Ebyobulamu
Ayise ku lugwaanyu
Mu ggwanga America omukazi awonedde watono okujibwamu ebitundu bye ebyomunda bwazuukuse nga abasawo bamubaaze batandika okubijamu. Colleen Burns41- yatwaaliddwa mu ddwaliro ku lunaku lwa sande oluvanyuma lwokumira amakerenda nagamukanula. Oluvanyuma abasawo baategeezezza nga omukyaala ono bweyabadde omufu, olwo nebajawo ebyambe namakansi nebatandika okumubaaga. Nga […]
Omukka gw’amakolero guttattana abantu
Okunoonyereza kulaze nga omukka ogufulumizibwa okuva mumakolera agenjawulo bwegongedde okutta abantu abalina emitima eminafu. Mu bungereza abaayo bakoseddwa byansusso olwebikaka bino okurwaaza abantu baayo ekirwadde kyomutima. Mu birala ebisinze okwonoona obwengula gyemikka egiva mumotoka nokusingira dala nga ziri mumugoteko. Wano nno gavt yeggwanga lino […]
Okukozesa akaweta kukendedde
Abebyobulamu mu ggwanga bakizudde nga enkozesa yakaweta mubakyaala nabaami okulongoosebwa enseke ezitwaala enkwaaso kukendedde. Okunoonyereza kuno kukoleddwa aba Marie stopes uganda nga kyekitongole ekyaaweebwa olukusa ministry yebyobulamu okusaasanya enkola ze kizaala gumba zino. Okunoonyereza kulaga nga abantu abasing bino bwebaabivaako edda era bazaala buzaazi. Eyakulidde […]
Ebyobulamu bibulamu
Nga amawanga galindidirra nsalasale wokutukirirza ebiruubirirwa byekyaasa kino mu mwaaka 2015 gavt yakuno essira esinze kuliteeka ku byabulamu. Mu biruubirirwa 8 mwemuli okukendeeza ku muwendo gwabaana abafa nga bawere abakyaala abafiira musanya nebirala. Minister wensonga zamawanga amalala , Sam Kuteesa agamaba Uganda yegaganudde nyo okukendeeza […]
Amasira geegabatta
Abakugu mu byobulamu bagamba abantu abaafuna akayokebwa omuliro wali e namungoona bafa lwakuggwamu mazzi. Akulira etendekero erinoonyereza ku nddwadde Dr Alex Coutinho agamba oluvanyuma lwomuliro okuyingira mu mibiri gyaabwe, abalwadde bano baafirwa amazzi manji mumubiri era kwekutondoka. Bino abyoogedde etendekero lino liwaayo ebikozesebwa […]
Siliimu bongedde okumunafuya
Ababadde abalwade ba siriimu 2 baggyiddwa ku ddagala eriweweza siriimu oluvanyuma lwokukyuusibwa obusomyo bwomumagumba nekizuulibwa nga bwebabbadde tebakyalina kawuka kaleeta siriimu. Omu kubbo kati amaze emyeezi 4 nga tamira dagala lino wabula nga tafunanga kabonero kalaga nto akawuka ka siriimu kandidda mumubiri gwe. Ebiseera ebisinga […]
Okwebaka ekimala kikkakkanya omutima
Kizuuliddwa nga omuntu afuna otulo otumala bwekimuyamba okwekingiriza ekirwadde kyomutima. Ebintu ebyenjawulo nga okulya obulungi, nebirala bitaasa nyo abantu ekirwdde kino ekyomutyima, wabula kyamugaso nyo omuntu okufuna otulo otumala okusobola okweala ekirwadde kyomutima kino. Omuntu okufuna otulo otumala kiyambira dala omuntu obutakwaatibwa kirwadde kya mutima. […]
Okwekozza lutalo
Mulimu abakyaala abaamira pini okukola figa nebwekiba kyetaagis ki. Waliwo omukyaala azze yeelumya enjala okumala emyaaka 20 nga ayagala okusala ku myaaka nokukola figa nga enjogera yaleero. Wabula tafunyemu, yenna asigadde ngumbangumba era bwomutunuulira alinga akakadde akemyaaka 70 Helen Gillespie, 30, yatandika okwerumya enjala nga […]
Enkola empya ezze
Ministry yebyobulamu ezze nenkola empya gyeegamba nti yaakudaabulula ekisaawe kyebyobulamu mu ggwanga. Mu kino baagala ensimbi zonna eziweeba yo eri ebyobulamu zigabanyizibwenga kyenkanyi eri enddwadde nebizibu mu byobulamu mu ggwanga. Mukino baagala ensimbi zonna zisookenga kukunganyizibwa wamu noluvanyuma zigabanyizibwe okwetolola eggwanga okusobola okukola ku bizibu […]
Omusajja omulala yesse e Mulago
Omusajja omulala yeekasuse okuva ku mwaaliriro ogwokuna ku dwaliro e Mulago neyekata wansi nafiirawo. Omugenzi ategeerekese nga nga Kenneth Muhumuza nga abadde atawanyizibwa ekirwadde kyomutima yeenyiye naabuka okuva ku mwaliriro ogwokuna paka ku taka. Muganda womugenzi ategeerekese nga Baguma Muhumuza agamba omugenzi ono yasoose kwegezamu […]