Embwa zimanyiddwa nnyo okwagala okulya kyokka nga ziboola mu zebirya.
Naye obadde okimanyi nti waliyo embwa eyefumbidde emmere yaayo.
Kati bangi balowooza balimba.
Embwa eno ya mu America ng’olumaze okufumba n’etuula ku dining bulungi n’ekwata fooko n’akambe n’etandika okulya
Embwa eno teyerabidde kwessaako kagoye okwewala okwetonnyeza
Olutambi olulaga embwa nga yejaga kati lutunda nga keeki…
Omusajja abadde agenze okulya lanki ne muganzi we kimuweddeko okudda ng’emmotoka mwebatambulira eri mu mwaala ebulirayo
Tomos Wiliams emmotoka abadde agisimbye okumpi n’omwaala olwo n’agenda okulya emmere.
Ebyembi nti emmotoka eno ebadde ya mulimu era amameeme gatandise okumukuba ne laavu n’emuggwaako.
Tekinnategerekeka oba emmotoka eno abadde gisimbye bubi oba waliwo owe ttima eisindiseewo kubanga w’abadde wabaddewo emmotoka endala…
Omwana omuwala eyasalako enviiri ze okulaga obuwagizi ku lutalo lwa kokoolo ayolese okubonerezebwa ku ssomero gy'asomera.
Omwana ono alagiddwa mu bwangu okwambala enviiri z'ekimpatiira
Jees Vine nga wa myaka 15 yasalako enviiri ze ezaali empanvu oluvanyuma lwa jjajja we okufa kokoolo
Maama w'omwana ono agamba nti omwana we bamugaanye okudda ku ssomero ng'alina akawalaata
Omukyala abadde avuga emmotoka okuyita mu miti kimuweddeko, ekinyonyi bwekiyise mu ndabirwaamu nekiwummulira mu siteliingi
Omukyala ono abadde ayita mu ssaza kye Adam ng’ava mu kibuga Colorada.
Omukyala ono awogganidde waggulu mu kutya ate nga kyo ekinyonyi kino yadde kifunyeeko obuvune naye tekifudde
Abazigu abalumbye enyumba y’omukadde tebakomye ku kino wabula bamukutte amagulu nebatandika okumuwuuba nga bwebamwetolooza
Ebifananyi ebifulumiziddwa mu ggwanga lya Romania biraga ng’omu ku babbi amuuba namukadde abadde awogganira waggula ng’asaba obuyamba
Banne b’abadde nabo b
Tuyingira mu nnaku za wiikendi era mu nnaku zino embaga zibeera nyingi.
Kati gwe omugole omukazi kubamu akafananyi nga bbaawo talabiseeko ku mukolo olw’omwenge gweyanywedde n’agangayira
Enkeera ejja yetonda wandikoze ki,
Mu ggwanga lya Australia omusajja ow’ekika kino alwaana kufuna kisonyiwo okuva eri mukyala we
Jacob Francis agambye nti teyagenderedde kugangayira nga yanyweddeyo obucupa busatu bwokka kyokka nga kyamuweddeko…
Bano bagattiddwa mu mbaga y'ekirindi e China.
Abamu babadde bakuza myaka 10 mu bufumbo.
Abantu bangi bassaako omugejjo nga nebwebakola ki tegulina gyegulaga
Ne Richard enzaalwa ye Bungereza yakola buli kimu naye nga tasala masavu naye mu bbanga ttomu omusajja ono kati nga wamulabye mutono muzibu
Richard ono yagobwa ku mulimu gyebuvuddeko era ogubadde ogubiri kati kabiri olw’ebiroowozo
Omusajja ono yali yalekera awo okuzina mu kiraabu ye gyeyalimu olwo obunene kyokka nga…
Abantu bangi balina byebayoya nebikusobera
Mu ggwanga lya Buyindi waliyo omusjja atawoomeddwa kulya bulooka bitooke byebigwa
Omusajja ono agamba nti kino yatandika okukikola wa wa myaka 10 era nga bw’omuwa enkoko n’ettafaali akulekera enkoko yo.
Ono buli lunaku alya ettafaali limu
Eky’abakyala obutayagala kukula kirabika kiva buto.
Mu ggwanga lya Bungereza, Nalongo asese enseko kata afe oluvanyuma lwa muwala we omu ku balongo okukaaba ng’awulidde nti awezezza emyaka ena.
Omulenzi yye alabise nga tafaayo naye akawala kano kagambye maama waako nti okukuza amazaalibwa kitegeeza kukaddiwa ate nga kko tekakyagala
Kano okukasanyusa bamaze kukagulira bwa kumatu nekasekamu
Kati ndowoozo mutegedde gyekiva