Buli kintu kirina omugaso mu nsi eno.
Omukyala abadde anuuna swiiti n’amutuga embwa ye y’emutaasizza
Rachel Hayes ow’emyaka 40 ng’amaze okumira swiiti atandise okwegoga era embwa ye mu kumutaasa emufumise enjala mu mugongo n’asesema swiiti ono.
Omukyala ono agambye nti ayongedde okwagaala embwa ye kubanga emutaasizza
Olutambi olulaga omukulembeze w’eggwanga lya Colombia ng’afuse mu mpale lutunda nga keeki eyokya
Abantu abasoba mu mitwalo 30 beebakalaba ku lutambi luno
Pulezidenti Santas yabadde ayogerera ku mukolo gw’okutongoza kampeyini ze abantu bagenze okulaba ng'empale ze zitandise okutoba
Omusajja ono ow’emyaka 62 atamanyiddwaako kirwadde kyonna agenze mu maaso n’okwogera kwe
Musajja ono ekitaba kyongedde okugejja era nabantu nebongera okumwegeka…
Omwana ow'emyaka etaano amaze olunaku lwonna ku ssomero ekyaamu lwakulinnya baasi nfu mu kibuga New York.
Abakulira essomero lya Schenectady city school bagamba nti maama w'omwana ono yakkirizza nti yakoze ensobi omwana n'amuteeka ku baasi enfu kubanga yalabye dereeva ng'amumanyi.
Ab'essomero babaddeko omwana omupya gwebasuubira era nabo bwebatyo bamwanirizza kyokka kibaweddeko okulaba ng'omwana ono ku ssomero lino yatuseeko…
Ebifananyi ebifulumiziddwa mu ggwnaga lya Malysia biraga nti omugoba w’enyonyi eyabula yali musajja mukugu era yakeberebwa bulungi ng’agenda okulinnya enyonyi eno
Omugoba ono Zaharie Ahmad ow’emyaka 53 yali ayambibwaako Abdul Hamid ow’emyaka 27
Mu bifananyi ebifulumiziddwa, ababiri bano balagibwa nga bakeberebwa kisaawe mu kibuga Kuala Lumpur.
Omusajja ono era kigambibwa okuba ng’abadde yakavuga enyonyi okumala emyaka 30 era…
Abayizi mu ggwanga lya NewZealand bali ku mulimu gwa kuyigga mmese
Bano bawereddwa akakisa okuwangula bbiya ku buli mmese gyebakwata nga nnamu oba nfu
Omu ku baggagga mu ggwanga lino y’atandise enkola eno nga yoomu eno era yakolako ne kawefube agoba kkapa mu ggwnaga lino.
Omusajja ono agamba nti emmese zisusse obungi ate nga bwezitaba na byakulya zirumab…
Omusajja abadde mu maka ge n’alengera abeerigomba ensonga ezitutte ku poliisi..
Bano nno babadde mu maka gaabwe nga bali mu kwesanyusa
Omusajja ono ow’emyaa 34 agambye nti abadde ali mu ddirisa lye etunula ebweru kwekugwa ku bagalana nga befunyiridde era naye kwekukubira poliisi ng’agamba nti babadde bamusaaliza
Wabula akulira poliisi gy’awabyeeko amugobye n’okwemulugunya kwe ng’agamba nti abagalana bano…
Omuvubuka abadde ne muganzi we nga bakyamyeeko mu dduuka kibaweddeko bwebawulidde ng’engombe y’emmotoka yaabwe ekuba obutamala.
Bano badduse ebweru okulaba ekigenda mu maaso era okusanga ng’embwa yaabwe gyebalese y’ekuba engombe
Embwa eno ekyewunyisa nti ebadde mu mutto gw’emabega naye evuddeyo n’edda mu maaso.
Abazadde bangi basusuuta abaana baabwe gyebigweera nga babonoonye.
Naye bangi abaana bano batuuka akaseera nebabaswaza mu bantu nga tebakyalina kyakukola
Bwegubadde ku mukyala mu Bungereza abadde ayombesa mutabani we okugenda butereevu n’asaba jjajja we eky’okunywa ng’ate abadde waali.
Omwana ono ow’emyaka 3 yecwacwanye era nyina mu kumuddamu naye amuwogganidde nti sirika.
Ababatitiibya ndowooza muliko kyemuyize.
Abazungu bagaala nnyo ebisolo naye oyo yye bakimumazeeko.
Omuvubuka ono abadde ayoyoota akafudu akato kimuweddeko bw’abadde akanywegeera nekaluma emimwa
Takomye wano tekagiremera era obwedda buli bwekagisika ng’akuba enduulu.
Omusajja ono oluvanyuma addukiriddwa abantu abamusiseeko akafudu kano naye ng’amaziga gamuyiseemu dda.
Embwa eno ento mu bungereza enyweera ku ccupa era emanyi n'okugyekwatiira