola empya, abasawo bakwekebejjanga omusaayi gw’omuntu okulaba oba mulamu oba mulwadde.
Okunonyereza okwakoleddwa ku bantu 202 kulaga nti enkola y’okukozesa omusaayi ekola ebitundu 93 ku…