Bannayuganda basabiddwa okukendeeza ku kunywa omwenge kubanga gwe gusinga okuvaako endwadde y'omutima.
Kakensa mu ndwadde z'omutima , Doctor Wilson Nyakoojo , agamba nti endwadde z'omutyinma zisibuka nyo ku bitamiiza.
Agamba nti abanywa buli lunaku boolekedde obuzibu bw'okukwatibwa endwadde z'omutima.
Okunoonyereza okwakoleddwa mu mwezi gw'okusatu kulaga nti Uganda eri mu kifo kya munaana mu nsi yonna mu butamiivu ate…
Oluvanyuma lw’abanonyi bobubudamu okuva e congo okweyongera okweyiwa mu ggwanga, Ministry y’ebyobulamu eri bulindaala okwanganga endwadde eziyinza okubalukawo.
Waliwo okutya nti endwadde nga cholera ne Ebola zandibalukawo.
Omwogezi wa Ministry eno , Rukia Nakamatte agamba bakebedde abaabadde balwadde ekidukano naye tebanazuula alina cholera.
Agamba balagidde ab’ebyobulamu mu district ye Bundibugyo okutwala abo bonna be batebereza okuba ne Cholera…
Mu Bungereza gavt gavt eyongezaawo enteekateeka zaayo ku teeka eriragira abakozi ba sigara okumusabika mu bisabika ebifanagana okuva mumakolero gonna.
Gavt eyagala ebisabika bya sigala ebitasikiriza nyo bantu kumunywa nokusingira dala eri abavubuka.
Abakugu munddwadde ya kookolo mu ggwanga lino bazzenga bavumirira ekya gavumenti okwagala enyo omusolo okusinga okufa ku bulamu bwabantu.
Gavt eyagala ebisabika byonna bibeera ne…
Okunoonyereza kulaze nga abasajja bwebatayagala kutegeeza basawo nga bakwatiddwa kookolo w'obusajja.
Ekitali ku bakyala nga bafunye kookolo wo ku nabaana, abasajja ebiseera ebisinga kizuuliddwa nti balina ensonyi okwogera ku bulwadde buno.
Kino kiviiriddeko abasajja banji okufa ekirwadde kino olwobutayagala kukyoogerako eri abaawo.
Gavumenti eyongezaayo enteekateeka zaayo ku tteeka eriragira abakozi ba sigala okumusabika mu bisabika ebifanagana okuva mu makolero gonna.
Gavt eyagala ebisabika bya sigala ebitasikiriza nyo bantu kumunywa n'okusingira ddala eri abavubuka.
Abakugu mu nddwadde ya kookolo mu ggwanga lino bazzenga bavumirira ekya gavumenti okwagala enyo omusolo okusinga okufa ku bulamu bw'abantu.
Gavumenti eyagala ebisabika byonna bibeera ne langi…
Abasomesa mu bungereza basabiddwa okuwera emmere abaana gyebajja nayo okuva ewaka okuliira ku masomero.
Ministry yebyenjigiriza mu ggwanga etegeezezza nga eyambibwako abakugu mu byendya bagamba emmere abayizi bano gyebasinga kuleeta tebaamu kiriisa kimala era nga ebamu ebitundu 43%.
Abakugu bano bagamba abaana basinga kuleeta bumpwanchi mpwanchi mukifo kyokulya emere enfumbe ezimba emibiri.
Wano nno webaabidde namasomero okusala ku…
Kampuni ekola nappi enzungu abasinga zebayita diapers ekozeeyo ezisobola okutegeeza omuzadde oba omwanawe afunye obulwadde olwomusulo ogumukulukutiramu.
Ebisabika bino bisobola n'okulaga nga omwaana aweddemu amazzi mu mubiri.
Omuzadde okusobola okumanya oba omwaana alina obuzibu, ekisabika kino kijjako ekizigu n'okukyuusa langi
Bulijjo abasawo bagamba nga sukaali omungi bwaali owobulabe eri omubiri gwomuntu .
Olwaleero abasawo era bazzeemu okukikatiriza wabula abantu abasinga bakyaaganye.
Abakugu bagamba nti sukaali akyankalanya obwongo bw'abantu abamu n'okumalamu amaanyi naddala mu basajja.
Abantu abasinga balowooza sukaali bwebuweke obuteekebwa mu kyaayi, wabula ssi bwekiri, sukaali asangibwa mu bintu bingi omuli omubisi gwenjuki, ebibala n'ebyokulya ebirala bingi.
Abasawo…
Okunoonyereza kulaze nga banamukadde abemyaaka 90 abenaku zino bawangaala nga nobwongo bukola bulungi nyo okusinga abedda.
Abantu abazaalibwa mu 1915 abasinga abakebeddwa basangiddwa nga bbo bagumu nyo okusinga kwaabo abaazalibwa mu myaaka egyemabega
Kino kivudde kumbeera yenaku zino enunji nga balya bulunji saako nebyensula ebiri ku mulembe.
Bano era bazuuliddwa nga absinga balina amaanyi mumikono nemumagulu okusinga kubanaabwe…
Ministry yebyobulamu etandise okulondoola abalwadde bakafuba bonna muggwanga.
Kino kigendereddwamu okukugira abantu bano okusaasanya obulwadde buno eri abalala.
Omukugu ku kirwadde kino mu ministry yebyobulamu Dr. Isa Makumbi agamba bagezako okukola kino okusobola okukendeeza ku kafuba kano akeegiriisiza mu bantu abataagala kumira dagala.
Makumbi agamba balina e namba zamasimu agabalwadde bakafuba bonna era nga gebagenda okukozesa okubalonfdoola.
Bwiino aliwo…