Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Olwali

Embaga eyekibwatuukira

Omukyala amaze emyezi mukaaga nga tali ne muganzi we olw’emirimu essanyu kata limutte wba’asanze nga bba ategekese embaga yaabwe ku lunaku olwo lwenyini lw’akomyeewo. Omuwala ono olutuuse ewaka asanzeewo jjaja we amuwadde ebbaluwa era naye kwekugisumulula. Okusomako nga muganzi we amutegeeza nga bw’alindiddwa ku mbaga era wano jjajja we egyeeyo ekiteteeyi kye n’amwambaza era wakati mu ssnayu…

Read More

Embwa ekubiddwaako Ttatoo

Abazungu byebakola tebiggwaayo. Kati yye ono egeze embwa ye eri mu kulongoosebwa n’akwata omusaayi gwaayop n’agukozesa okugikubako ttatu Ttatu eno ebadde ya mUtima oguyiseemu akasaale nga kabonero ka mukwano era bw’amaze awo n’awandiika ko n’erinnya lya mukyala we Bino byonna ebikoze ng’embwa esirisiddwa era ng’ebadde mu tulo naye nga bagirongoosa Wabula omusajja ono ayolese okuvunanaibwa emisnago gy’okulinyirira edembe ly’ebisolo. Abalabye…

Read More

Ono talidde biwuka asula atudde

Abantu byebegomba bikusobera mu nsi. Kati yye omuvubuka ono yezira kulaba ku kiyenje kyonna ng’akuba mu ttama Omuvubuka ono agamba nti ebiwuka ayoya biyoye ng’aby’akererako , by’alya ekyemisana nga n’ekyeggulo bw’atyo. Yasooka kulya nzige ezamuwoomera kwekugezaako ebiwuka ebirala nga nabyo biwooma era tadda nga mabega

Read More

Embwa evuga eggaali

Abantu bangi bagaala nnyo embwa era abalala batuuka n’okuzagaala okusinga ku bantu Guno bweguli naye ate kw’ono gwasusse. Mu ggwanga lya Colombia, omusajja ayigirizza embwa ye okuvuga eggaali era embwa eno ekwatiddwa ku lutambi ng’essa mu nkola ebigisomeseddwa Embwa eno erabise ng’enyumirwa by’ekola kumpi kutuuka kufuuwa luwa

Read More

Omwana bamuzaalidde mu kabuyonjo

Omuwala abadde tamanyi nti ali lubuto kata asuule omwana mu tooyi Omuwala ono ow’emyaka 25 ng’abadde akyabeera wa bakadde be, olubuto olubadde lumuluma ennyo lwelumujje mu tolo ng’obudde bukya Omuwala ono addukidde mu ttooyi kyokka kimuweddeko okuwulira nga bbebi akaaba Omuala ono agambye bw’awulidde omwana akaaba, ayanguye okumubaka  era nga bagenze okumupmai ng’akunukkiriza mu kilo ssatu

Read More

Abalongo ba mirundi 10 mu kibiina kimu

Wali olabyeeko abantu abafagana nga kizibu nnyo okubaawula. Kubamu akafanyi ng’oli musomesa ng’olina emigogo gy’abalongo ng’ena mu kibiina ky’osomesa, osobola okubawuula? Kati nno omusomesa mu ggwanga lya China yye abivuddeko olw’ekibiina ky’asomesa okubaamu emigogo gy’abalongo 10. Bano baweza abaana 20 ku bayizi 22 b’alina mu kibiina Abaana bano bafanagana okufaako obufi nga tasobola kubwuula Omukyala ono agambye nti tasobola…

Read More

Ono tayambala ngatto

Omusajja enzaalwa eya America asazeewo kumala mwaka mulamba nga tayambala ngatto okujjukiza abantu nti waliwo abaana abataliba ngatto. Richard Hudgins wa myaka 28 nga mukozi mu saluuni era nga aliko n’embaga gyeyagenzeeko nga talina ngatto. Ono ne mukutwala muwala we mu ssomero kko n’okugenda mu supamaket okugula ebintu etambuza bigere. Omusajja ono agamba nti ayagala kuweza emitwalo gya…

Read More

Omwana abadde abaza bakadde be bamukutte

Omuzadde abadde atambula agage kimuweddeko bwagudde ku mutabani we ng’ali mu kuzannya na bubwa obutaliiko nyini bwo Omwana ono abadde abaza nga kitaawe ng’amulimba nti agenze kutambulamu ne banne olwo n’agenda eri obubwa buno Omwana ono alabise ng’akikola buli lunaku kubanga obubwa olumulabye nebumuyiikira mu ngeri y’okumwaniriza Bwebakebedde mu nsawo ye basazeemu emere gy’abadde yetikkira embwa eno buli…

Read More

Abasajja bangi banyiiga ng’abakyala bafunye embuto

Kano ka bakyala. wali ofunyeeko ku kirowoozo ekikwata ekibeera ku maaso ga balo ssinga omugamba nti oli lubuto. Kati yye omukyala ono yateze bba kamera olwo n’amutegeeza nga bwebabadde bagenda okuzzaako omwana waabwe kubanga yabadde lubuto Omusajja ono yalabise ng’atidde kyokka ng’atya okukiraga mukyala we . Mu kwebuzabuuza yasese amajemulukufu kyokka ate n’anyiiga omulundi gumu,. Wano wewebuuliza nti abasajja bameka…

Read More

Azadde bana omulundi gumu

Omukyala abadde asuubira okuzaala abaana basatu kumuweddeko n’ow’okuna bw’avuddeyo Omukyala ono ow’emyaka 42 wa mu kibuga Mississippi era nga balongoosezza mulongoose Abasawo bagambye nti omwana ow’okuna omuwala abadde yekweka ng’emyezi gyonna omwenda tebamulaba yadde bakola sikaani ezitali zimu. Abaana bano bonna bawala era nga bakyassiza ku byuuma kubanga bazaaliddwa nga tebannatuuka

Read More