Olwali
Ow’omukono ogumu kanyama
Omukyala w’omukono ogumu asitula obuzito afuuse ekyelorerwa Krystal Cantu eyatemebwaako omukono omwaka gumu ebanga oluvanyuma lw’okugwa ku kabenje asitula akazito ka kilo 210 ng’akozesa omukono gumu Omukyala ono agamba nti tayagala bya kwekubagiza nga y’ensonga lwaki abeera akozesa omubiri gwe
Akabizzi kalina amagulu 6
Mu ggwanga lya china waliwo akabizzi akaazaliddwa nga kalina amagulu 6. Kano kazaaliddwa mu ssaza lye Sichuan wabula nga amagulu agamu galiko obulinya 2 ekitegeeza nti kalina obugere 8. Kkwo okutambula kukakalubirizaamu olw’obutanywera bulungi ku ttaka nga katambula.
Beekalakaasizza lwa TV
Abasibe mu kkomera erisangibwa ku kizinga kye Rikers mu kibuga Nweyork beekalaasizza nga si kirala wabula butalaba TV. Abaddukanya ekkomera lino basindise abasibe okwebaka nga bukyaali okwawukanako nga bwebiba bulijjo abakulu bano kyebatakkirizza Abasibe bano bwebalagiddwa okugenda okwebaka babigaanye era mu kwezooba n’abakuumi okusukka essaawa […]
Ba dereeva babasobodde
Poliisi mu ggwanga lya China etandise okukwata abavuga emotoka nga bamazeeyo amataala gaabwe kiyite full lights Beebakwata ekibonerezo ekibaweebwa kjyakutunula mu mataala gano okumala eddakiika ttano Ba dereeva bano kati balagirwa okutuula ku butebe , nebabakubamu amataala gano okumala eddakiika ttano olwo nebabata Abakoze ku […]
Namukadde akuuma
Kati nga tonnafa tewevuma nsi. Mu ggwanga lya Amerika mu kibuga Washington, waliwo namukadde ow’emyaka 87 aweereddwa ogw’obukuumi bwokukyalo. Davis Olinger okuva bwekiri nti yazilwanako mu ssematalo owokubiri abatwala eby’obutebenkevu bakirabye nti ssabbaawa gyeyalina mu ssematalo yandiyamba okukuuma ekyaalo. Ono kati yaweereddwa dda sselubwatula era […]
Wuuno omwenzi
Abantu abakola ebyewunyisa tebaggwa mu nsi. Omusajja enzaalwa ya Amerika akungaanyizza abakyala 200 n’abasaba bakkirize okwebaka naye mu kiseera kyekimu. Omusajja ono okuva mu ssaza lye Kalifoniya bino ebikutte ku katambi k’assizza ku mukutu gwa Youtube. Omusajja ono lw’asooka okusaba abakyala bano bonna bagaana
Ekirevu kati sowaani
. Mu kibuga San Fransciso , omusajja eyakuza ekirevu nga kati akifudde sowaani afuuse ekyelolerwa Isaiah Webb agamba nti mukyala we eyamuwa ekirowoozo yeeyamuwa amaanyi okukozesa ekirevu kye
Alidde evvu ly’omufu
Mu Alabama, omusajja enzaalwa ya America addukidde mu kkooti okuwaaba omubbi eyayingiridde amaka ge n’anuusa evvu lya mukyala we eyafa. . Phillip yaviibwaako mukyala we era nga bw’eri ennono y’abazungua bamu, nebamwokya evvu n’alitereka Wabula zaleese omubbi ng’ono olwalabye kku vvu lino n’alissa mu kappapula […]
Yiini essuuti y’abamanyi esswaga
Waliwo abakozi abawunikiriza ekibuga London, bwebakozi amasuuti eg’ekitundu olwo nebatandika okutambula mu kibuga ngabalumya abalabi. Bano bakoze obuwale bw’amasuuti bubakoma mu bisambi ate ngabubatipye, olwo nebalaga eswagga. Eyatunze amasuuti gano amaze wiiki bbiri ng’obwongo bumwesera
Goonya mu kinaabiro
Omusajja omuyindi agenze okunaaba n’asanga goonya eyakula mu kinaabiro atuyaanye nga bwezikala Kalpesh Patel agambye nti atunuulidde goonya eno amaanyi negamugwaamu nga tamanyi oba nnamu oba nfu kyokka agenze okulaba nga yenyeenya kwekukuba oluggi n’ateekako kakokola tondeka nyuma Ekyaalo kyekungaanyizza nebakwata goonya eno.