Nga paasika ekubye koodi, ekitongole kya KCCA kyaakuggala emidaala gy'enyama ezitawandiisibwa mu mateeka.
Kino kidiridde ekitongole kyekimu okuggala bucha 4 nga zino zasangiddwa n'enyama envundu.
Amyuka ebikwekweto mu KCCA, Robert Kalumba agamba nti bategeezezza ku bucha ezimeruka era nga bakungaanya amawulire agamala okutandika ebikwekweto.
Kalumba agamba nti bagenda kutandikira mu bitundu bye Nakulabye, Nsambya ne Makindye
Abakugu mu byobulamu bakizudde nti omuntu obutaba na kirungo kizimba mubiri kimuviirako obutakwaasa mangu bimusomesebwa mu kibiina n'okwerabirarabira.
Bakagezi munyo bano okunonyereza kuno bakutadde mu kitabo ekimanyiddwa nga writing in Nature Medicine, nga bagamba nti baatunulidde bantu abawera abeerabirarabira nebakizuula nti abasinga tebayina kiriisa kizimba mubiri kimala.
Bakubirizza abantu okulya emmere ng'ebijanjaalo n'ennyama ensaamusaamu okusobola okuzimba…
Abasawo bazudde akabi akali mu kusalira ebitundu by’ekyama
Bano bagamba nti omuntu yenna gy’akoma okukola kino gy’akoma okulinyisa emikis agye egy’okufuna obulwadde obukwata ensusu.
Kino kiva ku lususu okuba nga lwereere olwo obuwuka nebwegazaanya
Okunonyereza kuno kukoleddwa ku balwadde 30 mu ggwnaga lya Bufaransa.
Omukyala amaze emyaka ena ng’ali lubuto asobeddwa ea ne mu kibira
Omukyala ono okuva e kasese yafuna olubuto luno mu mwaka gwa 2009 kyokka nga negyebuli kati tasumulukukanga.
Omukyala ono yeewuubye mu malwaliro naye nga talina kyafuna
Ebisingawo mu mawulire gaffe agabaawo buli ssaawa
Embeera mu ddwaliro ekkulu e masaka ya bwerinde oluvanyuma lw'abagambibwa okuba abalwanirizi b'eddembe ly'obulamu okugezaako okwekalakaasa.
Ekibinja ekikulembeddwamu Mohammed Ssegirinya kirumbye eddwlairo n'ebikozesebwa byebabadde baleetedde abalwadde.
Wabula bano babatutte tebalinnya nga babavunaana kuleeta mivuyo mu ddwaliro.
Mu kadde kano omuntu yenna atalina bbaluwa ya ddwaliro takkirizibwa kuyingira era ng'obyokwerinda kasiggu.
Omu ku baddukanya eddwaliro lino Eriaza Mugisha agambye nti basazeewo…
Abakulira distrct ye Jinja baweze abatuuze okukozesa ebipipa bya kasasiro mu district eno.
Kati ebimotoka bya kasasiro byaakuvanga nju ku nju nga bikungaanya kasasiro ono.
Omwogezi wa town council eno Rajab Kito agamba nti basazeewo kino kubanga abantu abasinga basuula kasasiro mu bipipa bino naabimba nebatafaayo kumusuulayo olwo ekivundu nekisanikira ekibuga.
Agamba nti anaakwatibwa nga anyoomodde enkola eno…
Mu ggwanga lya Zimbabwe, waliwo omusawo atandise ounonyereza okuzuula oba sukaali awonya ebiwundu. Moses Murandu agamba nti yakula alaba kitaawe ng’assa sukaali ku mabwa. Ono agamba nti sukaali bw’omussa ku kiwundu akisikamu amazzi era ng’agoba obuwuka obwandiyingidde mu kiwundu.
Amazzi gafuuse otuzzi e jjinja.
Ekidomola ky'amazzi mu kadde kano kya lukumi era ng'ebirabo by'emmere ebisinga bimaze okuggalwaawo.
Ebbula lino livudde ku masanyalaze okuvaako ku kyuuma ekikulu ekikulu.
Wabula aba water bagamba nti bakola kyonna ekisoboka okutaasa embeera
Lunaku lwa bupiira bukali mpitawo mu nsi yonna.
Yadde abamu babukozesa, abalala beekwasa ebintu bingi omuli n'eky'okuba nti bubasiiwa
Ate abalala bagamba mbu tebanyumira kigwo nga babwambadde era nga kino kyekisinga okweralikiriz abali mu byobulamu.
Akulira ekibiina ekigatta abasawo mu ggwanga Dr Magaret Mungherera wano w'asinzidde n'asaba ministry y'ebyobulamu okussa amaanyi mu kusomesa abantu ku bupiira naddala obw…
Abasalamala ababadde basala emiti ku ttaka alya Kabaka batutte nabugi ssi mufungize.
Bano emiti babadde bagisala ku ddwaliro lya Madala Health center e Mityana.
Eddwaliro lino lyazimbibwa ssekabaka Muteesa nga lyakukola ku ba bigenge wabula nga gavumenti yalyezza nelifuuka elya bulijjo.
Ababadde basala emiti bafubye kunyonyola nti bafunye olukusa nga buteerere era bwebatyo nebamalamu omusubi.