Abakyaala abazaala nga basusse emyaka 35 balabuddwa.
Abakugu mu by’obulamu bagamba emikisa gy’abakyala abasussa emyaka gino okuzaala abaana abanafu saako n'okubeera n’endwadde endala giri wagulu bw'ogeregeranya ne banaabwe abalina emyaka emimpi wabula nga batuuse okuzaala.
Bakakensa bagamba nti abakyala bano bazaala abaana abanafu ate nga tebaba bagezigezi bulungi nga banaabwe okuva mu ba maama abato.
Abakugu mu ndwadde z'amaaso bakizudde nti kati basobola okujjanjaba omuntu aba azibye amaaso n'addamu okulaba.
Abakugu bano nga bali mu ddwaliro l'yomu Bungereza bazudde nga bwe waliwo ekitudu ekirina amasanyalaze ekiba kizikidde olwo omuntu n'ataddamu kulaba wabula nga kati basobola okuteeka amasanyalaze mu kitundu kino ekiyitibwa Retina nekigasindika mu bwongo omuntu n'addamu okulaba.
Wabula bano beebamu bagamba…
Essanyu likendedde nyo mu baana.
Alipoota ekoleddwa ku ssanyu ly’abaana eraga nti kati kizibu abaana abato bano okumwenya ebiseera ebisinga nga bwegwali okuva mu mwaka gwa 1994.
Abali wakati w’emyaka 14-15 bebasinga obutaba basanyufu olw’embeera y'ensi nga ate myaka gya kivubuka si gye gyibakozesa kino.
Abaana 42,000 nga bali wakati w’emyaka 8-17 baabuziddwa ebibuuzo eby’enjawulo nebatageeza nga bwebatali…
Omuwendo gw'abaana abazaalibwa nga balina ebituli mu mbuto zaabwe gwekubisizzamu emirundi ebiri okuva 1995.
Wabula abakugu mu by’obulamu bakayatakula mitwe okuzuula kiki ekivaako obulwadde buno.
Wano abasawo webalabulidde abakyala b’embuto okwewala okumira buli ddaggala lyebasanze kubanga kiteberezebwa okuba nti lyerivaako obulwadde buno.
Mu ggwanga ly’Amerika ku bukadde bw’abaana 13.2 abaazalibwa wakati wa 1995 ne 2005, 4,713 baalina ebituli…
Okunonyereza kulaze nga abakyala abali wakati w’emyaka 30-40 bwebeyongedde okufa olw’etamiiro.
Okunonyereza kuno kukoleddwa mu ggwanga lya Scotland ne Bungereza, nekizuulibwa nti omuwendo gwabakayala abafa oluvanyuma lwokwekoserera obugonja bwegulinye enyo bwogeregeranya nemyaka egyensanvu.
Abanonyerezza kunsonga eno era balaze obweralikirivu nga ate banji bwebali abokufa mumyaaka egyijja olwobutamiivu okweyongera enyo mubakayaala.
Abayisiramu balabuddwa obutalya kamukuulo nga basibulukuka.
DR.David Kanobe owe ddwaliro ly’emulago agamba omusiibi yandisibulukukidde ku mere engonvu esobola okumerunguka amangu.
Dr agamba nti okulya ebikaluba kisiba olubuto omuntu n'atawanyizibwa ate olulla n'okuluma ne luluma
Omwana eyalongosebwamu ekitundu ky’obwongo ekisinga obunene awezezza emyaka 6.
Kaliysha, yazaalibwa n'ebinyama ebyaali bikutte ku bwongo, oluvanyuma n'alongosebwa ekitundu ky'obwongo ekisinga era omutwe kumpi mukalu.
Abasinga okuli ne bazadde be baali bamuwaddeyo oluvanyuma lwokulongosebwa, wabula kyewunyisa nga akyali mulamu.
Bbo bazadde b'omwana ono bagamba yadde nga muwala waabwe akyali mulamu naye awangadde nyo n'obulumi.
Yadde nga akyali mulamu, ebintu…
Gavumenti etandise okunonyereza ku lugambo olwayita mu bitundu bye Kasese nti amazzi gaali gassiddwaamu obutwa
Bino byogeddwa minister omubeezi akola ku by’ebyuma bikali magezi, Nyombi Thembo ategeezezza nga kino bwebakikoze oluvanyuma lw’omubaka omukyala ow’ekitundu kino ensonga okugituus amu palamenti
Nyombi agamba nti ministry eno neerarikirivu era nga ssinga kizuulibwa nti kituufu, abantu abakoze ekikolwa kino bakuvunaanibwa
Wabula Nyombi…
Abakugu mu by’obulamu bakizudde nga omuntu bw'ayinza okufuna obulwadde bw'okugejja okuva ku bajjaja be.
Bakakensa bano bazudde nga omuntu omu ku mukaaga bwebasobola okusikira obulwadde buno okuva ku bajjaja baabwe, oba abazadde.
Kino kimaze ebbanga nga kinonyerezebwako okutuusa bwe kizuuliddwa nti omuntu asobolera dala okugejjulukuka olwa jajja we eyali omunene oba abamusokawo.
Obulwadde bwomugejjo buvaako omuntu okugejuluku nokusingira…
Kizuuliddwa nga abakyaala abasinga bwebamala okuzaala bwebakweka emibiri gyaabwe, nga tebaagala kubalaba.
Ebiseera ebisinga abakyala bangi nga tebanazaala babeera nga nyo ku mikutu gya yintanet olw’okubeera ababoobevu.
Wabula ebiseera ebisinga oluvanyuma lwokuvaamu ekiwanga, bangi basangula nebifananyi byaabwe ku yintaneti.
Abakyaala bano bagamba okuva bwekiri nti baba bafunye mugaba ku mibiri gy’abwe, baba tebakyalabika bulungi nga tebalaba lwaki baba…