Olwali
Bano Tennis bamuzannye bukunya
Mu ggwanga lya Bungereza, mu kibuga ekikulu London wategekeddwaayo empaka za tenis nga zino abazeetabamu baba bukunya. Empaka zino zeetabiddwaako ab’emikwano musanvu nga bonna ba model. Omu ku beetabye mu mpaka zino Stefan Johnson agambye bagezaako kubeera banjawulo n’okwewala okukola buli omu ky’akola Omuzannyo guno […]
Omukyala ono tasaaga
Abakyala bangi olubuto balutwaala nga bulwadde naye nga mwattu ssi bwekiri Kati yye onbo bano tabamanyi ng’abadde asitula obuzito okutuukira ddala ku ssaawa y’okusindika omwana. Meghan Leatherman, 33 ng’ava ku ssaza kye Arizona tayosangamu kugenda mu giimu nadde nga bangi babadde bamusaasira Omukyaala ono w’azaalidde […]
Ekikere mu kyenyanja
Omusajja akutte ekyenyanja n’amaddu g’okukirya kimuweddeko bw’asanze nga kirina akakere mu mutwe Akakere kano kabadde kalamu tteke
Asinga obuwanvu agenda mu bufumbo
Omuwala asinga obuwanvu mu ggwanga lya Brazil abugaanye essanyu muganzi we bw’amusabye amufumbirwe Omuwala ono ayagala okubeera model nga Elisany da Cruz Silva – ng’alina fuuti mukaaga ne inch munaana abadde ali n’omusajja ono owa fuuti ettaano Katie myaka esatu Ekyewunyisizza nti omusajja ono yadde […]
Omubbi asumagiiridde ku mulimu
Ono omubbi alabika ebintu abadde yakabitandika Omusajja ono agenze okubba emmotoka wabula otulo netumubbira ku mulimu guno Nanyini motoka akedde okugenda mu motoka asimbule okukola asanze omusajja ono ali mu kufuluuta Omusajja ono yetonze n’ategeeza nga bweyatamidde ate nga tasigazza zantambula naye bw’atyo kwekusalawo okubba […]
Abaana bano tebalidde bitooke byebigwa
Mu ggwanga la Colombia, abaana ababiri abasinga obunene babafunidde abakugu mu kusala amasavu Santiago Mendoza ne Isabela Caicedo balongo ng aba myezi mukaaga gyokka. Baana waabwe yeyabatwaala mu kifo ekigaba obuyambi nga bamulemereredde mu byendiisa. Ku myezi mukaaga abaana bano bazitowa kilo ezisoba mu 30 […]
Anywegedde embizzi
Omusomesa mu ggwnga lya China eyetemye okunywegeera embizzi ssinga abayizi bakoma okumansa kasasiro bimukalidde ku matama Hon Yaoming abayizi bakimukoze bwebekozeemu omulimu nebakoma okumansa kasasiro Ono nno nga buli kimu kitegeke abadde takyalina kyakukola era bwatyo mu kwegumya n’anywegeera embizzi.
Ono alaalidde
Omusajja abadde atamidde ayingidde mu kibookisi ky’abaana ng’abaziinya mooto beebamujjeeyo.
Emmundu y’akasenya yiino
Omuvubuka eyiiyizza emmundu ng’eno eriko akasenya Ekigendererwa kuyamba bajaasi buta ku mirimu nti basenya Omuvubuka ono agambye nti kino akikoze okuyamba abajaasi okukuuma obuyonjo ate nga tebavudde ku mirimu.
Omulamuzi eyeeyambula azzeemu okukola
Mu ggwanga lya Bosnia omulamuzi eyasangibwa mu ofiisi ye ng’ali bute ayota musana azze ku mulimu Omulamuzi ono Enisa yasooka kubuukabuuka mu awo mu ngeri y’okukola exercise era olwa mala n’agalamira ku meeza ye okwota omusana ng’ali bute Ono nno abamulengera baali basajja abaali bayita […]