Olwali
Apple zitabula abakyala mu mukwano
Okunonyereza okukoleddwa kulaga nti abakyala abalya apple tebeesezza mpiki za mukwano bitooke byebigwa. Bino okubituukako abanonyereza mu ggwanga lya Italy batunuulidde abakyala 731. Abakyala beebatunuulidde bali wakati w’emyaka 18 ne 43. Omukyala okufunamu alina okulya apple emu oba bbiri buli lunaku
Yesazeeko obusajja
Kati waliwo abasajja abatawena. Mu ggwanga lya Bungereza waliwo omusajja eyekyaaye neyesalako obusajja ng’ali mu kirabo ky’emmere. Poliisi egezezaako okutangira omusajja ono wabula n’adduka mu bwangu neyesibira mu kiyungu olwo kamaanya n’amukwakkulako. Omu ku bakulira ekirabo ky’emmere kino Zizzi ategezezza nga omusajja ono bwatalina kakwate […]
Eyabulwaako essimu mu America agijje Japan
Omusajja omulimi mu ggwanga lya America eyabulwaako essimu attidde omuntu bw’amukubidde essimu ng’agironze Japan. Omulimu ono essimu yagipakirira mu birime byeyali atunda mu butanwa era nga yali yagivaako dda. Kevin Whitney agamba nti essimu yabulako mu mwezi gw’ekkumi omwaka oguwedde era nga yali yagivaako dda […]
Alya mmere ya mbwa
Mu ggwanga lya Ameriva omukyala atunda emmere y’embwa alabye eby’owketawaanya taabisobole naye n’atandika okulya kw’eno Omukyala ono akikoledde kati omwaka mulamba Omukyala ono alina edduuka mu kibuga Washington agambye nti kino yakikoze okukakasa abantu nti emmere y’embwa gy’atunda mpitirivu obulungi era terina bulabe eri omuntu. […]
Omuzimu gumuweerezza ekifananyi
Bw’oba olowooza nti abazungu tebakkiririza mu ddogo osaana kuwulira bino. Omukyala enzaalwa ye Romania agamba nti jjajja we eyafa amuwerezza ekifananyi kye ku ssimu. Gina Mihai ow’emyaka 34 agamba nti atandise okufuna ekirowoozo nti jjajja we tateredde mirembe era ng’ekifananyi kino ekitutte eri omusawuzi n’amukakasas […]
Bano omukwano gubatikidde mu kkubo nebeemala eggoga
Poliisi mu ggwanga lya Russia eri ku muyiggo gw’abagaalana abeegadangidde mu kibuga wakati nga tebafuddeyo ku bakola egyaabwe Abantu ababalabye beebakubye ebifananyi nebabiwa poliisi ebitadde ku mukutu gwaayo ng’ebuuza oba waliwo abamanyi. Mu katambi akakwatiddwa, abagalaana bano balabwaako nga bazze ku kabalaza k’oluguudo awali ekibumbe […]
Ono yawasa abalongo
Omusajja ono yye yasalawo kwagala abalongo nga kati bamaze emyezi 18 . Tebafunangako buzibu bwonna yadde abalongo okulwana.
Alongooseddwaamu ekkalaamu
Mu ggwanga lya Tayiwani waliwo omukazi alongoseddwa mu lubuto lwe nemusangibwaamu pen . Omukyala ono azze alumizibwa olubuto era bweyagenze okulongoosebwa n’asangibwa nga pen emuli munda. Ekyewunyisa ono tajjukira kumira pen yonna.
atalina mikono avuga emmotoka
Omusajja atalina mikono nate nga avuga emotoka poliisi ekooye okumulabula n’ewamba emmotoka ye Poliisi mu ggwanga lya China egamba nti ono abadde afuuse ow’obulabe eri obulamu bwe n’abakozesa oluguudo abalala Ono bamukwatidde mu kikwekweto ekikoleddwa ku bamenya amateeka g’okunguudo Omusajja ono abadde akozesa ekigere kye […]
ono ayise mu kibuga buswa
Omukyala omubalagavu etambudde ku nguudo mu kibuga nga tambadde bulawuzi alese abantu basamaaliridde Omukyala ono okubadde ng’okwambala yeesiize langi ku mubiri era ng’akyamyeeko ne ku ka baala n’anyaamu olugiraasi lwa waiyini