Ebyempuna tebiggwa mu nsi eno
Omuvubuka awasizza nyina omuto nga nekitaawe alaba
Bano nno basoose kulemesebwa kubanga mu Bufaransa, obufumbo bw’omwana ne nyina tebukkirizibwa
Wabula baddukira mu kkooti era n’ebakkiriza okufumbirwagana kyokka ng’ekyewunyisizza kwekulaba nga ne kitaawe yeetabye ku mikolo
Mu kibuga Oakland ekya California embwa yesimbyeewo ku bwa meeta
Embwa eno ewagiddwa abamu ku bakulu ku kyaalo abagamba nti ejja kutegeera bulungi esonga zaabwe
Abakulu bano abatambula n’embwa eno nga bagiyiggira akalulu bagambye nti kino bakikoze okujja obuyinza waggulu okubuzza mu bantu
Omulenzi eyazaalibwa nga talina maaso , nyindo oba mimwa wakulongoosa feesi ye eterezebwe
Yahya Zohra yazaalibwa bw’ati olw’amagumba agaana okwekola ng’ali mu lubuto
Bazadde b’omwana ono abava mu ggwanga lya Morocco balemererwa okufuna omukugu mu ggwanga lyaabwe nga kati baamututte mu ggwanga lya Australia okukolebwaako
Mu ggwanga lya Liberia waliwo omwana ow’emyezi ebiri akuze okufuuka omusajja mu busekonda
Maama w’omwana ono agambye nti yabadde aweese omwana we nga bagenda okulima n’ayogerera mu mugongo nti amuse wansi
Omukyala ono agamba nti olwassizza omwana bwati mu kutya nga takakasa nti y’ayogedde, yagenze okulaba ng’afuuse omusajja omukulu.
Omwana ono wabula atandikidde mu kuyombesa jjajja we ng’amubuuza…
Omukyala eyategeeza nga bweyali afunye ebbeere ery’okusatu okukendeeza ku basajja baali bamukwana kizuuliddwa nti yali alimba
Omukyala ono ebipya bimuzuuliddwaako nti aliko n’omwana omuto omuwala gweyali yaggalira mu nju ye olwo n’amukulusanya mu mukwano.
Omukyala ono Jasmine Tridevil kigambibw aokuba nti ebbeere ly’okusatu yalia sibyeewo ssibe era okumukebera ng’alina amabeera abiri ng’abakyala abalala
Omusajja akutte ku katima mu maaso g’omu poliisi emirundi ebiri aggaliddwa lwakukyankalanya mirembe mu kitundu
Malcolm Gill, okuva mu kibuga Dalton akkiriza nti omukka gumutoloseeko ng’abadde takyasobola kwekuniza
Omupoliisi gw’akosezza y’amukutte n’amutwaala mu kkomera era n’asimbibwa mu mbuga z’amateeka
Abantu abalalu gyebali mu nsi eno
Omusajja asazeewo okugenda mu dduuka lya Mark and Spencer n’aliyimirira wakati olwo n’atandika okukojowa
Asoose kwetoloola dduuka kino nga tannatandika kukojowera bintu birimu era bya pawunda 280 byebyonoonese.
Omusajja ono ekyewunyisizza nti olumaze n’afuluma nga talina ky’aguze
Bino byonna bikwatiddwa ku lutimbe lwa CCTV era ng’omuyiggo okumukwata gugenda mu maaso.
Mu Georgia omukazi abadde anonyezebwa poliisi yekukumye mu woveni eyokya.
Ono poliisi ebadde ewmuwenja olw’ebbanja asangiddwa nga atuuyanidde yenna mu Oven gyeyekukumye oluvanyuma lw’amaka ge okuzingibwako.
Desma KaShay Brown, 25, yakozesa kaadi ya munne eya banka olwo n’atumya engoye za doola 428.
Poliisi ezze emuyigga kwekusalawo okwesonseka mu oven olutuukiddwako.
Eyo nno y’ensi.
Abantu mu nsi abalina ebizibu bangi naye ebizibu ate era bikirana
Mu ggwanga lya Bungereza waliwo omusajja ng’atuuka ku ntikko emirundi egisoba mu 100 olunaku
Obuzibu buno tebumutandise kati nga bwamuva mu mwaka gwa 2012 nga bwaava ku buvune bweyafuna ku mugongo
Omusajja ono agambye nti embeera abadde ajja agimanyiira kyokka ekyasinze okumuluma kwekubeera ng’ali mu kuziika kitaawe…
Omukazi abadde akooye okukwanibwa olutaggwa asazeewo okufuna ebbeere ery’okusatu
Jasmine agambye nti abasajja bamukwana nnyo ng’abadde ayagala kusalako abamu ng’afuna ebbeere ery’okusatu.
Okumusaako ebbeere lino asasudde emitwalo gya doola 2