Amawulire
Enzijanjaba y’okutigiinya emisuwa ekomyeewo
Enkola y’okujjanjaba abantu nga babatigiinya emisuwa emanyiddwa nga Reflexology ekomyeewo. Kooti ekola ku gyobusuubuzi eggyeewo envumbo gyeyali yassa ku nzijanjaba eno eyali yassibwaawo mu mwaka gwa 2011. Omulamuzi Geoffrey KIryabwiire agambye nti ekiragiro kya ministry y’ebyobulamu okuwera enjijanjaba eno kyaali tekyetaagisa ate nga […]
E Naguru bibi
Abalwadde abagenda mu ddwaliro lye Naguru batubidde olw’abasawo abakyagenda mu maaso n’akeddimo kaabwe. Bangi balabiddwako mu nkuubo era ng’abamu batedewaliddwa kati basasulw aokukolwaako yadde ng’eddwaliro lino lyabwereere Abasawo mu ddwaliro lino basazeewo owkediima nga bagamba nti bamaze emyezi 3 nga tebasasulwa Wabula akulira […]
Amazzi g’emidumu Kazambi
Bannakampala bawereddwa amagezi owkewala okunywa amazzi g’emidumu Kiddiridde okunonyereza okwakoleddwa okuzuula nti enzizi ezisinga zikubyeeko kazambi ava mu kabuyonjo zamazzi. Owmogezi wa KCCA Peter Kawujju afgamba nti bakyalwana okulongoosa amazzi gano kyokka nga mu kadde kano abantu bandibadde bagesonyiwa
Cholera asse 3
Ekirwadde ekiteeberezebwa okubeera kkolera kizinzeko district ye Hoima nekireka nga 3 bafu. Abafudde kuliko Moses Olindi 48 years, Phoebe Nambasi, 4years old and an eight month-old baby. Akulira ebyobulamu mu district eno , Dr Fredrick Dinume akakasizza bino nategeeza nga nabalala 14 bwebali mumbeera embi. […]
Biitiluutu akkakkanya pressure
Okunywa ekikopo ky’omubisi oguddwa mu kimmonde ekimanyiddwa nga beetroot kiyamba okussa pressure. Omuntu okufunamu anyway mls 250 era ng’okugezesa kuno kwakoleddwa ku baalwadde ba pressure 15 Omubisi guno gukolera awo nti omuntu mu saawa mukaaga aba afunyeewo enjawulo.
Nabagereka ku siliimu
Nabagereka wa Buganda Sylivia Naginda, asabye abakulembeze ab’ennono, okwenyigira obuterevu mu kulwanyisa obulwadde bwa siliimu, naddala okuva ku ba maama okudda ku baana. Binio Nabagereka abyogeredde mu Lubiri e Mengo bwabadde atongoza kaweefube w’okulwanyisa akawuka ka siliimu okuva ku ba maama okudda ku baana. Agambye […]
Beekalakaasa lwa kasasiro
Abasuubuzi abaddukanyiza egyaabwe mu katale k’omu Nyendo bakedde kweyiw aku makubo nga beekalakaasa lwa kasasiro. Embeera embi eluguudo lwe Nyendo -Kitovu nalypo bagamba nti luli mu mbeera mbi. Poliisi wabula yitiddwa bukubirire era n’ekuba omukka ogubalagala mu basuubuzi bano ababadde bamaze okussa emisnavu mu […]
Temuleega mabeere
Munnascience okuva mu ggwanga lya Bufaransa amaze emyaka 16 nga yetegereza obuleega bwa bakyala agamba nti tebulina mugaso Ono yetegerezza amabeere okuva u bakyala 30o abali wakati w’emyaka 18 ne 35 Agamba nti okwambala obuleega kisagaza amabeere era ng’abakyala bandibadde batandika okweyagalira mu kutambula […]
Mwekebeze siriimu
Obwa kabaka Buganda busabye abantu naddala ababeera mu Kisenyi okwekebeeza abawuka ka sirimu ne kokoolo ku bwereere mu lubiri lwa Ssabasaja okutandika nga 9- 12 omwezi guno. Minister wa Buganda ow’ebyobulamu Nelson Kawalya agamba nti enteekateeka eno yakuyamba abantu okumanya webayimiridde mu bulamu bwaabwe. Kawalya […]
Bucha zakuggalwa
Nga paasika ekubye koodi, ekitongole kya KCCA kyaakuggala emidaala gy’enyama ezitawandiisibwa mu mateeka. Kino kidiridde ekitongole kyekimu okuggala bucha 4 nga zino zasangiddwa n’enyama envundu. Amyuka ebikwekweto mu KCCA, Robert Kalumba agamba nti bategeezezza ku bucha ezimeruka era nga bakungaanya amawulire agamala okutandika ebikwekweto. Kalumba […]