Olwali

Yakebeka n’abasajja 100- abakubyeemu akatabo

Ali Mivule

July 2nd, 2014

No comments

Omukyala eyakebaka n’abasajja abasoba mu mutwalo omulamba asazeewo okubakubamu akatabo Mu katabo kano omukyala ono ayogera ku birungi n’ebibi by’alabye mu basajja era ng’abalojja Omukyala ono abadde akuba obwamalaaya okumala emyaka 15 era nga buli gweyasisisnkana amwogerako bibye Mu katabo ke agamba nti abasajja abafunyeemu […]

Omusirikale atuuyanye

Ali Mivule

July 1st, 2014

No comments

Waliwo olugero olugamba nti kyenkola bannange sagaala bakinkole ng’omubbi bamubbye Kati nno n’omu poliisi abadde avuga endiima ng’ate bw’ayogerera ku ssimu kimutuuseeko omugoba wa kiroole bw’amuyimirizza Dereeva wa kiroole ono alumirizza omupoliisi ng’obwedda bw’amulondoola era nga kibadde kizibu okwegaana Ofiisa gyebigweredde ng’akkirizza omusango bw’awaabiddwa mu […]

Ono Obubi abututte mu Banka

Ali Mivule

July 1st, 2014

No comments

Kati abantu abamu ensonyi baazinaba ku maaso. Mu ggwanga lya Bungereza waliwo omusajja akoze ekitasuubirwa bw’ayingidde banka ya Barclays neyeyambira okumpi n’abantu webasimba okufuna ssente buli omu ng’atunula. Omusajja ono alabise nga mukkakamu ekyetaago kye alabika abadde akooye okukimalira mu kabuyonjo kko ye kalumbe banka. […]

Bakoze empale mu watermelon

Ali Mivule

July 1st, 2014

No comments

Aba China kyebatayiiye nga tekiriiyo Bano kati wetwogerera nga bayiiyizza empale enkole mu watermelon   Watermelon eno bagikalakatamu ebimyuufu nga bagisazeemu omulundi gumu n’evaamu ekibakuli   Ekibakuli kino kwebassa amagulu era nga bagamba nti kino kyakuyamba nnyo abaana mu biseera by’omusana kubanga ekikuta ky’ennannansi tekiyitamu […]

Embwa eyigirizza bbebi okwavuula

Ali Mivule

June 30th, 2014

No comments

Embwa kyekimu ku bisolo ebigezi ennyo era ebifaayo ennyo Ku mukutu gwa Youtube, ekifananyi ky’embwa eyigiriza omwana okwavuula bangi kibalese bakuamukiridde Embwa eno obwedda yekuluula nga n’omwana bw’agoberera Mu lutambi, omwana asooka n’atunula nga tabitegeera era nga yetegereza embwa kyokka oluvanyuma lw’akabanga omwana ono atandika […]

ayambadde empale nga tagikutteeko

Ali Mivule

June 30th, 2014

No comments

Olutambi lw’omusajja abadde ayambala empale nga tagikutteeko lufuuse ekyelolerwa Omusajja ono enzaalwa ye China yefunya mpola okuyingiza empale mu magulu era ng’agituusa bulungi mu kiwato nga tagikutteeko Omusajja ono takomye awo n’asiba n’omusipi

Ka dole akasoma amawulire kazze

Ali Mivule

June 25th, 2014

No comments

Bannasayansi bayiiyiza ka robot akasoma amawulire nga kano kassaamu n’ebinonoggo Ka robot kano katandikidde mu ggwanga lya Japan era nga kasomyeeko amawulire agakwata ku Musisi eyise mu kitundu kino. Abakoze ka dole kano bagamba nti bagaala bafune kati n’akasoma amawulire ga TV Ka dole kano […]

Embwa ebadde ku mulimu ebuze

Ali Mivule

June 25th, 2014

No comments

Tewali mulimu mwangu mu nsi eno. Mu ggwanga lya Bungereza, Embwa ya poliisi enkozi y’olusu ebadde egoba ekisolo egobye okutuuka lw’ebuze Embwa eno emaze ennaku nga telabikako era ng’omuyiggo ogwassiddwaawo poliisi n’abatuuze ku byaalo ebitali bimu kyekiyambye okuzuula embwa eno. Embwa eno ensangiddwa nga teriiko […]

KKampuni egobye abakozi bonna

Ali Mivule

June 23rd, 2014

No comments

Mu ggwanga lya America kkampuni ya zzaala bigisobodde n’egoba abakozi bonna Abamu bagaanye era ky’ekoze kwekubasasula bagende Bano baweebwa emitwaalo gya doola ebiri n’ekitundu okubivaamu. Aba kkampuni eno bagamba nti bagaala kugoba bakozi bonna kubanga tebamanyi byebagala nga y’ensonga lwaki bonna babagobye baleete abapya.

Abasajja abakwata ku bakyala- Kungufu

Ali Mivule

June 20th, 2014

No comments

Abasajja abanguyiriza okukwata ku bakyala abaweereza mu nyonyi beesibe bbiri Mu ggwanga lya China, abawala bano bonna batendekeddwa okukuba kungufu Yadde nga obukodyo buno bwakukozesebwa mu kaseera ssinga abatujju baba balumbye, abawala bano bawereddwa olukusa obukodyo bwebumu ku basajja abatamiira nebabakwatirira n’abo ab’amaddu