Abantu bwebabeera mu katyabaga baliko ennamba z’essimu zebakuba okufunaobuyambi.
Kati yye ono omukyala mu kibuga West Midlands ayise poliisi liitiliiti okumuyambako oluvanyuma lw’okuseerebwa Icecream.
Omukyala ono ategeezezza nti omusajja wa icrecream abadde yajjuzza kasoggo ke ate ng’atutte ssente ze.
Abagole ababadde mu machati g’okwekubisa ebifananyi ku Nyanja emikolo gibabijjiridde bwebaguddemu bonna nebajojobala.
Abagole bano ababadde batambulira mu nyonyi ekkakanye okumpi n’amazzi olwo obudaala bw’ennyonyi nebussibwa kyokka nga wakati mu kwekubisa ebifananyi, obudaala bukutuse n’ondabira
Dan ne Jackie Anderson ekirungi nti amazzi gebaguddemu gabadde gumpi n’olubalama era bekunganyizza mangu okudduka mu mazzi nga tewabadde kyakutaasa
Ekitabo ekyabula ku muwala nga wa myaka 11 kyadaaki kkyekomezzaawo kyokka
Kitaawe w’omuwala ono yeeyali yamuwa ekitabo kino nga kati wayiseewo emyaka 66 era ng’omuwala ono wa myaka 80 wetwogererera
Betty Fowkes nga munnanasi wa Australia agamba nti ekitabo kino kyamuweebwa taata wa nga kirimu ebyamagero mu ssematalo ow’okubiri era nga kyaali kyabula kyokka ng’akisanze mu ssa…
Abawala bangi basanga abasajja ku mutimbagano nebabangaza era nga bw’owulira nga baboogerako olowooza babamanya dda.
Ono nno bakimumazeeko kubanga omusajja gweyasanze ku mukutu gwa Facebook ate yeeyamunyugunyizza
Omusajja ono yakozesezza akaseera kebaabadde balina okusisinkana okukuba omuwala ono ekiti ku mutwe n’amubba buli kamu
Omuwala ono kyeyalabye ku muwala ono yabadde tattoo eyabadde ku bulago bw’omusajja .
Wabula poliisi ya…
Mu nsi muno ebyewunyisa tebiggwaawo.
Mu ggwanga lya Ethiopia, waliwo omusajja akeera okugenda okulima ng’eno eba avuga akagaali eno ng’embuzi ye eri ku mugongo.
Akabuzi kano nako kirabika kamanyiira nga kakanya kwenyeeza ng’eno mukama waako bw’avulumula akagaali ke.
Abalabye ku katambi kano buli omu ayogera bibye ng’abamu bagamba nti kabadde kakooye n’akabikka ate abalala bagamba nti yabadde akatwaala…
Namukadde w’emyaka 70 gwebawadde ekuuma akeevuuma asazeeo kutandika kuzannya gogolo.
Omukadde ono akuuma kano akakeera bukeezi nga talina njawulo na bavubuka b’olaba ku nguudo ababuukira taxi.
Omukadde ono alabiddwaako mu kibuga nga yesaza ng’owa akagatto akamu era ebifananyi ebikwatiddwa ng’azannya bitunda nga keeki
Abasajja basatu balekulidde emirimu gyaabwe okutambula ensi yonna nga basomesa abantu ku buwangwa bw’aba Irish omuli n’amazina gaabwe.
Chris, Kevin ne Ian bakutambula mu mawanga 23
Bamaze okuyitako mu mawanga agatali gamu omuli
Buli gyebalaga balangirira era nga basanga abantu babalinze.
Wetwogerera ng’abantu emitwaalo 25 beebabagobera ku mukutu gwa Youtube
Abantu bangi bagaala nnyo amawanga gaabwe naye wali olowoozezza ku bisolo.
Kati mu ggwanga lya Russia, ka kkapa akawulidde ng’oluyimba lw’eggwanga nga lukubwa kayimiridde nekegatta ku bayimba okutuusa oluyimba bweruwedde
Nanyini kkapa eno agambye nti na ye yewunyizza kubanga tebalina TV nga kirabika kabadde kalaba abayimba nga kayisa amaaso mu ddirisa
Omusajja ono agambye nti lweyasooka okulaba ka…
Omusajja abadde adedera omukyala kimuweddeko omukyala ono bweyekyaaye n’amweyambulira
Omukyala abadde atambuka agage akizudde nti wabaddewo omusajja amulinnya akagere ate ng’abadde talina bw’amwatuulira
Mu kino asazeewo okuyimirira n’atandika okweyambula engoye z’abaddemu lumu ku lumu n;asigala bukunya
Ababaddewo beebakiguddeko kubanga bafubye kukuba nduulu na kubikka maaso naye ng’omukyala ono tasalako
Omulambo gw’omukyala eyafudde ng’aweza emyaka 80 ab’enganda ze basazeewo kumutuuza mu katebe k’abadde asinga okwagala.
Omulambo gw’omukyala ono gwambazidddwa olugoye lw’embaga omugenzi gweyayambala ku mbaga ye eyokubiri.
Gwambaziddwa n’enkofiira olwo negwetoloozebwa ebimuli omugenz by’abadde asinga okwagaala
Muwala w’omukyala ono agambye nti takubangako kafananyi nga nyina afudde nga y’ensonga lwaki asazeewo kwambaaza nnyina engoye z’abadde asinga okwagala.